bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 12
Zechariah 12
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
1
Buno bwe bubaka obufa ku Yisirayeli, obuva eri Mukama, eyabamba eggulu, eyatonda ensi, era eyawa abantu obulamu. Agamba nti:
2
“Ndifuula Yerusaalemu ng'eggiraasi y'omwenge. Amawanga agakyetoolodde galiginywa, ne gatagatta ng'abatamiivu. Bwe galizingiza Yerusaalemu, ebibuga ebirala byonna eby'omu Buyudaaya nabyo biriba bizingiziddwa.
3
Naye ekiseera kirituuka, ne nfuula Yerusaalemu ng'ejjinja ezzito, buli ggwanga eririgezaako okulisitula, lirirumizibwa nnyo, era amawanga gonna ku nsi galyegatta okukirwanyisa.
4
Mu kiseera ekyo, nditiisa embalaasi zaabwe zonna, n'abazeebagala bonna ndibasuula eddalu. Ndirabirira abantu b'omu Buyudaaya, naye ndiziba amaaso g'embalaasi z'abalabe baabwe.
5
Olwo ebika ebiri mu Buyudaaya birigambagana nti: ‘Mukama Katonda Nnannyinimagye, awa abatuuze b'omu Buyudaaya amaanyi.’
6
“Mu kiseera ekyo, ebika ebiri mu Buyudaaya ndibifuula ng'omuliro ogukoleezeddwa ku kibira, oba ku binywa by'eŋŋaano. Ebika ebyo birisaanyaawo amawanga gonna agabyetoolodde. Abantu b'omu Yerusaalemu balikibeeramu mirembe.
7
“Nze Mukama, ndisooka kuwa ggye lya Buyudaaya obuwanguzi, ekitiibwa bazzukulu ba Dawudi n'abantu b'omu Yerusaalemu kye balifuna, kireme kusinga ekyo abalala ab'omu Buyudaaya kye balifuna.
8
Mu kiseera ekyo, nze Mukama ndikuuma abo abali mu Yerusaalemu. Aliba asingayo okuba omunafu mu bo, alifuuka wa maanyi nga Dawudi bwe yali. Bazzukulu ba Dawudi balibakulembera nga malayika wa Mukama, nga Katonda yennyini.
9
Mu kiseera ekyo ndizikiriza buli ggwanga eririgezaako okulumba Yerusaalemu.
10
“Bazzukulu ba Dawudi n'abantu abalala ab'omu Yerusaalemu ndibajjuza omwoyo omusaasizi n'ogw'okwegayirira. Balitunuulira oyo gwe baafumita, era balimukungubagira ng'abakungubagira omwana waabwe omu yekka. Balimukaabira nnyo, ng'abakaabira mutabani waabwe omuggulanda.
11
Mu kiseera ekyo okukungubaga kuliba kungi mu Yerusaalemu, ng'okukungubagira Adadurimmoni mu Lusenyi lw'e Megiddo.
12
Ensi eno erikungubaga, buli maka gakungubage lwago: ab'omu maka agasibuka mu Dawudi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; ab'omu maka agasibuka mu Natani lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe;
13
ab'omu maka agasibuka mu Leevi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe; ab'omu maka agasibuka mu Simeeyi lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe.
14
N'ab'omu maka amalala gonna balikungubaga lwabwe, ne bakazi baabwe lwabwe.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14