bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 1
Zechariah 1
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
1
Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogwokubiri nga Dariyo ye kabaka wa Perusiya, Mukama n'awa omulanzi Zekariya, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Yiddo, obubaka, ategeeze abantu nti:
2
“Nze, Mukama, nasunguwalira nnyo bajjajjammwe.
3
Naye kaakano mbagamba nti: Mudde gye ndi, nze Mukama Nnannyinimagye, nange nja kudda gye muli.
4
Muleme okuba nga bajjajjammwe. Abalanzi ab'edda baabatuusangako obubaka bwange, nga babagamba nti: Mukama Nnannyinimagye abagamba nti muve mu mpisa zammwe embi, era mulekere awo okukola ebikolwa ebibi. Naye bo ne batawuliriza bye mbagamba, wadde okukola bye mbalagira.
5
Bajjajjammwe bali ludda wa? N'abalanzi baba balamu emirembe gyonna?
6
Naye okulabula n'okukuutira bye nayisa mu baweereza bange abalanzi, tebyatuukirira ku bajjajjammwe? Olwo ne beenenya ne bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye atubonerezza nga bwe tusaanidde, era nga bwe yamalirira okutubonereza.’ ”
7
Ku lunaku olw'amakumi abiri mu ennya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi ogwa Sebati, mu mwaka ogwokubiri nga Dariyo ye kabaka, Mukama n'awa omulanzi Zekariya, mutabani wa Berekiya, era muzzukulu wa Yiddo, obubaka. Zekariya n'agamba nti:
8
“Ekiro nalaba malayika wa Mukama nga yeebagadde embalaasi emmyufu, era ng'ayimiridde wakati mu miti emikadasi, egyali mu kiwonvu. Emabega we waaliwo embalaasi endala emmyufu, n'eza kikuusikuusi, era n'enjeru.
9
Awo ne mmubuuza nti: ‘Mukama wange, embalaasi ezo, kiki kye zitegeeza?’ Malayika oyo n'aŋŋamba nti: ‘Nja kukulaga kye zitegeeza.’
10
Ezo Mukama ye azisindise okulambula ensi.”
11
Ne zigamba malayika oyo eyali ayimiridde wakati mu miti emikadasi nti: “Tulambudde ensi yonna, ne tusanga ng'etebenkedde mirembe.”
12
Awo malayika wa Mukama n'agamba nti: “Ayi Mukama Nnannyinimagye, osunguwalidde Yerusaalemu n'ebibuga bya Buyudaaya okumala emyaka nsanvu. Olimala bbanga ki nga tonnabikwatirwa kisa?”
13
Mukama n'addamu malayika ebigambo ebirungi era ebigumya.
14
Malayika oyo n'aŋŋamba nnangirire ebyo Mukama Nnannyinimagye bye yayogera nti “Nnumirwa nnyo Yerusaalemu ne Siyooni,
15
era nsuguwalidde nnyo amawanga agatebenkedde, kubanga nanyiigako katono, ne bongera okulumya abantu bange.
16
Kyenvudde nkomawo mu Yerusaalemu, okukikwatirwa ekisa. Essinzizo lyange lijja kuzimbibwa buggya mu kyo, era nakyo kizimbibwe buggya.”
17
Malayika era n'aŋŋamba okulangirira nti: “Mukama Nnannyinimagye agamba nti ebibuga bye, biriddamu okuba obulungi, era nti aliddamu okuyamba Yerusaalemu, n'okukibala ng'ekibuga kye, kye yeeroboza.”
18
Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba amayembe ana.
19
Malayika eyali ayogera nange, ne mmubuuza nti: “Amayembe ago, gategeeza ki?” N'anziramu nti: “Gategeeza obuyinza obwasaasaanya abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli, n'ab'omu Yerusaalemu.”
20
Awo Mukama n'andaga abaweesi bana.
21
Ne mbuuza nti: “Abo bazze kukola ki?” N'addamu nti: “Bazze okutiisa amawanga agaalinnyirira Buyudaaya, ne gasaasaanya abantu baamu, era bazze okusaanyaawo obuyinza bwago.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14