bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 1
Ezra 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
1
Awo mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama kye yayogera nga ayita mu Yeremiya ne kituukirira. Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi n'okulangirira n'alangirira okubunya obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'agamba a nti,
2
“Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti, Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.
3
Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda abeere naye, era ayambuke e Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, ye Katonda ali mu Yerusaalemi.
4
Era buli akyasigaddewo mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamuyambe, nga bamuwa ffeeza ne zaabu n'ebintu, n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.”
5
Awo abakulu b'ennyumba mu bika, ekya Yuda n'ekya Benyamini, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
6
Awo abo bonna ababeetolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza n'ebya zaabu n'ebisolo, n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye bawaayo ku bwabwe.
7
Era Kuulo kabaka n'afulumya ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza bye yaggya mu Yerusaalemi n'abiteeka mu ssabo lya bakatonda be.
8
Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya n'abikwasa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda.
9
Era guno gwe muwendo gwabyo: essowaani eza zaabu asatu (30), essowaani eza ffeeza lukumi (1,000), obwambe abiri mu mwenda (29),
10
ebibya ebya zaabu asatu (30), ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogwokubiri bina mu kkumi (410), n'ebibya ebirala lukumi (1,000).
11
Essowaani zonna eza zaabu n'eza ffeeza zaali enkumi ttaano mu bina (5,400). Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babbulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10