bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 9
Ezra 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
1
Awo ebigambo ebyo bwe byaggwa okukolebwa, abakulu ne bansemberera nga boogera nti, “Abantu ba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi tebeeyawudde na mawanga ag'omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe, egy'Abakanani, n'Abakiiti, n'Abaperizi, n'Abayebusi, n'Abamoni, n'Abamowaabu, n'Abamisiri, n'Abamoli.
2
Kubanga beewasiriza ku bawala baabwe, ne batabani baabwe babawasiriza abakazi ab'amawanga amalala; bwe kityo ezzadde ettukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi. Weewaawo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusinze okwonoona bwe gutyo.”
3
Awo bwe nnawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enviiri ez'oku mutwe gwange n'ekirevu kyange, ne ntuula nga nsamaliridde.
4
Awo ne wakuŋŋaanira gye ndi bonna abaakankanira ebigambo Katonda wa Isiraeri bye yayogera olw'okusobya kw'abo ab'obusibe, ne ntuula nga nsamaaliridde ne ntuusa ekitone eky'akawungeezi we kiweerwayo.
5
Awo ekitone eky'akawungeezi bwe kyaweebwayo, ne nsituka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekyambalo kyange n'omunagiro gwange nga biyulise; ne nfukamira ku maviivi gange ne nnyanjuluza engalo zange eri Mukama Katonda wange;
6
ne njogera nti, “Ayi Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, amaaso gange ne gamyuka okuyimusa amaaso gange gy'oli, Katonda wange, kubanga obutali butuukirivu bwaffe bweyongedde ne busukka emitwe gyaffe, n'omusango gwaffe gugulumidde okutuuka mu ggulu.
7
Okuva ku nnaku za bajjajjaffe n'okutuusa leero tuzizza omusango munene nnyo; era olw'obutali butuukirivu bwaffe kyetwava tugabulwa, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mukono gwa bakabaka b'ensi abalala, era neri ekitala, ne tutwalibwa nga tuli basibe, ne tunyagibwa era n'amaaso gaffe okukwatibwa ensonyi nga leero.
8
Ne kaakano akaseera katono ekisa kiragiddwa ekiva eri Mukama Katonda waffe, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa enninga mu kifo ekitukuvu, Katonda waffe ayakire amaaso gaffe n'okutuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe.
9
Kubanga tuli basibe; naye Katonda waffe tatwabulidde mu buddu bwaffe, naye atwongeddeko okusaasirwa ne twagalibwa mu maaso ga bakabaka b'e Buperusi, ne batuwa okuweeraweera, n'okutukirizza okuzimba ennyumba ya Katonda waffe n'okuddaabiriza ebyayo ebyagwa n'okutuwa bbugwe mu Yuda ne mu Yerusaalemi.
10
Kale nno, ayi Katonda waffe, tunaayogera ki oluvannyuma lwa bino? Kubanga twaleka ebiragiro byo,
11
bye walagira ng'oyita mu baddu bo bannabbi ng'oyogera nti, ‘Ensi gye muyingiramu okugirya si nnongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, baagijjuzizza obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi.
12
Kale nno temuwanga bawala bammwe batabani baabwe, so temuwasizanga batabani bammwe bawala baabwe, so temunoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe emirembe gyonna, mulyoke mube n'amaanyi mulye ebirungi ebiri mu nsi, mugirekere abaana bammwe okuba obusika bwabwe emirembe gyonna.’
13
Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, kubanga ggwe, Katonda waffe, watubonerezaako katono so si ng'obutali butuukirivu bwaffe bwe bwatusaanyiza, n'otuwa ekitundu ekyenkana awo.
14
Kale tuyinza tutya okuddamu okusobya amateeka go ne tuba bakoddomi b'amawanga agakola eby'emizizo? Tewanditusunguwalidde okutuusa lwe wandituzikirizza, obutabaawo kitundu ekifisseewo newakubadde ow'okuwona?
15
Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, ggwe mutuukirivu; kubanga ffe tusigadde ekitundu ekifisseewo ekiwonye nga bwe kiri leero. Laba, tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango; kubanga tewali ayinza okuyimirira mu maaso go olw'omusango ogwo.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10