bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 4
Ezra 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
1
Abalabe ba Yuda ne Benyamiini bwe baawulira nti abawaŋŋangusibwa bazimbira Omukama Katonda wa Yisirayeli ekiggwa,
2
ne basemberera Zerubabbeli n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, ne babagamba nti: “Tuzimbe wamu nammwe, kubanga naffe tuli nga mmwe, tunoonya Katonda wammwe; tubadde tumutambirira okuva mu budde bwa Esari-Kaddoni kabaka wa Assuri, eyatuleeta wano.”
3
Naye Zerubabbeli, Yeswa n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe eza Yisirayeli ne babagamba nti: “Si buvunaanyizibwa bwammwe okuzimbira Katonda waffe ekiggwa wamu naffe, wabula ffe ffekka ffe tunaazimbira Omukama Katonda wa Yisirayeli, nga Kuuro kabaka wa Buperusi bwe yatulagira.”
4
Ekyaddirira abantu ab'omu nsi ne batandika okuterebula abantu ba Yuda, ne babatawaanya mu kuzimba.
5
Baaguliriranga abakiise mu nkiiko babalyolyome, babasobeze mu ntegeka zaabwe ebbanga lyonna nga Kuuro ye kabaka wa Buperusi n'okutuuka ku bufuzi bwa Dariyo kabaka wa Buperusi.
6
Mu budde bwa Akasuwero nga yaakasooka okufuga, ne bawandiika nga bavunaana abantu b'omu Yuda ne Yeruzaalemu.
7
Mu budde bwa Arutakesasuta, Bisulamu, Mituredati, Tabeeli n'abalala bwe baakolanga baawandiikira Arutakesasuta kabaka wa Buperusi; ebbaluwa yali mu mpandiika ya Kyarami n'olulimi Lwarami.
8
Rekumu munnamateeka omukulu ne Simusayi omuwandiisi baawandiika ebbaluwa ewawaabira Yeruzaalemu ewa kabaka Arutakesasuta ng'esoma bw'eti ___
9
Abaawandiika: Rekumu munnamateeka omukulu, Simusayi omuwandiisi, ne bannaabwe abalala abalamuzi n'abaami okuva mu Tulipoli, Buperusi, Ereci, Babiloni, Susa, kwe kugamba nti Abeelami,
10
n'abalala mu mawanga oweekitiibwa Osunappari omututumufu be yawaŋŋangusa n'abassa mu bibuga bya Samariya ne mu bitundu ebirala Emitala w'Omugga __
11
Ebbaluwa gye baamuweereza yali efaanana bw'eti: “Ya kabaka Arutakesasuta, okuva mu baweereza bo abali Emitala w'Omugga:
12
tukutegeeza, ssebo Kabaka, nti Abayudaaya abajja eno mu ffe nga bava ewuwo, baatuuka mu Yeruzaalemu, era kati bali ku kuzimba ekibuga kino ekijeemu; bamaliriza bbugwe waakyo, era baddaabiriza n'omusingi.
13
Ssebo kabaka, twagala omanye nti singa ekibuga ekyo kizimbibwa, n'ebbugwe waakyo n'amalirizibwa, bajja kulekera awo okuwa omusolo omugereke, n'ogw'ekikungo n'empooza, oluvannyuma kabaka ajja kufiirizibwa.
14
Kubanga tulina obuvunaanyizibwa mu lubiri, tetwagala kulaba nga kabaka asoomoozebwa, kyetuvudde tuwandiika ne tubuulira kabaka,
15
onoonyereze mu biwandiiko by'ebyafaayo bya bakitaabo. Ojja kuzuula mu biwandiiko ebyo nti ekibuga kino kibuga kijeemu, kiwakula ennyombo ku bakabaka n'ebitundu bye bafuga; obwedda n'obwedda kibuga kikozi kya bujagalalo. Eyo ye nsonga kyekyava kizikirizibwa.
16
Tukubuulira, ssebo kabaka, nti ekibuga ekyo bwe kizimbibwa ne bbugwe n'amalirizibwa, tojja kusigaza kantu Emitala w'Omugga.”
17
Kabaka n'aweereza okuddamu nti: “Ya Rekumu munnamateeka omukulu, Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abali mu Samariya ne mu kitundu ky'Emitala w'Omugga. Mirembe.
18
Ebbaluwa gye mumpandiikidde ngifunye, era ekyusiddwa n'esomebwa mu maaso gange.
19
Nayisizza ekirangiriro ne banoonyereza, ne basanga ng'ekibuga ekyo okuva ddi kijeemera bakabaka, kisitukamu obujagalalo n'okutabangula abantu.
20
Yeruzaalemu yafugibwako bakabaka ab'amaanyi, abaafuganga ensi eyo yonna eri Emitala w'Omugga, nga basasulwa omusolo omugereke n'ogw'ekikungo n'empooza.
21
Muyise mangu ekirangiriro abantu abo bayimirize okuzimba; baleme kwongera kuzimba kibuga ekyo okutuuka nga waliwo ekirangiriro kye mpisizza.
22
Mwekkaanye, ensobi eno temugigayaalirira. Lwaki akabi kano kandyeyongedde ne kagootaanya obwakabaka?”
23
Ekiwandiiko ky'ebbaluwa ya kabaka Arutakesasuta olwasomerwa Rekumu munnamateeka omukulu, ne Simusayi omuwandiisi ne bannaabwe ne bagenda bunnambiro eri Abayudaaya mu Yeruzaalemu ne babakaka n'amaanyi okuyimiriza okuzimba.
24
Bwe gutyo omulimu gw'okuzimba Ekiggwa kya Katonda ne guyimirira; gwayimirira okutuusa mu mwaka ogwokubiri ogw'obwakabaka bwa Dariyo kabaka wa Buperusi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10