bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 14
Zechariah 14
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
1
Olunaku Mukama lw'alisalirako omusango lujja. Olwo ebintu by'omu Yerusaalemu birinyagibwa, ne bigabanibwa nga mulaba.
2
Mukama alikuŋŋaanya wamu amawanga okulwanyisa Yerusaalemu. Ekibuga kiriwangulwa, ennyumba ne zinyagibwamu ebintu, n'abakazi ne bakwatibwa lwa mpaka. Abantu kimu kyakubiri balitwalibwa mu busibe, naye abalisigalawo tebaliggyibwa mu kibuga.
3
Awo Mukama aligenda n'alwanyisa amawanga ago, nga bwe yalwana mu ntalo ez'edda.
4
Mu kiseera ekyo, aliyimirira ku lusozi oluyitibwa Olusozi olw'Emizayiti mu buvanjuba bwa Yerusaalemu. Olusozi olwo lulibejjukamu wabiri, okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba, ne lubaamu ekiwonvu ekigazi ennyo. Ekitundu ekimu eky'olusozi kiriseeseetuka, ne kigenda mu bukiikakkono, ate ekitundu ekirala ne kigenda mu bukiikaddyo.
5
Mulidduka nga muyita mu kiwonvu ekyo ekyawulamu olusozi. Mulidduka nga bajjajjammwe bwe badduka, ensi bwe yakankana mu mirembe gya Kabaka Wuzziya owa Buyudaaya. Mukama Katonda wange alijja ng'ali wamu n'abatukuvu bonna.
6
Olunaku olwo bwe lulituuka, tewaliba nate bunnyogovu wadde olufu.
7
Era tewaliba kizikiza. Bunaabanga misana bulijjo. Ne mu budde obw'ekiro, wanaabangawo ekitangaala ng'emisana. Mukama yekka ye amanyi ekyo we kiribeererawo.
8
Olunaku olwo bwe lulituuka, amazzi amalungi galikulukuta nga gava mu Yerusaalemu. Ekitundu kyago ekimu kirikulukutira mu nnyanja ey'ebuvanjuba, n'ekirala mu nnyanja ey'ebugwanjuba. Galikulukuta mu biseera eby'ekyeya n'eby'enkuba.
9
Olwo Mukama aliba Kabaka w'ensi zonna. Bonna gwe banaasinzanga era ye Mukama gwe banaamanyanga yekka.
10
Ekitundu kyonna okuva e Geba okutuuka e Rimmoni mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemu kirifuulibwa kya museetwe. Yerusaalemu kiritumbiira ng'omunaala mu nsi ekyetoolodde. Ekibuga kiritandikira ku Mulyango gwa Benyamiini okutuuka ku Mulyango ogw'omu Nsonda, awaali omulyango ogwasooka, era okuva ku Munaala gwa Hananeeli, okutuuka ku masogolero g'emizabbibu aga kabaka.
11
Abantu balibeera mirembe mu Yerusaalemu nga tebatiisibwatiisibwa kuzikirizibwa.
12
Amawanga agalumba Yerusaalemu, Mukama aligalwaza ekirwadde ekibi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyayimiridde. Amaaso gaabwe galivundira mu bituli byago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
13
Mu biseera ebyo, Mukama alibateekamu okutabuka era n'okutya okungi, buli omu n'akwata amuliraanye n'amulwanyisa.
14
N'ab'omu Buyudaaya balirwanyisa Yerusaalemu. Obugagga bw'amawanga gonna bulikuŋŋaanyizibwa: zaabu ne ffeeza, n'ebyokwambala, nga bingi nnyo nnyini.
15
Ekirwadde ekibi kirikwata n'embalaasi, n'ennyumbu, n'eŋŋamiya n'endogoyi era n'ensolo zonna mu lusiisira lw'abalabe.
16
Olwo bonna abalisigalawo ku b'amawanga agazze okulwanyisa Yerusaalemu, banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, n'okukuza Embaga ey'Ensiisira.
17
Eggwanga eririgaana okwambuka e Yerusaalemu okusinza Mukama Nnannyinimagye era Kabaka, enkuba teritonnya mu lyo.
18
Abamisiri bwe baligaana okukuza Embaga ey'Ensiisira, balikwatibwa ekirwadde kye kimu ekyo Mukama ky'alirwaza amawanga amalala agagaana okukuza Embaga ey'Ensiisira.
19
Ekyo kye kibonerezo ekiriweebwa Misiri n'amawanga amalala gonna agataayambukenga kukuza Mbaga ey'Ensiisira.
20
Mu nnaku ezo, wadde endege ezisibwa ku mbalaasi, ziriyolebwako nti: “Kyawuliddwa Mukama.” Entamu mu Ssinzizo ziriba ntukuvu ng'ebibya mu maaso g'alutaari.
21
Entamu zonna mu Yerusaalemu ne mu Buyudaaya bwonna ziryawulirwa Mukama Nnannyinimagye, abantu abawaayo ebitambiro ne batoolanga ku zo ne bafumbamu ennyama ey'ekitambiro. Ekiseera ekyo bwe kirituuka, tewaliba nate musuubuzi mu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14