bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 3
Ezra 3
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
1
Omwezi ogwomusanvu bwe gwatuuka, Abayisirayeli nga bamaze okusenga mu bibuga byabwe, abantu ne bakuŋŋaana mu Yeruzaalemu ng'omuntu omu.
2
Yeswa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli ne baganda be bonna, ne bazimba omwaliiro gwa Katonda wa Yisirayeli, baweererezeeko ebitambiro ebyokye, nga bwe kyawandiikibwa mu Tteeka lya Musa omuntu wa Katonda.
3
Newandibadde baalimu okutya abantu be baalimu mu nsi, baazimba omwaliiro ku musingi gwagwo, ne baweererezaako Omukama ekitambiro ekyokye, eky'oku makya n'akawungeezi.
4
Nga bagoberera entereeza eyawandiikibwa, baakuza Embaga y'Ensiisira, nga baweereza ebitambiro ebyokye buli lunaku okwenkana n'omuwendo gwabyo buli lunaku ng'etteeka bwe ligamba.
5
Era baaweereza n'ebitambiro ebyokye ebya bulijjo, n'eby'embaga y'Okuboneka kw'Omwezi, n'ebitambiro by'embaga enkulu eziragiddwa Omukama, n'ebitambiro byonna ebyeyagalire ebyaweerezebwanga Omukama.
6
Okuva ku lunaku olusooka olw'omwezi ogwomusanvu baatandika okuweereza Omukama ebitambiro ebyokye, newandibadde nga Ekiggwa kya Katonda kyali tekinnabangibwa.
7
Baawa ssente abakomozi b'amayinja n'ababazzi, ne bawa emmere, eby'okunywa n'omuzigo abantu b'e Sidoni n'e Tiiro, baleete emiti gy'entolookyo okuva mu Lebanoni, bagiseeyeyeze ku nnyanja okutuuka e Yoppa, nga Kuuro kabaka wa Buperusi bwe yali abakkirizza.
8
Mu mwezi ogwokubiri ogw'omwaka ogwokubiri bukya batuuka wali Kiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu, Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli, Yeswa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe abaali basigaddewo ku baganda baabwe bakabona n'Abaleevi, na bonna abaali bavudde mu busibe ne badda e Yeruzaalemu, ne batandika okuzimba Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu. Bassaawo Abaleevi, okuva ku myaka amakumi abiri n'okwambuka, balabirire omulimu gw'okuzimba Ekiggwa ky'Omukama.
9
Yeswa ne batabani be ne baganda be, Kadumyeli ne batabani be, ne bazzukulu ba Yuda, ne batabani ba Kenadadi ne batabani baabwe ne baganda baabwe, be Baleevi, baasitukiramu ne bakola ng'omuntu omu okulabirira abo abaakolanga omulimu ku Kiggwa kya Katonda.
10
Abazimbi bwe baamala okubanga omusingi gw'Ekiggwa ky'Omukama, bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe, nga bakutte n'amakondeere, n'Abaleevi, batabani ba Asafu nga bakutte ensaazo, ne bayimirira mu bifo byabwe batendereze Katonda nga Dawudi kabaka wa Yisirayeli bwe yalagira.
11
Ne bayimba nga batendereza n'okwebaza Omukama nti: “Mulungi, kubanga ekisa kye ku Yisirayeli kya mirembe gyonna.” Abantu bonna ne baleekaana nnyo nga batenda Omukama, kubanga omusingi gw'Ekiggwa ky'Omukama gubangiddwa.
12
Naye abangi ennyo mu bakabona abakadde, ne mu Baleevi n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abaali balabiddeko ddala n'amaaso gaabwe Ekiggwa ekyasooka, ne bakuba ebiwoobe nga balaba omusingi gw'Ekiggwa kino gubangibwa, kyokka era bangi ne baleekaana olw'essanyu.
13
Tewali yali asobola kwawula ddoboozi lya kuleekaana okw'essanyu ku ddoboozi ly'okukaaba kubanga abantu baali baleekaana nnyo; n'oluyoogaano lwatuuka wala.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10