bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 11
Zechariah 11
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
1
Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo.
2
Mukube ebiwoobe mmwe emiberosi, kubanga emivule gigudde, emiti emirungi ennyo gizikiriziddwa! Mukube ebiwoobe mmwe emyera gy'e Basani! Kubanga ekibira ekiwanvu kitemeddwa.
3
Abafuzi bakuba ebiwoobe kubanga ekitiibwa kyabwe kizikiriziddwa! Empologoma zisindogoma, kubanga ebisaka mwe zisula eby'omu Yorudaani bizikiriziddwa.
4
Mukama Katonda wange yaŋŋamba nti: “Lunda endiga ez'okuttibwa.
5
Abazigula, bazitta ne batabonerezebwa. Batunda ennyama, ne bagamba nti: ‘Mukama atenderezebwe, kubanga tugaggawadde.’ Abasumba baazo nabo bennyini tebazisaasira.”
6
Mukama agamba nti: “Sirisaasira nate muntu n'omu ku nsi. Ndiwaayo abantu bonna mu buyinza bw'abafuzi baabwe. Abafuzi abo balibonyaabonya ensi, era siriginunula mu buyinza bwabwe.”
7
Abasuubuzi b'endiga banfuula omusumba, ne nnunda endiga ez'okuttibwa. Ne nkwata emiggo ebiri. Ogumu ne ngutuuma erinnya “Mukisa”. Omulala ne ngutuuma erinnya “Kwegatta”, ne nnunda endiga.
8
Ne neetamwa abasumba abalala basatu abankyawa, ne mbagoba mu mwezi gumu.
9
Awo ne ŋŋamba endiga nti: “Sikyabalunda. Ezo ezinaafa, zife. Ezinaazikirizibwa, zizikirizibwe. Ezo ezinaasigalawo ziryaŋŋane.”
10
Awo ne nkwata omuggo gwange oguyitibwa “Mukisa”, ne ngumenyamu, okumenyawo endagaano, Mukama gye yakola n'amawanga gonna.
11
Endagaano n'emenyebwawo ku lunaku olwo. Awo abasuubuzi b'endiga abaali bantunuulira, ne bategeera nga Mukama yali ayogerera mu ebyo bye nkoze.
12
Ne mbagamba nti: “Oba mwagala, mumpe empeera yange. Oba temwagala, mugisigaze.” Ne bansasula ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, nga ye mpeera yange.
13
Mukama n'aŋŋamba nti: “Bisuulire omubumbi.” Ne ntwala ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza, omuwendo gwe baalamula nti gwe gungyaamu, ne mbisuula mu ggwanika ly'Essinzizo.
14
Awo ne mmenyamu omuggo ogwokubiri oguyitibwa “Kwegatta”, okwegatta kwa Buyudaaya ne Yisirayeli ne kuggwaawo.
15
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Ddamu okukola omulimu gw'obusumba. Naye ku mulundi guno, okole ng'omusumba atagasa,
16
kubanga nteekawo omusumba anaalundanga endiga, naye taalabirirenga ezo ezigenda okutuukibwako akabi, wadde okunoonya ezo ezibuze. Era tajjanjabenga ezo ezirwadde, wadde okuliisa ezo ennamu, wabula anaalyangamu ezo ezassava, era alizinuulako ebinuulo.
17
Zimusanze omusumba atagasa, ayabulira endiga! Ekitala kifumite omukono gwe, n'eriiso lye erya ddyo! Omukono gwe gukale, n'eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14