bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 10
Ezra 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
1
Ezira bwe yali yeegayirira, nga yeetonda eno bw'akaaba, nga yeeyaze wansi mu maaso g'Ekiggwa kya Katonda, ekibiina kinene eky'abasajja, abakazi n'abaana Abayisirayeli ne kikuŋŋaanira w'ali; nabo ne bakaaba nnyo.
2
Sekaniya mutabani wa Yekiyeli asibuka mu baana ba Elamu, n'ayanukula Ezira nti: “Twasobya ewa Katonda waffe bwe twawasa abakazi abagwira mu bantu b'ensi eno. Newandibadde bwe guli, era Yisirayeli akyalimu ku ssuubi.
3
Ka tukole endagaano n'Omukama Katonda waffe, abakazi bonna tubagobe wamu n'abaana baabwe, okusinziira ku nteesa yo, mukama wange, n'ey'abo abatya ebiragiro by'Omukama Katonda waffe. Tukole ng'Etteeka bwe ligamba.
4
Situkiramu. Kola omulimu gwo; tuli naawe, guma, kikole.”
5
Ezira n'asituka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Yisirayeli yenna okukola ekyali kyanjuddwa. Ne balayira.
6
Ezira n'ava mu maaso g'Ekiggwa kya Katonda n'agenda mu kisenge ewa Yokanani mutabani wa Eliyasibu, n'asula eyo nga takombye ku mmere yadde okunywa ku tuzzi, kubanga yali akyanyolwa olw'ekyonoono ky'abaali bavudde mu buwaŋŋanguse.
7
Ekirangiriro ne kiyita wonna mu Yuda ne mu Yeruzaalemu eri abaava mu buwaŋŋanguse bonna okukuŋŋaanira mu Yeruzaalemu.
8
Buli yandiremereddwa okutuusa mu nnaku ssatu, abafuzi n'abakadde baali bateesezza nti ebintu bye byonna biboowebwe, naye yennyini aggyibwe mu kibiina ky'abo abawaŋŋangusibwa.
9
Mu nnaku ssatu abasajja bonna aba Yuda n'ab'ekika kya Benyamiini baali bamaze okukuŋŋaanira mu Yeruzaalemu. Mu mwezi ogwomwenda, ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi, abantu bonna ne batuula mu luggya lw'Ekiggwa kya Katonda; baali bakankana olw'ensonga eyo n'olw'enkuba.
10
Ezira kabona n'asituka n'abagamba nti: “Mwasobya, mwawasa abakazi abagwira, ne mwongereza ku misango gya Yisirayeli.
11
Kale nno muwe ettendo Omukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ky'ayagala. Mweyawule ku bantu b'ensi eno ne ku bakazi bammwe abagwira.”
12
Ekibiina kyonna ne kyanukula n'eddoboozi ddene nti: “Ddala, nga bw'ogambye bwe tunaakola.
13
Naye kubanga abantu bangi, n'ebiseera bya nkuba, tetusobola kusigala bweru. Ate guno si gwe mulimu ogw'olunaku olumu oba ebbiri, anti twasobya nnyo mu nsonga eno.
14
Ka abakulembeze baffe bakiikirire ekibiina. Olwo abantu okuva mu bibuga byaffe abaawasa abakazi abagwira, bajje mu kiseera ekiweereddwa, nga kujjirako abakadde n'abalamuzi aba buli kibuga, okutuusa obusungu bwa Katonda waffe obwesera olw'ekibi kino lwe bunaakyukira eri ne butuvaako.”
15
Yonatani mutabani wa Asaweli ne Yakuzeeya mutabani wa Tikuva, be bokka abaakiwakanya, mpozzi ne Mesullamu, Sabbetayi n'Abaleevi abaabawagira.
16
Abaava mu buwaŋŋanguse ne bakola batyo. Ezira kabona n'alonda abasajja abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, omu omu okuva mu buli lunyiriri, ng'agoberera erinnya lya buli omu. Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'ekkumi, ne batuula okwekenneenya ensonga.
17
Ku lunaku olusooka olw'omwezi ogw'ekkumi, ne bamaliriza okukola ku basajja bonna abaali bawasizza abakazi abagwira.
18
Mu baana ba bakabona abaasangibwamu nga bawasizza abakazi abagwira baali: mu bazzukulu ba Yeswa bazzukulu wa Yozadaki ne baganda be: Maaseeya, Eliyezeri, Yaribu ne Gedaliya.
19
Bonna beeyama okugoba bakazi baabwe, ate n'okuleeta endiga ennume okuva mu magana ey'ekitambiro eky'omusango olw'emisango gyabwe.
20
Mu bazzukulu ba Yimmeri: Kanani ne Zebadiya;
21
mu bazzukulu ba Karimu: Maaseeya, Eliya, Semaaya, Yekiyeli ne Wuzziya;
22
mu bazzukulu ba Pasukuru: Eliyowenayi, Maaseeya, Yisimayeli, Netaneli, Yozabadi ne Eleyasa.
23
Mu Baleevi: Yozabadi, Simeyi, Kelaaya oba Kelita, Petakiya, Yuda ne Eliyezeri.
24
Mu bayimbi: Eliyasibu; mu baggazi: Sallumu, Telemu ne Wuri.
25
Mu Bayisirayeli abalala: mu bazzukulu ba Parosi: Ramiya, Yizziya, Malukiya, Miyamini, Eleyazari, Malukiya ne Benaaya;
26
mu bazzukulu ba Elamu: Mattaniya, Zakariya, Yekiyeli, Abudi, Yeremoti, ne Eliya;
27
mu bazzukulu ba Zattu: Eliyowenayi, Eliyasibu, Mattaniya, Yeremoti, Zabadi ne Aziza;
28
mu bazzukulu ba Bebayi: Yokanani, Ananiya, Zabbayi, Atulayi;
29
mu bazzukulu ba Bani: Mesullamu, Malluki, Adaaya, Yasubu, Seyali ne Yeremoti.
30
Mu bazzukulu ba Pakati-Mowabu: Aduna, Kelali, Benaaya, Maaseeya, Mattaniya, Bazaleli, Binnuyi ne Manasse;
31
mu bazzukulu ba Karimu: Eliyezeri, Yissiya, Malukiya, Semaaya, Simewoni,
32
Benyamiini, Malluki ne Semariya;
33
mu bazzukulu ba Kasumi: Mattenayi, Mattatta, Zabadi, Elifeleti, Yeremayi, Manasse, Simeyi;
34
mu bazzukulu ba Bani: Maadayi, Amuramu, Wuyeli,
35
Benaaya, Bedeeya, Keluwi,
36
Vaniya, Meremoti, Eliyasibu,
37
Mattaniya, Mattenayi ne Yaasu;
38
mu bazzukulu ba Binnuyi: Simeyi,
39
Selemiya, Natani, Adaaya,
40
Makunadebayi, Sasayi, Sarayi,
41
Azareli, Selemiya, Semariya,
42
Sallumu, Amariya, ne Yozefu;
43
mu bazzukulu ba Nebo: Yeyeli, Mattitiya, Zabadi, Zebina, Yaddayi, Yoweli ne Benaaya.
44
Bano bonna baali bawasizza abakazi abagwira, era abamu baali bazadde n'abaana mu bakazi bano.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10