bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 7
Ezra 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
1
Awo oluvannyuma lw'ebyo ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, Seraya mutabani wa Azaliya, Azaliya mutabani wa Kirukiya,
2
Kirukiya mutabani wa Sallumu, Sallumu mutabani wa Zadoki, Zadoki mutabani wa Akitubu,
3
Akitubu mutabani wa Amaliya, Amaliya mutabani wa Azaliya, Azaliya mutabani wa Merayoosi,
4
Merayoosi mutabani wa Zerakiya, Zerakiya mutabani wa Uzzi, Uzzi mutabani wa Bukki,
5
Bbukki mutabani wa Abisuwa, Abisuwa mutabani wa Finekaasi, Finekaasi mutabani wa Ereyazaali, Ereyazaali mutabani wa Alooni kabona asinga obukulu.
6
Ezera oyo n'ava e Babbulooni n'agenda e Yerusaalemi; era yali muwandiisi nga amanyi nnyo eby'omu mateeka, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa Musa. Kabaka nawa Ezera byonna bye yasaba, kubanga Mukama Katonda yali wamu naye.
7
Awo abamu ku baana ba Isiraeri ne bambuka, ne ku bakabona n'Abaleevi n'abayimbi n'abaggazi n'abaweereza b'omu Yeekaalu, ne bajja e Yerusaalemi mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Kabaka Alutagizerugizi.
8
Ezera najja e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okutaano ogw'omu mwaka ogw'omusanvu ogwa kabaka Alutagizerugizi.
9
Yava e Babbulooni ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogwolubereberye Katonda n'amuyamba n'atuuka e Yerusaalemi, ku lunaku olwolubereberye olw'omwezi ogw'okutaano.
10
Kubanga Ezera yali atadde omutima gwe kukuyiga okusoma amateeka ga Mukama n'okugakolanga n'okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n'emisango.
11
Eno ye bbaluwa eyaggibwa mu bbaluwa Kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omukugu mu bigambo by'amateeka n'ebiragiro, Mukama bye yawa,
12
“Nze Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka nkuwandiikidde ggwe Ezera kabona, omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu.
13
Nteeka etteeka nti bonna ab'oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe okugenda e Yerusaalemi bayinza, okugenda naawe.
14
Kubanga otumiddwa kabaka n'abateesa naye omusanvu (7) okubuuza ebikwata ku Yuda ne Yerusaalemi, ng'amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo.
15
Era n'okutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, mu kifo kye ky'abeeramu ekiri mu Yerusaalemi,
16
ne ffeeza yonna ne zaabu gy'olisanga mu ssaza lyonna ery'e Babbulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, kye bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi.
17
Ensimbi ezo, ojja kuzikozesa n'obwegendereza okugula ebintu bino: ente, endiga ennume, endiga ento, n'ebiweebwayo byako eby'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi.
18
Era kyonna kyonna kye mulisiima okukozesa effeeza ne zaabu ekifikkawo, ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw'ayagala.
19
N'ebintu by'oweebwa olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda wo, obiwangayo mu maaso ga Katonda w'e Yerusaalemi.
20
Era byonna ennyumba ya Katonda wo by'eryetaaga okusukkirizaawo, ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng'obiggya mu nnyumba y'eggwanika lya kabaka.
21
Nange nze kabaka Alutagizerugizi, nteeka etteeka eri abawanika bonna abali emitala w'omugga nti, Ezera kabona omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu buli ky'alibasalira, kikolebwenga n'obwegendereza bwonna.
22
Bamuwe okutuusa talanta eza ffeeza kikumi (100), n'ebigero by'eŋŋaano kikumi (100), n'ebita by'omwenge kikumi (100), n'ebita by'amafuta kikumi (100). Era bamuwe n'omunnyo gwonna gwe yeetaaga.
23
Buli ekinaalagirwanga Katonda w'eggulu kikolerwenga ddala olw'ennyumba ya Katonda w'eggulu; kubanga obusungu bwandibeereddewo ki eri obwakabaka bwa kabaka ne batabani be?
24
Era tubategeeza nti temuggyanga misolo wadde empooza ku bakabona n'Abaleevi, abayimbi, abaggazi, abakuumi, oba abaddu abalala bonna ab'ennyumba ya Katonda.
25
Naawe, Ezera, ng'amagezi ga Katonda wo bwe gali agali mu mukono gwo, londa abaami n'abalamuzi balamulenga abantu bonna abali emitala w'omugga, bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo; n'oyo atagamanyi mumuyigirizenga.
26
Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo, n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n'okunyikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa.”
27
Mukama yeebazibwe Katonda wa bajjajjaffe, eyateeka ekigambo ekyenkanidde awo mu mutima gwa kabaka, okuyonja ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi;
28
era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka n'abamuwa amagezi, era n'abakungu be ab'amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw'omukono gwa Mukama Katonda wange, ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okugenda nange.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10