bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 7
Ezra 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
1
Oluvannyuma, mu biseera bya Arutakesasuta kabaka wa Buperusi, Ezira mutabani wa Seraaya, mutabani wa Azariya, mutabani wa Kilukiya,
2
mutabani wa Sallumu, mutabani wa Zadoki, mutabani wa Akitubu,
3
mutabani wa Amariya, mutabani wa Azariya, mutabani wa Meraayoti,
4
mutabani wa Zerakiya, mutabani wa Wuzzi, mutabani wa Bukki,
5
mutabani wa Abisuwa, mutabani wa Finekasi, mutabani wa Eleyazari, mutabani wa Aroni kabona omukulu,
6
Ezira oyo, yayambuka okuva e Babiloni. Yali muwandiisi, omukugu mu Tteeka lya Musa Omukama Katonda wa Yisirayeli lye yawa. Kabaka yamuwa buli kyonna kye yasaba, kubanga omukono gw'Omukama Katonda we gwamuliko.
7
Abamu mu Bayisirayeli, nga mwe muli ne bakabona, Abaleevi, abayimbi, abaggazi n'abaweereza b'omu Kiggwa, baayambuka e Yeruzaalemu mu mwaka ogwomusanvu ogwa kabaka Arutakesasuta.
8
Ezira yajja mu Yeruzaalemu mu mwezi ogwokutaano, mu mwaka ogwomusanvu ogwa kabaka.
9
Yasitula okuva e Babiloni ku lunaku olusooka olw'omwezi omubereberye, n'atuuka mu Yeruzaalemu ku lunaku olubereberye olw'omwezi ogwokutaano, kubanga omukono omulungi ogwa Katonda we gwamuliko.
10
Ezira yali yassaako omwoyo ku kuyiga Etteeka ly'Omukama, ku kulituukiriza, ne ku kuyigiriza amateeka n'ebiragiro mu Yisirayeli.
11
Ebbaluwa yali efaanana bw'eti kabaka Arutakesasuta gye yawa Ezira kabona, omuwandiisi era omukugu ku bikwata ku mateeka g'Omukama n'ebiragiro bye eri Yisirayeli:
12
“Arutakesasuta kabaka wa bakabaka, eri Ezira kabona, omuwandiisi w'Etteeka lya Katonda w'eggulu. Nkulamusizza.
13
“Mpisizza ekirangiriro nti: mu bwakabaka bwange buli yenna ow'omu bantu ba Yisirayeli, nga mwe muli ne bakabona n'Abaleevi, ayagala okugenda naawe mu Yeruzaalemu, agende.
14
Otumiddwa kabaka n'ab'olukiiko lwe omusanvu ogende onoonyereze mu Yuda ne Yeruzaalemu Etteeka lya Katonda wo eryo ly'olina nga bwe ligamba.
15
Ojja kutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'ab'olukiiko lwe gwe batonedde kyeyagalire Katonda wa Yisirayeli, alina ekisulo kye mu Yeruzaalemu.
16
Okwo kw'onoogatta ffeeza yenna ne zaabu gw'onooba osobodde okufuna mu ssaza lyonna ery'e Babiloni, n'ebinaatonebwa kyeyagalire abantu ne bakabona olw'Ekiggwa kya Katonda waabwe mu Yeruzaalemu.
17
Weeyambise ssente ezo n'obwegendereza ogule ente ennume, endiga ennume, n'obuliga obulume, n'ebitone eby'obuwunga n'eby'okuyiwa, obiweerereze ku mwaliiro gw'Ekiggwa kya Katonda wammwe ekiri mu Yeruzaalemu.
18
Ggwe ne baganda bo muyinza okukozesa nga bwe mulaba ffeeza ne zaabu ebifisseewo, nga muluŋŋamizibwa Katonda wammwe ky'ayagala.
19
“Ebintu byonna ebikuweebwa olw'okuweereza mu Kiggwa kya Katonda wo bituuse mu maaso ga Katonda mu Yeruzaalemu.
20
N'ebirala byonna by'olina okugula, ebineetaagibwanga mu Kiggwa kya Katonda, okyayinza okubisasuliranga ng'oggya mu nkuluze ya kabaka.
21
Era nze kabaka Arutakesasuta nnangiridde nti abawanika abali Emitala w'Omugga, buli kyonna Ezira kabona, omuwandiisi w'etteeka lya Katonda w'eggulu, ky'abasabanga, muteekwanga okukimuwa,
22
okutuusa ku talenta kikumi eza ffeeza, kori kikumi ez'eŋŋano, bati kikumi ez'evviini, bati kikumi ez'omuzigo; gwo omunnyo teguliiko kkomo lyawandiikibwa.
23
Kyonna Katonda w'eggulu ky'alangiridde, kikolebwenga n'obwegendereza ku lw'Ekiggwa kya Katonda w'eggulu. Ggwe lwaki obusungu bwandijjidde eŋŋoma ya kabaka n'eya batabani be?
24
Naye mumanye nti temulina buyinza kuweesa musolo mugereke oba gwa kikungo n'empooza bakabona, Abaleevi, abayimbi, abaggazi, abaweereza b'omu Kiggwa, n'abakozi abalala mu Kiggwa kya Katonda.
25
“Ate ggwe, Ezira, ng'ogoberera amagezi ga Katonda wo g'olina, ssaawo abalamuzi n'abakubirizi, balamule abantu bonna abali Emitala w'Omugga, kwe kugamba nti abo abamanyi Etteeka lya Katonda wo. Abatalimanyi mubayigirize.
26
Buli yenna atatuukiriza Tteeka lya Katonda wo na tteeka lya kabaka ateekwa okusalirwa ekibonerezo kya kufa, oba kya kugobebwa, oba kya kubowebwako bibye, oba kya kusibirwa mu kkomera.”
27
Omukama Katonda wa bajjajjaffe agulumizibwe, eyatadde mu mutima gwa kabaka eky'okugulumiza mu ngeri eno Ekiggwa ky'Omukama ekiri mu Yeruzaalemu,
28
era eyandeetedde okugirirwa ekisa kabaka, ab'olukiiko be n'abakungu be ab'obuyinza. Kubanga omukono gwa Katonda wange gwandiko, naguma ne nkuŋŋaanya abakulembeze mu Yisirayeli bagende nange.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10