bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 6
Ezra 6
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
1
Awo kabaka Dariyo n'ayisa ekirangiriro, ne banoonya mu tterekero ly'ebiwandiiko mu nkuluze eyali mu Babiloni.
2
Ne basanga omuzingo mu kigo ky'e Ekubatana, mu ssaza ly'e Mediya; kwali kuwandiikiddwako bino:
3
“ Eky'okujjukira: “Mu mwaka ogusooka ogwa kabaka Kuuro, kabaka Kuuro yayisa ekirangiriro ku Kiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu nti: ‘Ekiggwa kizimbibwe, ng'ekifo eky'okuweererezangamu ebitambiro, n'emisingi gyakyo gizimbibwe. Kya kubeera kya mikono nkaaga obugulumivu, n'obugazi emikono nkaaga;
4
kya mbu z'amayinja amanene ssatu n'olubu lumu olw'emiti; ssente ez'okukozesa zijja kusasulibwa nkuluze ya kabaka.
5
N'ebintu by'omu Kiggwa kya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadunezzari bye yali aggye mu Kiggwa e Yeruzaalemu n'abireeta mu Babiloni bizibbweyo, bigende mu kifo kyabyo mu Kiggwa mu Yeruzaalemu, biteekebwe mu Kiggwa kya Katonda.’
6
“Kale nno, Tattenayi owessaza mu kitundu ekiri Emitala w'Omugga, Setari-Bozenayi nammwe bannaabwe abaami mu ssaza Emitala w'Omugga, mwesambe ekifo ekyo.
7
Temweyingiza mu bya kuzimba Kiggwa kya Katonda ekyo. Muleke atwala Abayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe Ekiggwa kya Katonda ekyo mu kifo kyakyo.
8
Era wano ndagidde bye muteekwa okukolera abakadde b'Abayudaaya abo nga bazimba Ekiggwa kya Katonda ekyo: Ssente abasajja abo ze banaakozesa zijja zonna kusasulibwa nkuluze ya kabaka, ku musolo oguweebwa mu kitundu ky'Emitala w'Omugga, omulimu guleme kuyimirira.
9
Nga wabaddewo ekyetaagibwa, ng'ente ennume, endiga ennume n'obuliga obulume olw'okuweereza ebitambiro ebyokye Katonda w'eggulu, obanga bakabona abali mu Yeruzaalemu beetaaze eŋŋano, omunnyo, evviini n'omuzigo, bibaweebwe buli lunaku awatali kwekwasa kirala,
10
basobole okuweereza Katonda w'eggulu ebitambiro ebisanyusa, era kabaka n'abaana be babasabire babe balamu.
11
Era nnangiridde nti omuntu yenna aliba akyusizza ekiragiro kino, mu nnyumba ye musowolwangamu omuti n'agukomererwako, ate ennyumba ye eyabizibwanga n'efuuka ffumbiko.
12
Katonda oyo, eyaddira erinnya lye ne lisula omwo, amenyewo kabaka oba omuntu alyetantala okukyusa ekirangiriro kino oba okusanyaawo Ekiggwa kya Katonda ekyo mu Yeruzaalemu. Nze Dariyo nze nnangiridde kino; njagala kituukirizibwe n'obwegendereza.”
13
Tattenayi owessaza Emitala w'Omugga, Setari-Bozenayi ne bannaabwe ne batuukiriza n'obwegendereza ekirangiriro kya kabaka Dariyo kye yali ayisizza.
14
Bwe kityo abakadde mu Bayudaaya ogw'okuzimba ne gubalamira, nga bwe bawagirwa n'okulanga kwa Aggayi omulanzi ne Zakariya mutabani wa Yiddo. Baamaliriza okuzimba, nga Katonda wa Yisirayeli bwe yali alagidde, n'ebirangiriro bya Kuuro, Dariyo ne Arutakesasuta bakabaka ba Buperusi bwe byali bigambye.
15
Ekiggwa kya Katonda kyamalirizibwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adari, mu mwaka ogwomunaana ogw'obufuzi bwa kabaka Dariyo.
16
Abayisirayeli, kwe kugamba, bakabona, Abaleevi n'abantu abalala abaava mu buwaŋŋanguse, ne batukuza Ekiggwa kya Katonda ekyo mu ssanyu.
17
Olw'okutukuza Ekiggwa kya Katonda ekyo, baaleeta ente ennume kikumi, endiga ennume ebikumi bibiri, obuliga obulume ebikumi bina, n'embuzi ennume kkumi na bbiri, okwenkana n'ebika bya Yisirayeli, olw'ekitambiro olw'ekibi ku lwa Yisirayeli yenna.
18
Bakabona ne babassa mu biti byabwe n'Abaleevi mu bisanja byabwe mu kuweereza Omukama mu Yeruzaalemu, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
19
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi omubereberye abaava mu buwaŋŋanguse ne bakuza Pasika.
20
Bakabona n'Abaleevi beetukuza; bonna nga balongoofu. Abaleevi ne batta akaliga ka Pasika olw'abaali bavudde mu buwaŋŋanguse, ku lwa baganda baabwe bakabona ne ku lwabwe bennyini.
21
Abayisirayeli abaali bavudde mu buwaŋŋanguse ne bakalya, era wamu n'abo bonna abaali beewaze empisa embi ez'ab'amawanga abaali mu nsi n'abo ababeetoolodde, nga baagala okunoonya Omukama Katonda wa Yisirayeli.
22
Baakuza Embaga y'Emigaati Egitazimbulukuse okumala ennaku musanvu nga basanyufu, kubanga Omukama yali abasanyusizza bwe yakyusiza gye bali omutima gwa kabaka wa Assuri n'abayamba mu mulimu gw'Ekiggwa ky'Omukama Katonda wa Yisirayeli.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10