bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 2
Ezra 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
1
Era bano be bantu ab'omu ssaza, abaayambuka okuva mu busibe bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni be yatwala e Babbulooni, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe.
2
Bajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Seraya, Leeraya, Moluddekaayi, Birusani, Misupaali, Biguvayi, Lekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja b'abantu ba Isiraeri:
3
abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri (2,172).
4
Abaana ba Sefatiya, bisatu mu nsanvu mu babiri (372).
5
Abaana ba Ala, lusanvu mu nsanvu mu bataano (775).
6
Abaana ba Pakasumowaabu, ab'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812).
7
Abaana ba Eramu, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254).
8
Abaana ba Zattu, lwenda mu ana mu bataano (945).
9
Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga (760).
10
Abaana ba Bani, lukaaga mu ana mu babiri (642).
11
Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu (623).
12
Abaana ba Azugaadi, lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222).
13
Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666).
14
Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga (2,056).
15
Abaana ba Adini, bina mu ataano mu bana (454).
16
Abaana ba Ateri era ayitibwa Keezeekiya, kyenda mu munaana (98).
17
Abaana ba Bezayi, bisatu mu abiri mu basatu (323).
18
Abaana ba Yola, kikumi mu kkumi na babiri (112).
19
Abaana ba Kasumu, bibiri mu abiri mu basatu (223).
20
Abaana ba Gibbali, kyenda mu bataano (95).
21
Abaana ba Besirekemu, kikumi mu abiri mu basatu (123).
22
Abasajja b'e Netofa, ataano mu mukaaga (56).
23
Abasajja b'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana (128).
24
Abaana ba Azumavesi, ana mu babiri (42).
25
Abaana ba Kiriaswalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu (743).
26
Abaana ba Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu (621).
27
Abasajja b'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri (122).
28
Abasajja b'e Beseri ne Ayi, bibiri mu abiri mu basatu (223).
29
Abaana ba Nebo, ataano mu babiri (52).
30
Abaana ba Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga (156).
31
Abaana ba Eramu omulala, lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254).
32
Abaana ba Kalimu, bisatu mu abiri (320).
33
Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano (725).
34
Abaana b'e Yeriko, bisatu mu ana mu bataano (345).
35
Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu (3,630).
36
Luno lwe lukalala lwa bakabona abaava mu buwanganguse: abaana ba Yedaya, ab'omu nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu (973).
37
Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri (1,052).
38
Abaana ba Pasukuli, lukumi mu bibiri mu ana mu musanvu (1,247).
39
Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi na musanvu (1,017).
40
Abaleevi abaava mu buwanganguse be bano: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, nga basibuka mu Kodaviya, nsanvu mu bana (74).
41
Abayimbi abaana ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana (128).
42
Abaana b'abaggazi be bano: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumooni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda (139).
43
Abaana b'abaweereza b'omu Yeekaalu be bano: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi:
44
abaana ba Kerosi, abaana ba Siyaka, abaana ba Padoni,
45
abaana ba Lebana, abaana ba Kagaba, abaana ba Akkubu;
46
abaana ba Kagabu, abaana ba Samulaayi, abaana ba Kanani;
47
abaana ba Gidderi, abaana ba Gakali, abaana ba Leyaya;
48
abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, abaana ba Gazzamu;
49
abaana ba Uzza, abaana ba Paseya, abaana ba Besayi;
50
abaana ba Asuna, abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefisimu;
51
abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli;
52
abaana ba Bazulusi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa;
53
abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema;
54
abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.
55
Abaana b'abaddu ba Sulemaani be bano: abaana ba Sotayi, abaana ba Kassoferesi, abaana ba Peruda;
56
abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi;
57
abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Ami.
58
Abaana b'abaweereza b'omu Yeekaalu n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali bisatu mu kyenda mu babiri (392).
59
Era bano be baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Immeri, naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe oba obuzaale bwabwe oba okulaga nti Baisiraeri:
60
abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya n'abaana ba Nekoda, bonna awamu baali lukaaga mu ataano mu babiri (652).
61
Ne ku baana ba bakabona; abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi n'abaana ba Baluzirayi. Baluzirayi oyo yawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'erinnya lyabwe bwe lyali.
62
Abo ne baanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne batalabika, kyebaava bababoola ne babagoba mu bwakabona.
63
Omukulu waabwe n'abagamba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa lwe walibaawo kabona ayinza okwebuuza ng'akozesa Ulimu ne Sumimu.
64
Ekibiina kyonna okugatta kyali, emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaaga (42,360),
65
nga tobaliddeeko baddu baabwe n'abazaana baabwe abaali akasanvu mu bisatu mu asatu mu musanvu (7,337), era baalina abayimbi abasajja n'abakazi bibiri (200).
66
Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), ennyumbu zaabwe zaali bibiri mu ana mu ttaano (245),
67
eŋŋamira zaabwe zaali bina mu asatu mu ttaano (435), n'endogoyi zaabwe zaali kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).
68
Awo abamu ku bakulu be nnyumba za bakitaabwe bwe bajja mu nnyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi ne bawaayo ku bwabwe olw'okuyamba okuddamu okuzimba ennyumba ya Katonda mu kifo kyayo;
69
ne bawaayo nga bwe baasobola, ebinaakola omulimu ogwo. Byonna ebyaweebwayo mu ggwanika byali: Daliki emitwalo mukaaga mu lukumi (61,000) eza zaabu, ne laateri eza ffeeza enkumi ttaano (5,000), n'ebyambalo bya bakabona kikumi (100).
70
Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abayimbi n'abaggazi n'abaweerezanga mu Yeekaalu ne babeeranga mu bibuga byabwe n'aba Isiraeri abalala bonna ne babeeranga mu bibuga ebyabwe.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10