bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 10
Ezra 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
1
Awo Ezera bwe yali ng'asaba era ng'ayatula, ng'akaaba amaziga era ng'avuunamye mu maaso g'ennyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira waali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene ennyo eky'abasajja n'abakazi n'abaana abato, kubanga abantu baakaaba nnyo nnyini amaziga.
2
Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri omu ku batabani ba Eramu, n'addamu n'agamba Ezera nti, “Twonoonye Katonda waffe, ne tuwasa abakazi bannamawanga ab'oku mawanga ag'omu nsi, naye kaakano essuubi weeriri eri Isiraeri olw'ekyo.
3
Kale nno tulagaane endagaano ne Katonda waffe okugoba abakazi bonna n'abo be baazaala, ng'okuteesa bwe kuli okwa mukama wange n'abo abakankanira ekiragiro kya Katonda waffe; era kikolebwe ng'amateeka ge bwe gali.
4
Situka, kubanga ogwo mulimu gwo, naffe tuli wamu naawe; guma omwoyo okikole.”
5
Awo Ezera n'alyoka asituka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenna, nga banaakola ng'ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira.
6
Awo Ezera n'alyoka asituka okuva mu maaso g'ennyumba ya Katonda, n'ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu, awo bwe yatuukayo, n'atalya mmere so teyanywa mazzi, kubanga yanakuwala olw'okusobya kw'abo ab'obusibe.
7
Ne balangirira okubunya Yuda ne Yerusaalemi abaana bonna ab'obusibe bakuŋŋaanire e Yerusaalemi;
8
era buli atalijja mu bbanga ery'ennaku ssatu, ng'okuteesa kw'abakulu n'abakadde bwe kwali, afiirwe ebintu bye byonna, naye yennyini ayawulibwe mu kibiina eky'obusibe.
9
Awo abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga ery'ennaku essatu; gwali mwezi gwa mwenda, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, abantu bonna ne batuula mu kifo ekigazi mu maaso g'ennyumba ya Katonda, nga bakankana olw'ensonga eyo n'olw'enkuba ennyingi.
10
Awo Ezera kabona n'ayimirira n'abagamba nti, “Mwasobya ne muwasa abakazi bannamawanga okwongera ku Isiraeri omusango.
11
Kale nno mwatulire Mukama Katonda wa bajjajjammwe, mukole ebyo by'asiima; mweyawule n'amawanga ag'omu nsi n'abakazi bannamawanga.”
12
Awo ekibiina kyonna ne baddamu ne boogera n'eddoboozi ddene nti, “Nga bw'oyogedde, ebigambo byaffe, bwe kityo bwe kitugwanidde okukola.
13
Naye abantu tuli bangi, era bye biro eby'enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru, so guno omulimu si gwa lunaku lumu oba bbiri, kubanga twasobya nnyo mu kigambo ekyo.
14
Kale abakulu baffe beeyimirire ekibiina kyonna, n'abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasa abakazi bannamawanga bajjire mu biseera ebiteekebwawo, era wamu nabo abakadde ba buli kibuga, n'abalamuzi baakyo, okutuusa Katonda waffe lw'alikyusa ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaako, era okutuusa ekigambo kino lwe kinaamalibwa.”
15
Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bokka ne bayimirira okugaana ekigambo kino, era Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi ne babawagira.
16
Awo abaana b'obusibe ne bakola bwe batyo. Awo Ezera kabona n'alonda abasajja, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era n'awandiika amannya gaabwe; ne batuula ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi, okwetegereza ekigambo ekyo.
17
Ne bamala ebigambo by'abasajja bonna abaali bawasizza abakazi bannamawanga ng'olunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwolubereberye terunayita.
18
Ne mu batabani ba bakabona ne musangibwamu abaali bawasizza abakazi bannamawanga; ku batabani ba Yesuwa, mutabani wa Yozadaki ne baganda be, Maaseya, Eryeza, Yalibu ne Gedaliya.
19
Abo ne basuubiza okugoba bakazi baabwe; era kubanga omusango gubasinze ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo olw'omusango gwabwe.
20
Ne ku batabani ba Immeri; Kanani ne Zebadiya.
21
Ne ku batabani ba Kalimu; Maaseya, Eriya, Semaaya, Yekyeri, ne Uzziya.
22
Ne ku batabani ba Pasukuli; Eriwenayi, Maaseya, Isimaeri, Nesaneeri, Yozabadi, ne Erasa.
23
Ne ku Baleevi; Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya era ayitibwa Kerita, Pesakiya, Yuda, ne Eryeza.
24
Ne ku bayimbi; Eriyasibu: ne ku baggazi; Sallumu, Teremu ne Uli.
25
Ne ku baana ba Isiraeri abalala; ku batabani ba Palosi; Lamiya, Izziya, Malukiya, Miyamini, Ereyazaali, Malukiya, ne Benaya.
26
Ne ku batabani ba Eramu; Mattaniya, Zekkaliya, Yekyeri, Abudi, Yeremoosi, ne Eriya
27
Ne ku batabani ba Zattu; Eriwenayi, Eriyasibu, Mattaniya, Yeremoosi, Zabadi, ne Aziza.
28
Ne ku batabani ba Bebayi; Yekokanani, Kananiya, Zabbayi, Asulaayi.
29
Ne ku batabani ba Bani; Mesullamu, Malluki, ne Adaya, Yasubu, Seyaali ne Yeremoosi.
30
Ne ku batabani ba Pakasumowaabu; Aduna, Kerali, Benaya, Maaseya, Mattaniya, Bezaleeri, Binnuyi, ne Manase.
31
Ne ku batabani ba Kalimu; Eryeza, Isusiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni;
32
Benyamini, Malluki ne Semaliya.
33
Ku batabani ba Kasumu; Mattenayi, Mattata, Zabadi, Erifereti, Yeremayi, Manase ne Simeeyi.
34
Ku batabani ba Baani; Maadayi, Amulaamu, ne Uweri;
35
Benaya, Bedeya, Keruki;
36
Vaniya, Meremoosi, Eriyasibu;
37
Mattaniya, Mattenayi, ne Yaasu;
38
Baani, Binnuyi ne Simeeyi;
39
Seremiya, Nasani ne Adaya;
40
Makunadebayi, Sasayi, Salaayi;
41
Azaleeri Seremiya ne Semaliya;
42
Sallumu, Amaliya, Yusufu.
43
Ku batabani ba Nebo; Yeyeeri, Mattisiya, Zabadi, Zebina, Iddo, Yoweeri ne Benaya.
44
Abo bonna baali bawasizza abakazi bannamawanga, era abamu ku bo baali balina abakazi be baali bazaddemu abaana, bonna ne babagoba n'abaana baabwe.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10