bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 8
Ezra 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
1
Bano be bakulu be nnyumba za bakitaabwe, era buno bwe buzaale bw'abo abaava nange e Babbulooni ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka.
2
Okuva ku batabani ba Finekaasi, Gerusomu, okuva ku batabani ba Isamali, Danyeri, okuva ku batabani ba Dawudi, Kattusi.
3
Okuva ku batabani ba Sekaniya; okuva ku batabani ba Palosi, Zekkaliya; era wamu naye ne wabalibwa abasajja ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, kikumi mu ataano (150).
4
Okuva ku batabani ba Pakasumowaabu, Erwenayi mutabani wa Zerakiya; era wamu naye ne abasajja bibiri (200).
5
Okuva ku batabani ba Sekaniya, mutabani wa Yakaziyeeri; era wamu naye abasajja bisatu (300).
6
Okuva ku batabani ba Adini, Ebedi mutabani wa Yonasaani; era wamu naye abasajja ataano (50).
7
Okuva ku batabani ba Eramu, Yesaya mutabani wa Asaliya; era wamu naye abasajja nsanvu (70).
8
Okuva ku batabani ba Sefatiya, Zebadiya mutabani wa Mikayiri; era wamu naye abasajja kinaana (80).
9
Okuva ku batabani ba Yowaabu, Obadiya mutabani wa Yekyeri; era wamu naye abasajja bibiri mu kkumi na munaana (218).
10
Okuva ku batabani ba Seromisi, mutabani wa Yosifiya; era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160).
11
Okuva ku batabani ba Bebayi, Zekkaliya mutabani wa Bebayi; era wamu naye abasajja abiri mu munaana (28).
12
Okuva ku batabani ba Azugadi, Yokanani mutabani wa Kakkatani; era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110).
13
Okuva ku batabani ba Adonikamu abajja oluvannyuma; amannya gaabwe ge gano, Erifereti, Yeweri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60).
14
Okuva ku batabani ba Biguvayi, Usayi ne Zabbudi; era wamu nabo abasajja nsanvu (70).
15
Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogugenda e Yakava; ne tusiisira eyo ne tumalayo ennaku ssatu. Ne nneetegereza abantu ne bakabona, ne ssirabayo n'omu ku batabani ba Leevi.
16
Awo ne ntumya Eryeza, Alyeri, Semaaya, ne Erunasani, ne Yalibu, Erunasani, Nasani, Zekkaliya, ne Mesullamu, abasajja abakulu, era ne Yoyalibu ne Erunasani, abasajja abamanyi ensonga.
17
Ne mbatuma okugenda eri Iddo, omukulu w'ekifo Kasifiya; ne mbabuulira bye baba bagamba Iddo ne baganda be abaweereza b'omu Yeekaalu abaali eyo e Kasifiya, batuweereze abantu ab'okuweereza mu nnyumba ya Katonda waffe.
18
Awo olw'omukono omulungi ogwa Katonda waffe ogwali ku ffe ne batuleetera omusajja ow'amagezi, ow'oku batabani Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isiraeri; ne Serebiya ne batabani be ne baganda be, kkumi na munaana (18)
19
ne Kasabiya, era wamu naye Yesaya ow'oku batabani ba Merali, baganda be ne batabani baabwe, abiri (20).
20
Okwo kweyongerako abaweereza ab'omu Yeekaalu bibiri mu abiri (220). Kabaka Dawudi n'abakungu be baawaayo okuyamba Abaleevi. Abo bonna ne baatulwa amannya gaabwe.
21
Awo ne nnangirira okusiiba eyo, ku mugga Akava, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, okunoonya gy'ali ekkubo eggolokofu, eryaffe, era ery'abaana baffe abato, era ery'ebintu byaffe byonna.
22
Kubanga ensonyi zankwata okusaba kabaka ekitongole ky'abaserikale n'abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe mu kkubo; kubanga twali twogedde ne kabaka nti, “Omukono gwa Katonda waffe guba ku abo bonna abamunoonya olw'obulungi; naye obuyinza bwe n'obusungu bwe buli eri abo bonna abamuleka.”
23
Awo ne tusiiba ne tusaba Katonda ekigambo kino ne tumwegayirira era n'awulira kye twamusaba.
24
Awo ne njawula kkumi na babiri (12), ku bakulu ba bakabona, Serebiya, Kasabiya, ne baganda baabwe kkumi (10).
25
Abo ne mbapimira effeeza n'ezaabu, n'ebintu, kye kiweebwayo olw'ennyumba ya Katonda waffe, kabaka n'abateesa naye n'abakungu be era ne Isiraeri yenna abaali eyo bye baawaayo.
26
Nabapimira ne mbakwasa talanta eza ffeeza lukaaga mu ataano (650), n'ebintu ebya ffeeza talanta kikumi (100), zaabu talanta kikumi (100),
27
n'ebibya ebya zaabu abiri (20), ebya daliki lukumi (1,000), n'ebintu bibiri eby'ebikomo ebirungi ebizigule, eby'omuwendo nga zaabu.
28
Ne mbagamba nti Muli batukuvu eri Mukama, n'ebintu bitukuvu; ne ffeeza ne zaabu kye kiweebwayo ku bwammwe eri Mukama wa bajjajjammwe.
29
Mutunule mubikuume okutuusa lwe mulibipima mu maaso g'abakulu ba bakabona n'Abaleevi n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri mu Yerusaalemi mu bisenge eby'omu nnyumba ya Mukama.
30
Awo bakabona n'Abaleevi ne batoola ffeeza ne zaabu n'ebintu ng'obuzito bwabyo bwe bwali okubireeta e Yerusaalemi mu nnyumba ya Katonda waffe.
31
Awo ne tuvaayo ku mugga Akava ku lunaku olw'ekkumi n'ebbiri olw'omwezi ogwolubereberye okugenda e Yerusaalemi; n'omukono gwa Katonda waffe gwali ku ffe, n'atuwonya mu mukono gw'omulabe n'omuteezi mu kkubo.
32
Ne tujja e Yerusaalemi ne tumalayo ennaku ssatu (3).
33
Awo ku lunaku olwokuna ne bapimira ffeeza ne zaabu n'ebintu mu nnyumba ya Katonda waffe, era ne tubikwasa mu mukono gwa Meremoosi mutabani wa Uliya kabona. Era awamu naye waaliwo Ereyazaali mutabani wa Finekaasi; era awamu nabo waaliwo Abaleevi: Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi.
34
Ebintu byonna ng'omuwendo gwabyo era ng'obuzito bwabyo bwe byali; byabalibwa ne bipimibwa era byonna ne biwandiikibwa mu kiseera ekyo.
35
Abaana b'obusibe abaakomawo ewaabwe nga bava mu buwaŋŋanguse ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isiraeri, ente kkumi na bbiri (12) olwa Isiraeri yenna, endiga ennume kyenda mu mukaaga (96), endiga ento nsanvu mu musanvu (77), embuzi ennume kkumi na bbiri (12) okuba ekiweebwayo olw'ekibi; ezo zonna ne ziba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
36
Ne bawa abaamasaza ebiragiro bya kabaka n'abo abafuga emitala w'omugga; abo ne bayamba abantu era n'ennyumba ya Katonda.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10