bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 5
Ezra 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
1
Awo bannabbi, Kaggayi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo, ne boogera ebya Katonda eri Abayudaaya abaali mu Yuda ne Yerusaalemi; mu linnya lya Katonda wa Isiraeri mwe baayogerera.
2
Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne basituka ne batandika okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi; era wamu nabo waaliwo ne bannabbi ba Katonda abalala nga babayambako.
3
Mu biro ebyo ne wajja gye bali Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne babagamba nti, “Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?”
4
Era ne bababuuza nti, “Abasajja abakola ennyumba eno amannya gaabwe be b'ani?”
5
Naye amaaso ga Katonda waabwe gaali ku bakadde b'Abayudaaya, ne batabalekesaayo mulimu okutuusa nga ekigambo kituuse eri Daliyo, era nga naye abazeemu mu bbaluwa olw'ekigambo ekyo.
6
Eno ye bbaluwa Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne banne, Abafalusaki, abaali emitala w'omugga, gye baaweereza Daliyo kabaka;
7
ebbaluwa yawandiikibwa nti, “Eri kabaka Daliyo emirembe gibeere naawe.
8
Ayi Kabaka tukutegeeza nti twagenda mu ssaza lya Yuda mu nnyumba ya Katonda omukulu ne tusanga nga ezimbibwa n'amayinja amanene, era emiti ngagiteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gukolebwa nga gweyongera n'okunyikira mu mikono gyabwe.
9
Awo ne tubuuza abakadde abo nti, ‘Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?’
10
Era ne tubabuuza n'amannya gaabwe, tulyoke tukutegeeze amannya g'abasajja ababakulira.
11
Kale ne baddamu nti, ‘Tuli baddu ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba ennyumba eyazimbibwa edda era n'emalirizibwa kabaka wa Isiraeri omukulu emyaka mingi egiyise.’
12
Naye oluvannyuma bajjajjaffe bwe baali basunguwazizza Katonda w'eggulu, n'abagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni Omukaludaaya, eyazikiriza ennyumba eno n'atwala abantu e Babbulooni.
13
Naye mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Babbulooni, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka okuzimba ennyumba eno eya Katonda.
14
Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadduneeza bye yaggya mu Yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n'abitwala mu ssabo ery'e Babbulooni, ebyo Kuulo kabaka n'abiggya mu ssabo ery'e Babbulooni, n'abikwasa omuntu erinnya lye Sesubazzali gwe yali afudde owessaza;”
15
n'amugamba nti, “Twala ebintu bino, ogende obiteeke mu Yeekaalu eri mu Yerusaalemi, ennyumba ya Katonda ezimbibwa mu kifo mwe yali.”
16
“Awo Sesubazzali oyo n'ajja n'assaawo emisingi gy'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi; kale okuva ku biro ebyo n'okutuusa kaakati ekyazimbibwa era tenaggwa.
17
Kale nno oba nga kabaka asiima banoonye mu ggwanika ly'ebiwandiiko bya kabaka eriri eyo e Babbulooni, balabe oba nga Kuulo kabaka teyateeka teeka ery'okuddamu okuzimba ennyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, era tusaba kabaka atutumire atutegeeze bw'anaasiima mu kigambo kino.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10