bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Ezra 6
Ezra 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
1
Awo Daliyo kabaka n'alyoka ateeka etteeka, n'alagira ne banoonya mu nnyumba eterekerwamu ebiwandiiko ebitongole e Babbulooni.
2
Ne basanga mu lubiri oluli mu kibuga e Yakumesa mu ssaza ery'Obumeedi omuzingo, ogwawandiikibwamu bwe gutyo okuba ekijjukizo,
3
nti, “Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Kuulo kabaka, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka; olw'ennyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi, ennyumba ezimbibwe, ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, n'emisingi gyayo gissibwewo ginywezebwe; obugulumivu bwayo emikono nkaaga (60), n'obugazi bwayo emikono nkaaga (60),
4
n'embu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu olw'emiti emiggya; era eggwanika ly'obwakabaka lye linasasulira omulimu gwonna.
5
Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu Yeekaalu eri e Yerusaalemi, n'abireeta e Babbulooni, bizzibweyo bireetebwe nate mu Yeekaalu eri e Yerusaalemi, kinnakimu mu kifo kyakyo, era olibiteeka mu nnyumba ya Katonda.”
6
“Kale nno, Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannammwe Abafalusaki abali emitala w'omugga, omulimu gw'okuzimba muguveeko;
7
muleke omulimu ogw'omu nnyumba eno eya Katonda; muleke owessaza ow'omu Bayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe ennyumba eno eya Katonda mu kifo kyayo.
8
Era nate nteeka etteeka kye muba mukolera abakadde bano ab'Abayudaaya olw'okuzimba ennyumba ya Katonda eno; baggye ku bintu bya kabaka, ku musolo ogw'emitala w'omugga, abasajja abo basasulwenga mangu ate mu bujjuvu.
9
N'ebyo bye baneetaaganga, ente ento era n'endiga ennume n'abaana b'endiga okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w'eggulu, eŋŋaano, omunnyo, omwenge, n'amafuta, ng'ekigambo bwe kinaabanga ekya bakabona abali e Yerusaalemi, bibaweebwenga buli lunaku obutayosa,
10
balyoke bawengayo ssaddaaka ez'evvumbe eddungi eri Katonda w'eggulu, era basabire obulamu bwa kabaka n'obwa batabani be.
11
Era nteese etteeka buli anaawaanyisanga ekigambo kino, omuti guggibwenga mu nnyumba ye, era asitulibwenga asibibwenga okwo; n'ennyumba ye efuulibwenga olubungo olw'ekyo.
12
Era Katonda eyateekawo erinnya lye okubeeranga eyo, aggyengako bakabaka bonna n'amawanga abanaagololanga emikono gyabwe okuwaanyisa ekyo, ne bazikiriza ennyumba ya Katonda eno eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteese etteeka; likolebwe n'obwegendereza bwonna.”
13
Awo Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannaabwe, ne bakolera ddala n'obwegendereza bwonna nga kabaka Daliyo bwe yalagira.
14
Awo abakadde b'Abayudaaya ne bazimba ne balaba omukisa olw'ebigambo bya Katonda ebya yogerwa Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo. Ne bazimba ne bagimala ng'ekiragiro bwe kyali ekya Katonda wa Isiraeri, era n'ekiragiro kya Kuulo ne Daliyo ne Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi.
15
Awo ennyumba eno n'emalirwa ku lunaku olwokusatu olw'omwezi Adali, ogw'omu mwaka ogw'omukaaga ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka.
16
Awo abaana ba Isiraeri, bakabona n'Abaleevi, n'abaana b'obusibe abalala, ne bakwata n'essanyu embaga ey'okutukuza ennyumba eno eya Katonda.
17
Ne baweerayo mu kutukuza ennyumba eno eya Katonda ente kikumi (100), endiga ennume bibiri (200), abaana n'endiga ento bina (400). Ne bawaayo ekiweebwayo olw'ekibi ekya Isiraeri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri (12) ng'omuwendo bwe gwali ogw'ebika bya Isiraeri.
18
Ne bassaawo bakabona nga bwe baagerekebwa, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, baweerezenga Katonda mu Yeekaalu e Yerusaalemi; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
19
Awo abaana b'obusibe ne bakwatira Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogwolubereberye.
20
Kubanga bakabona n'Abaleevi baali beerongoosezza wamu; bonna baali balongoofu. Abaleevi ne batta omwana gw'endiga olw'Okuyitako ku lw'abaana bonna ab'obusibe ne baganda baabwe bakabona nabo bennyini.
21
Awo abaana ba Isiraeri abaali bakomyewo okuva mu busibe n'abo bonna abaali beeyawudde gyebali okuva mu bugwagwa bwa bannamawanga ab'omu nsi okunoonya Mukama, Katonda wa Isiraeri,
22
ne balya ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa n'essanyu okumala ennaku musanvu (7), kubanga Mukama yali abasanyusizza, era yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Bwasuli gyebali, n'abayamba ku mulimu gw'okuzimba ennyumba ya Katonda, Katonda wa Isiraeri.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10