bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 2
Ezra 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
1
Bano be bantu ab'omu ttwale abaayambuka nga bava mu busibe bw'abawaŋŋangusibwa, Nebukadunezzari kabaka w'e Babiloni be yali atutte mu busibe mu Babiloni, ne bakomawo mu Yeruzaalemu ne mu Yuda, buli omu n'adda mu kibuga kye;
2
bajja ne Zerubabbeli, Yeswa, Nekemiya, Seraaya, Reelaaya, Morudekayi, Bilusani, Misupari, Biguvayi, Rekumu ne Baana. Omuwendo gw'abasajja b'eggwanga lya Yisirayeli:
3
bazzukulu ba Parosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri;
4
bazzukulu ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri;
5
bazzukulu ba Ara, lusanvu mu nsanvu mu bataano;
6
bazzukulu ba Pakati-Mowabu, be bazzukulu ba Yeswa ne Yowabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri;
7
bazzukulu ba Elamu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana;
8
bazzukulu ba Zattu, lwenda mu ana mu bataano;
9
bazzukulu ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga;
10
bazzukulu ba Bani, lukaaga mu ana mu babiri;
11
bazzukulu ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu;
12
bazzukulu ba Azugadi, lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri;
13
bazzukulu ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu mukaaga;
14
bazzukulu ba Biguvayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga;
15
bazzukulu ba Adini, bina mu ataano mu bana;
16
bazzukulu ba Ateri, abasibuka mu Kezekiya, kyenda mu munaana;
17
bazzukulu ba Bezayi, bisatu mu abiri mu basatu;
18
bazzukulu ba Yora, kikumi mu kkumi na babiri;
19
bazzukulu ba Kasumi, bikumi bibiri mu abiri mu basatu;
20
bazzukulu ba Gibbari, kyenda mu bataano;
21
abasajja b'e Beteleemu, kikumi mu abiri mu basatu;
22
abasajja b'e Netofa, makumi ataano mu mukaaga;
23
abasajja b'e Anatoti, kikumi mu abiri mu munaana;
24
abasajja b'e Azumaveti, amakumi ana mu babiri;
25
abasajja b'e Kiriyati-Yewarimu, Kafira ne Beeroti, lusanvu mu ana mu basatu;
26
abasajja b'e Rama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu;
27
abasajja b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri;
28
abasajja b'e Beteli ne Ayi, ebikumi bibiri mu abiri mu basatu;
29
abasajja b'e Nebo, amakumi ataano mu babiri;
30
bazzukulu ba Magubisi, kikumi mu ataano mu basatu;
31
abasajja b'e Elamu ekirala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana;
32
bazzukulu ba Karimu, bikumi bisatu mu abiri;
33
abasajja b'e Lodi, Kadidi ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano,
34
abasajja b'e Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano;
35
bazzukulu ba Seena, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu.
36
Bakabona: bazzukulu ba Yedaaya, okuva mu nnyumba ya Yeswa, lwenda mu nsanvu mu basatu:
37
bazzukulu ba Yimmeri, lukumi mu ataano mu babiri;
38
bazzukulu ba Pasukuru, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu;
39
bazzukulu ba Karimu, lukumi mu kkumi na musanvu.
40
Abaleevi: bazzukulu ba Yeswa ne Kadumyeli, ab'omu nnyumba ya Odaviya, nsanvu mu bana.
41
Abayimbi: bazzukulu ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana.
42
Abaggazi: bazzukulu ba Sallumu, Ateri, Talumoni, Akkubu, Katita ne Sobayi, bonna wamu kikumi mu asatu mu mwenda.
43
Abaweereza b'omu Kiggwa: bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoti,
44
bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaya, bazzukulu ba Padoni,
45
bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,
46
bazzukulu ba Kagabi, bazzukulu ba Salumayi, bazzukulu ba Kanani,
47
bazzukulu ba Giddeli, bazzukulu ba Gakari, bazzukulu ba Reyaaya,
48
bazzukulu ba Rezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,
49
bazzukulu ba Wuzza, bazzukulu ba Pasewa, bazzukulu ba Besayi,
50
bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Mewunimu, bazzukulu ba Nefussimu,
51
bazzukulu ba Bakubuku, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Karukuri,
52
bazzukulu ba Bazuluti, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Karusa,
53
bazzukulu ba Barukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Temaki,
54
bazzukulu ba Neziya, bazzukulu ba Katifa.
55
Bazzukulu b'abaweereza ba Solomoni: bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Assofereti, bazzukulu ba Peruda,
56
bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Darukoni, bazzukulu ba Giddeli,
57
bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattili, bazzukulu ba Pokereti-Kazzebayimu, bazzukulu ba Ami.
58
Abaweereza b'omu Kiggwa ne bazzukulu b'abagalagala ba Solomoni, bonna nga bawera ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
59
Bano be badda nga bava mu bibuga Teli-Melaki, Teli-Karusa, Kerubi, Addoni ne Yimmeri, naye nga tebasobola kutegeeza oba ennyumba ya bajjajjaabwe n'olulyo nga bya mu Yisirayeli:
60
bazzukulu ba Delaaya, bazzukulu ba Tobiya, bazzukulu ba Nekoda, lukaaga mu ataano mu babiri.
61
Ate mu ba bakabona: bazzukulu ba Kobaaya, bazzukulu ba Akkozi, bazzukulu ba Baruzillayi, eyawasa mu bawala ba Baruzillayi Omugileyaadi n'ayitibwa erinnya eryo.
62
Bano baanoonya obuwandiike bw'olulyo lwabwe ne batabuzuula, ne bagobebwa mu bakabona olw'obutaba balongoofu.
63
Owessaza n'abagaana okulyanga ku bintu ebitukuvu ennyo, okutuusa nga wazzeewo kabona aweereza ne Wurimu ne Tummimu.
64
Ekibiina kyonna baawera abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga,
65
ng'oggyeeko abaddu baabwe n'abazaana baabwe kasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu; ssaako abayimbi baabwe abasajja n'abakazi ebikumi bibiri.
66
Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga, ennyumbu ebikumi bibiri mu ana mu ttaano,
67
eŋŋamiya ebikumi bina mu asatu mu ttaano, n'endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri.
68
Abakulu b'endyo abamu bwe baatuuka ku Kiggwa ky'Omukama mu Yeruzaalemu, ne batona kyeyagalire eby'okuzimba Ekiggwa kya Katonda mu kifo kyakyo.
69
Mu ggwanika ly'omulimu baawaamu nga bwe basobola: durakuma emitwalo mukaaga mu lukumi eza zaabu, mina enkumi ttaano eza ffeeza, n'ekkanzu za bakabona kikumi.
70
Bakabona n'Abaleevi baasulanga mu bibuga byabwe, wamu n'abantu abamu, n'abayimbi, abaggazi n'abaweereza b'omu Kiggwa; Abayisirayeli abalala bonna baasenga mu bibuga byabwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10