bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 8
Zechariah 8
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
1
Awo Mukama Nnannyinimagye n'agamba nti:
2
“Nnumirwa nnyo ekibuga Yerusaalemu, era olw'okukyagala ennyo, kyenva nsunguwalira abalabe baakyo.
3
Nja kukomawo mu Yerusaalemu ekibuga kyange ekitukuvu, nkibeerengamu. Kinaayitibwanga Kibuga Kyesigwa, era Lusozi lwa Mukama Nnannyinimagye, Olusozi Olutukuvu.
4
Abakadde abasajja n'abakazi abatambula nga bakutte emiggo mu ngalo olw'okuba nga bakaddiye nnyo, baliddamu okutuula mu mpya za Yerusaalemu.
5
Era enguudo zaakyo ziriddamu okujjula abaana abalenzi n'abawala abazannyiramu.
6
“Ekyo abantu b'eggwanga lino abasigaddewo bayinza okukiraba ng'ekitasoboka, naye nze nkisobola.
7
Ndinunula abantu bange, ne mbaggya mu nsi ez'ebuvanjuba n'ez'ebugwanjuba gye baatwalibwa,
8
ne mbakomyawo mu Yerusaalemu. Baliba bantu bange, nze ne mba Katonda waabwe, nga mbafuga n'obwesigwa n'amazima.
9
“Mube ba maanyi mmwe, abawulira kaakano ebigambo bino, abalanzi bye baayogera kasookedde musingi gutandikibwawo, okuzimba obuggya Essinzizo lyange.
10
Ekiseera ekyo nga tekinnabaawo, tewaali kupangisa bantu wadde ensolo, era tewaali afuluma, wadde ayingira nga teyeeraliikirira mulabe, kubanga nakyawaganya abantu.
11
Naye kaakano abantu b'eggwanga lino abasigaddewo sikyabayisa nga bwe nabayisanga edda.
12
Banaasiganga ensigo nga bali mirembe. Emizabbibu ginaabalanga ebibala byagyo, ettaka linaabazanga ebirime, n'enkuba eneetonnyanga. Ndiwa abantu b'eggwanga lino abasigaddewo ebirungi ebyo byonna.
13
Mmwe ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli, ab'amawanga amalala baakozesanga erinnya lyammwe nga bakolima. Naye kaakano nja kubanunula mmwe, abantu abo bakozesenga erinnya lyammwe nga bawa omukisa. Kale temutya, naye mube ba maanyi.”
14
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Bajjajjammwe bwe bansunguwaza, namalirira okubabonereza, era sakyusa kirowoozo kyange, wabula nakituukiriza.
15
Naye kaakano mmaliridde okuwa abantu b'omu Yerusaalemu n'ab'omu Buyudaaya omukisa. N'olwekyo temutya.
16
Bino bye muteekwa okukolanga: buli omu abuulirenga munne amazima. Mu mbuga z'amateeka, musalenga emisango mu bwenkanya mu ngeri ereeta emirembe.
17
Mulemenga kulowooza mu mitima gyammwe kukola kabi ku bannammwe. Mulemenga kulayira bya bulimba, kubanga nkyawa obulimba n'obutali bwenkanya, n'obukambwe.”
18
Mukama Nnannyinimagye n'ampa obubaka buno nti:
19
“Okusiiba okw'omu mwezi ogwokuna n'ogwokutaano, n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'ogw'ekkumi, kulifuuka ennaku enkulu ez'okusanyuka n'okujaguza mu bantu b'omu Buyudaaya. Kale mwagalenga amazima era n'emirembe.”
20
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ekiseera kirituuka, abantu ababeera mu bibuga ebingi ne bajja e Yerusaalemu.
21
Ab'omu kibuga ekimu baligamba ab'omu kibuga ekirala nti: ‘Mujje tugende tusinze Mukama Nnannyinimagye, era tumusabe omukisa. Nange nja kugenda.’
22
Amawanga ag'amaanyi n'abantu bangi balijja e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye, n'okumusaba omukisa.
23
Mu nnaku ezo, abantu kkumi ab'amawanga amalala, n'ab'eddiini endala, balyekwata ku Muyudaaya, ne bagamba nti: ‘Twagala tugende naawe, kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.’ ”
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14