bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 4
Zechariah 4
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
1
Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa, nga bwe bazuukusa omuntu ali mu tulo.
2
N'aŋŋamba nti: “Olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba ekikondo ky'ettaala ekya zaabu, n'ekibya ekiri waggulu ku kyo. Ku kikondo ekyo kuliko ettaala musanvu, nga buli ttaala eriko entambi musanvu.
3
Ku mabbali gaakyo, waliwo emiti emizayiti ebiri, gumu ku buli ludda.”
4
Olwo ne mbuuza malayika nti: “Mukama wange, ebyo bitegeeza ki?”
5
Malayika oyo n'ambuuza nti: “Tomanyi ebyo kye bitegeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.”
6
Awo n'aŋŋamba okutwalira Zerubabbeeli obubaka buno obuva eri Mukama Nnannyinimagye, obugamba nti nti: “Oliwangula, si lwa kuba ng'oli wa maanyi mu kulwana, wadde ow'obuyinza, naye lwa mwoyo gwange.
7
Ebizibu ebigulumivu ng'olusozi, birivaawo mu maaso go. Olizimba Essinzizo obuggya, era bw'oliba ozimbako ejjinja erimaliriza, abantu balireekaana nti: ‘Nga ddungi, nga ddungi!’ ”
8
Era ne nfuna obubaka obulala obuva eri Mukama nga bugamba nti:
9
“Zerubabbeeli ataddewo omusingi gw'Essinzizo, era alirizimba n'alimaliriza. Olwo abantu bange balitegeera nga Nze Mukama Nnannyinimagye, Nze nakutuma gye bali,
10
kubanga ababadde baterebuse olw'okulaba ng'ekikolebwa kitono, balisanyuka bwe baliraba nga Zerubabbeeli azimba Essinzizo.” Malayika oyo era n'aŋŋamba nti: “Ettaala omusanvu ge maaso ga Mukama, agalaba wonna ku nsi.”
11
Awo ne mmubuuza nti: “Emiti emizayiti gino ebiri egiri ku buli ludda lw'ekikondo ky'ettaala, gitegeeza ki?
12
Era amatabi gano abiri ag'emizayiti agali ku mabbali g'enseke ebbiri eza zaabu, omuyita omuzigo ogw'emizayiti, gategeeza ki?”
13
N'ambuuza nti: “Tomanyi kye gategeeza?” Ne nziramu nti: “Nedda, mukama wange.”
14
Awo n'agamba nti: “Amatabi ago be bantu ababiri, Mukama w'ensi zonna be yalonda, n'abafukako omuzigo, okumuweerezanga.”
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14