bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Ezra 8
Ezra 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
1
Bano be bakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe n'amazadde gaabwe, abo abaayambuka nange okuva mu Babiloni mu biseera bya kabaka Arutakesasuta:
2
Mu batabani ba Finekasi, Gerusomu; mu batabani ba Yitamari, Danyeli; mu bazzukulu ba Dawudi, Kattusi,
3
mutabani wa Sekaniya; mu bazzukulu ba Parosi, Zakariya, awamu naye abasajja abaawandiikibwa kikumi mu ataano;
4
mu bazzukulu ba Pakati-Mowabu, Eliyowenayi, mutabani wa Zerakiya, wamu naye abasajja ebikumi bibiri;
5
mu bazzukulu ba Sekaniya, mutabani wa Yakaziyeli, awamu naye abasajja ebikumi bisatu;
6
mu bazzukulu ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonatani, awamu naye abasajja amakumi ataano;
7
mu bazzukulu ba Elamu, Yesaaya mutabani wa Ataliya, awamu naye abasajja nsanvu;
8
mu bazzukulu ba Sefatiya, Zebediya mutabani wa Mikayeli, awamu naye abasajja kinaana;
9
mu bazzukulu ba Yowabu, Obadiya mutabani wa Yekiyeli, awamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana;
10
mu bazzukulu ba Selomiti mutabani wa Yosifiya, awamu naye abasajja kikumi mu nkaaga;
11
Mu bazzukulu ba Bebayi, Zakariya mutabani wa Bebayi, awamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana;
12
mu bazzukulu ba Azugadi, Yokanani mutabani wa Kakkatani, awamu naye abasajja kikumi mu kkumi;
13
mu bazzukulu ba Adonikamu, abajja oluvannyuma, gano ge mannya gaabwe: Elifeleti, Yeweli, ne Semaaya, awamu naye abasajja nkaaga;
14
mu bazzukulu ba Biguvayi, Wutayi mutabani wa Zakkuri, awamu naye abasajja nsanvu.
15
Nabakuŋŋaanyiza ku mukutu oguyiwa ku Awava, ne tusiisira awo ennaku ssatu. Natunula mu bantu ne mu bakabona naye saasangamu bazzukulu ba Leevi.
16
Kwe kutumya Eliyezeri, Ariyeli, Semaaya, Elunatani, Yaribu, Elunatani, Natani, Zakariya, Mesullamu abaali abakulembeze, ne Yowaribu ne Elunatani abasajja abakalabakalaba,
17
ne mbasindika ewa Yiddo, omukulu mu kifo ky'e Kasifiya, nga mbagambye bagambe Yiddo ne baganda be, abakola ogw'obuweereza bw'Ekiggwa, abawe batuleetere abanaaweereza mu Kiggwa kya Katonda waffe.
18
Kubanga omukono gwa Katonda waffe gwatuliko, ne batuleetera omusajja omugezi ennyo, omu ku bazzukulu ba Makuli mutabani wa Leevi, mutabani wa Yisirayeli; ye Serebiya, wamu ne bazzukulu be ne baganda be, abasajja kkumi na munaana;
19
ne Kasabiya awamu naye Yesaaya, omu ku bazzukulu ba Merari, ne bazzukulu be ne baganda be, abasajja amakumi abiri.
20
Baleeterako n'abaweereza b'omu Kiggwa, abo Dawudi n'abakungu be be baali batonzeewo okuyamba ku Baleevi; baali ebikumi bibiri mu abiri. Bonna ne bawandiikibwa amannya gaabwe.
21
Eyo ku mugga Awava nalangiririrayo ekisiibo, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, tumusabe atuwe, ffe, abaana baffe n'ebyaffe byonna, olugendo olulungi.
22
Zo ensonyi zankwata ne sisaba kabaka bakuumi na beebagazi ku mbalaasi ab'okututaasa abalabe mu kkubo, kubanga twali tugambye kabaka nti: “Omukono gwa Katonda waffe omulungi guli ku bonna abamunoonya abakuume, naye obuyinza n'obusungu bwe bijjira abo bonna abamuvaako.”
23
Twasiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eno; Omukama n'awulira okwegayirira kwaffe.
24
Mu bakulu ba bakabona ne njawulako kkumi na babiri, wamu ne Serebiya, Kasabiya, n'abalala kkumi okuva mu baganda baabwe,
25
ne mbapimira ffeeza, zaabu n'ebintu kabaka, ab'olukiiko lwe, abakungu be, n'Abayisirayeli bonna abaaliwo, bye baali batonedde Ekiggwa kya Katonda waffe.
26
Nabapimira mu mikono gyabwe ffeeza wa talenta lukaaga mu ataano, n'ebintu ebya ffeeza ebizitowa talenta kikumi; zaabu wa talenta kikumi,
27
ebikompe ebya zaabu makumi abiri nga bivaamu dariki eza zaabu lukumi, n'ebibya eby'ekikomo ebimasamasa obulungi ennyo bibiri, eby'omuwendo nga zaabu.
28
Ne mbagamba nti: “Mmwe muwongeddwa Omukama Katonda wa bajjajjaffe, era nga n'ebintu bino bwe biwongeddwa. Ffeeza ne zaabu bitoneddwa kyeyagalire Omukama Katonda wa bajjajjaffe.
29
Mubirabirire, mubikuume okutuusa lwe munaabipimira mu bisenge by'Ekiggwa ky'Omukama mu maaso g'abakulu ba bakabona, Abaleevi n'abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe eza Yisirayeli mu Yeruzaalemu.”
30
Bakabona n'Abaleevi ne batwala ffeeza ne zaabu n'ebintu ebyali bibapimiddwa, babituuse e Yeruzaalemu mu Kiggwa kya Katonda waffe.
31
Ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi omubereberye, ne tusitula okuva ku mugga Awava, tugende e Yeruzaalemu. Omukono gwa Katonda waffe gwatuliko, gwatuwonya abalabe n'abanyazi mu kkubo.
32
Ne tutuuka mu Yeruzaalemu, ne tuwummulako awo ennaku ssatu.
33
Ku lunaku olwokuna ffeeza, zaabu n'ebintu ebitukuvu ne tubipima mu Kiggwa kya Katonda waffe; twabikwasa Meremoti mutabani wa Wuriya kabona, yali ne Eleyazari mutabani wa Finekasi; abaali nabo ye Yozabadi mutabani wa Yeswa ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi Omuleevi.
34
Buli kintu kyabalibwa omuwendo gwakyo n'obuzito bwakyo; obuzito bwonna awamu ne buwandiikibwa ku olwo.
35
Abawaŋŋangusibwa, abaali baakadda okuva mu busibe, ne baweereza Katonda wa Yisirayeli ebitambiro ebyokye: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Yisirayeli yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga, obuliga obulume nsanvu mu musanvu, embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekitambiro olw'ekibi. Byonna byaweerezebwa Omukama ng'ekitambiro ekyokye.
36
Baatuusa n'ebiragiro bya kabaka eri abakungu be: abafuzi b'amatwale n'abaamasaza abafuga Emitala w'Omugga, bano ne bayamba abantu n'Ekiggwa ky'Omukama.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10