bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 4
Ezra 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
1
Awo abalabe b'abantu ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng'abaana b'obusibe bazimbira Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu;
2
ne balyoka basemberera Zerubbaberi n'abakulu be nnyumba za bakitaabwe ne babagamba nti, “Katuzimbire wamu nammwe, kubanga tusinza Katonda wammwe, era tubadde tuwaayo ssaddaaka gyali okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatuleeta wano.”
3
Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'abakulu b'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti, “Temulina kigambo naffe mu kuzimbira Mukama Katonda waffe ennyumba, naye ffe fekka tulizimbira Mukama Katonda wa Isiraeri nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira.”
4
Awo abantu ab'omu nsi ne banafuya emikono gy'abantu ba Yuda nga babateganya mu kuzimba,
5
ne bagulirira abawa kabaka amagezi babaziyize, era ne babaziyiza okuzimba mu mirembe gyonna egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusa Daliyo lwe yafuuka kabaka w'e Buperusi.
6
Ne ku mirembe gya Akaswero nga kyajje afuge obwakabaka, ne bawandiika okuloopa abaali mu Yuda ne Yerusaalemi.
7
Ku mirembe gya Alutagizerugizi; Bisulamu, Misuledasi, Tabeeri ne bannaabwe abalala ne bawandiikira Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi. Ebbaluwa yawandiikibwa mu nnukuta ez'e Kisuuli, ne mu lulimi Olusuuli.
8
Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiika ebbaluwa eri Alutagizerugizi kabaka okuloopa Yerusaalemi bwe bati,
9
awo Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abalamuzi, abafuzi, n'abakungu; n'Abadinayi, n'Abafalasasuki, n'Abataluperi, n'Abafalusi, n'Abalukevi, n'Abababulooni, n'Abasusanuki, n'Abadekayi, n'Abaweramu,
10
n'amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yawaŋŋangusa n'abasenza mu bibuga by'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga.
11
Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka, “Ya kabaka Alutagizerugizi; Abaddu bo abasajja abali emitala w'omugga bakulamusizza.
12
Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli batuuse gyetuli era bagenze e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi.
13
Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale ekyo kijja kukendeeza enfuna ya kabaka.
14
Kale kubanga tulya omunnyo ogw'omu lubiri, era tetuyinza kulaba kabaka ng'anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tukutegeeza;
15
banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo, ojja kuzuula mu biwandiiko era otegeere ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era ng'okuva edda n'edda kitawaanya nnyo bakabaka n'abafuzi n'abamasaza era nga baajeemyanga abantu; ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa.
16
Tutegeeza kabaka, nti ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, oliba tokyasobola kufuga kitundu kino ekiri emitala w'omugga.”
17
Awo kabaka n'abaddamu nti, “Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, mbalamusizza.
18
Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera.
19
Ne nteeka etteeka, ne banoonya, era balabye ng'ekibuga ekyo okuva mu biro eby'edda kyasaliranga bakabaka enkwe, n'obujeemu n'ekyejo byakolerwanga omwo.
20
Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga, era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza.
21
Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo okuzimba ekibuga ekyo okutuusa lwe nditeeka etteeka eddala.
22
Era mwekuume muleme okutenguwa, kino mukikole mangu, akabi kandikulidde ki okufiiriza kabaka?”
23
Awo ebbaluwa eyaddibwamu eyava ewa kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali okuzimba.
24
Awo omulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo okutuusa omwaka ogwokubiri ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka w'e Buperusi.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10