bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 3
Ezra 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
1
Awo omwezi ogw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga, abantu ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi ng'omuntu omu.
2
Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki n'ayimirira ne baganda be bakabona, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne baganda be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
3
Ne basimba ekyoto mu kifo kyakyo; newakubadde nga baali batya abantu ab'omu nsi, ne baweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, buli nkya n'akawungeezi.
4
Ne bakwatanga embaga ey'ensiisira nga bwe kyawandiikibwa, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwali, ng'ekiragiro bwe kyali, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali.
5
Oluvannyuma ne bawaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'emirembe gyonna, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga zonna eza Mukama ezaalagirwa, n'ebya buli muntu eyawaayo ng'ayagadde ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama.
6
Ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu kwe baatandikira okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. Naye emisingi gya Yeekaalu ya Mukama nga teginnaba kussibwawo.
7
Era ne bawa abazimbi n'ababazzi ensimbi; n'eby'okulya n'eby'okunywa n'amafuta ne babiwa ab'e Sidoni n'ab'e Ttuulo, okuggya emivule ku Lebanooni okugireta ku nnyanja e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagira.
8
Awo mu mwaka ogwokubiri kasookedde bajja eri ennyumba ya Katonda e Yerusaalemi, mu mwezi ogwokubiri, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne batandika omulimu ne baganda baabwe abalala, ne batandika omulimu ne bakabona n'Abaleevi n'abo abaali bavudde mu busibe obwo ne bajja e Yerusaalemi ne babeegattako. Ne balonda Abaleevi abawezezza emyaka asatu (30) n'okukirawo okulabirira omulimu ogw'okuzimba ennyumba ya Mukama.
9
Awo Yesuwa n'ayimirira ne batabani be ne baganda be, ne Kadumyeri ne batabani be, ne batabani ba Yuda, ne beegatta wamu okulabirira abakozi mu nnyumba ya Katonda, ne beegattibwako batabani ba Kenadadi, n'Abaleevi, batabani baabwe ne baganda baabwe.
10
Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya Yeekaalu ya Mukama, bakabona ne bajja nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakkondeere, n'Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi kabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka.
11
Ne bayimba nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti, “Kubanga mulungi, n'okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna eri Isiraeri.” Abantu bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene nga batendereza Mukama, kubanga emisingi gy'ennyumba ya Mukama gissibbwawo.
12
Naye bangi ku bakabona n'Abaleevi n'abakulu be nnyumba za bakitaabwe, n'abakadde abaalaba ennyumba eyasooka, emisingi gy'ennyumba eno bwe ggyassibwawo mu maaso gaabwe, ne bakaaba amaziga n'eddoboozi ddene; so nga abalala bangi bayogerera waggulu n'essanyu.
13
Abantu n'okuyinza ne batayinza kwawula eddoboozi ery'okwogerera waggulu n'essanyu n'eddoboozi ery'okukaaba kw'abantu, kubanga abantu baayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, oluyoogaano ne luwulirirwa wala.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10