bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 5
Ezra 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
1
Awo Aggayi omulanzi ne Zakariya omulanzi, mutabani wa Yiddo, ne balanga eri Abayudaaya abaali mu Yuda ne mu Yeruzaalemu, mu linnya lya Katonda wa Yisirayeli eyabaliko.
2
Zerubabbeli mutabani wa Seyalutyeli ne Yeswa mutabani wa Yozadaki ne batandika okuzimba Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu; abalanzi ba Katonda baali nabo nga babayamba.
3
Mu budde obwo Tattenayi eyali owessaza Emitala w'Omugga n'ajja gye bali ne Setari-Bozenayi ne bannaabwe ne bababuuza nti: “Ani yabakkiriza okuzimba ekiggwa kino n'okumaliriza omusekese guno?”
4
Ne bababuuza era nti: “Amannya galuwa ag'abasajja abazimba ekizimbe kino?”
5
Naye eriiso lya Katonda waabwe lyali ku bakadde b'Abayudaaya, sibaabayimiriza okutuusa ng'ekiwandiiko kimaze okugenda ewa Dariyo nga n'ebbaluwa ye emaze okufunibwa.
6
Eno ye bbaluwa owessaza Tattenayi mu kitundu ky'Emitala w'Omugga, Setari-Bozenayi ne banne abaami b'Emitala w'Omugga, gye baaweereza ewa kabaka Dariyo.
7
Obubaka bwe baamuweereza bwali buwandiikiddwa bwe buti: “Eri kabaka Dariyo. Mu byonna mirembe.
8
Ssebo kabaka, tukutegeeza nti twagenda mu ssaza lya Yuda, eri Ekiggwa kya Katonda Omukulu. Bakizimba n'amayinja amanene, ne mu bisenge bakookeddemu emiti. Omulimu gukolebwa na bwegendereza era gulamidde abaguluŋŋamya.
9
Twabuuza abakadde abo, ne tubagamba nti: ‘Ani yabakkiriza okuzimba ekiggwa kino n'okumaliriza omusekese guno?’
10
Twababuuza n'amannya gaabwe, tulyoke tuwandiike amannya g'abasajja ababakulira olw'okukumanyisa.
11
“Baatuddamu bwe bati: ‘Ffe tuli baweereza ba Katonda w'eggulu n'ensi; tuzimba buto ekiggwa ekyali kizimbiddwa wano emyaka mingi egiyiseewo, kabaka wa Yisirayeli omukulu kye yali azimbye n'akimaliriza.
12
Naye bajjajjaffe baanyiiza Katonda w'eggulu, n'abawaayo mu mikono gya Nebukadunezzari Omukaludeya, kabaka w'e Babiloni, eyazikiriza ekiggwa kino, abantu baayo n'abawaŋŋangusiriza mu Babiloni.
13
Naye mu mwaka ogusooka ogwa Kuuro kabaka w'e Babiloni, kabaka Kuuro yayisa ekirangiriro Ekiggwa kya Katonda kino kizimbibwe.
14
Yaggya ne mu kiggwa ky'e Babiloni ebintu ebya zaabu ne ffeeza Nebukadunezzari bye yali aggye mu Kiggwa e Yeruzaalemu n'abireeta mu kiggwa ky'e Babiloni. Kabaka Kuuro yabikwasa omusajja gwe bayita Sesubazzari, gwe yali awadde obwessaza,
15
n'amugamba nti: “Ebintu bino bitwale, genda obiteeke mu Kiggwa ekiri mu Yeruzaalemu, n'Ekiggwa kya Katonda kizimbibwe mu kifo kyakyo.”
16
Bw'atyo Sesubazzari ono n'ajja n'azimba omusingi gw'Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu; n'okuva olwo n'okutuusa kati kizimbibwa, tekinnaba kuggwa.’
17
“Kale nno oba kabaka alaba nga kirungi, bakebere mu nnyumba y'enkuluze ya kabaka eri mu Babiloni, alabe oba Kuuro kabaka yali ayisizza ekirangiriro okuzimba Ekiggwa kya Katonda mu Yeruzaalemu, olwo kabaka atubuulire ky'asazeewo ku kigambo kino.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10