bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 9
Zechariah 9
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
1
Buno bwe bubaka bwa Mukama; amaliridde okubonereza ensi y'e Haduraki n'ekibuga ky'e Damasiko, kubanga ekibuga kya Siriya ekikulu, kya Mukama, ng'ebika bya Yisirayeli bwe biri ebibye. Mat 11:21-22; Luk 10:13-14
2
Hamati ekiriraanye Haduraki nakyo kya Mukama, nga Tiiro ne Sidoni bwe biri ebibye, awamu n'amagezi gaabyo gonna.
3
Tiiro kyezimbidde ekigo ekigumu, ne kyekuŋŋaanyiza ffeeza omungi ng'enfuufu, ne zaabu omungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
4
Naye Mukama alikiggyako ebyakyo byonna. Alisuula obugagga bwakyo mu nnyanja, era ekibuga kiryokebwa omuliro.
5
Ekibuga ky'e Asukelooni kiriraba ebyo, ne kitya. Ne Gaaza kirirumwa nnyo. Era ne Asukelooni nakyo kirirumwa, kubanga byonna bye kyali kisuubira, biriba bifudde. Gaaza kirifiirwa kabaka waakyo, ne Asukelooni tekiribaamu bantu. Amo 1:6-8; Zef 2:4-7
6
Abantu ab'omusaayi omutabule balibeera mu Asudoodi. Mukama agamba nti: “Nditoowaza Abafilistiya abo bonna abeekulumbaza.
7
Ndibaziyiza okulya ennyama erimu omusaayi, n'ebyokulya ebirala eby'omuzizo. Abalisigalawo bonna, balifuuka kitundu kya bantu bange, babe ng'ab'omu Kika kya Yuda. Ab'omu Ekurooni balifuuka kitundu kya bantu bange, ng'Abayebusi bwe baafuuka.
8
Ndikuuma ensi yange, ne nziyiza amagye okugiyitamu. Sirireka bantu bakambwe kwongera kunyigirizanga bantu bange, kubanga kaakano ndabye engeri abantu bange gye babonaabonamu.”
9
Musanyuke, musanyuke mmwe abantu b'omu Siyooni! Muleekaane olw'essanyu mmwe ab'omu Yerusaalemu! Mulabe, Kabaka wammwe ajja gye muli, ng'ajjira mu kitiibwa eky'omuwanguzi. Muteefu era yeebagadde endogoyi, yeebagadde omwana gw'endogoyi.
10
Mukama agamba nti: “Ndiggya amagaali g'entalo mu Yisirayeli, n'embalaasi mu Yerusaalemu, era ndiggyawo omutego gw'obusaale ogukozesebwa mu lutalo. Kabaka oyo aliwa amawanga emirembe. Alifuga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, okuva ku mugga Ewufuraate, okutuuka ensi gy'ekoma.”
11
Mukama agamba nti: “Olw'endagaano gye nakola nammwe eyakakasibwa n'omusaayi gw'ebitambiro, abantu bammwe abaasibibwa ndibaggya mu bunnya obutaliimu mazzi.
12
Mukomeewo mmwe abasibe, kaakano abalina essuubi, mudde mu kigo ekigumu. Olwaleero mbagamba nti: ebyo byonna bye mwafiirwa mu kubonaabona, ndibibaddizaawo emirundi ebiri.
13
Ndikozesa Buyudaaya ng'omutego gw'obusaale, ne Yisirayeli ng'obusaale. Ndikozesa ab'omu Siyooni ng'ekitala okulwanyisa ab'omu Buyonaani.”
14
Mukama alirabikira waggulu w'abantu be, alirasa obusaale ne buvaayo ng'okumyansa kw'eggulu. Mukama Katonda alifuuwa eŋŋombe. Alikumbira mu kibuyaga ow'omu bukiikakkono.
15
Mukama Nnannyinimagye alikuuma abantu be, ne bazikiriza abalabe baabwe. Nga bali mu lutalo, balireekaana ng'abatamiivu. Balitta abalabe baabwe, omusaayi ne gukulukuta ng'ogw'ebitambiro ogujjuza ekibya, ne gutobya ensonda z'alutaari.
16
Ku lunaku olwo Mukama Katonda alinunula abantu be ng'omusumba bw'awonya endiga ze akabi. Balimasamasa mu nsi ye ng'amayinja ag'omuwendo mu ngule.
17
Ensi eyo ng'eriba nnungi esikiriza! Abalenzi n'abawala tebalijula ŋŋaano na mwenge musu.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14