bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 6
Zechariah 6
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
1
Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba amagaali ana, nga gava wakati w'ensozi bbiri ez'ekikomo.
2
Eggaali erisooka lyali lisikibwa embalaasi emmyufu, eryokubiri nga lisikibwa embalaasi enzirugavu,
3
eryokusatu nga lisikibwa embalaasi enjeru, n'eryokuna nga lisikibwa embalaasi ez'amabomboola.
4
Awo malayika eyali ayogera nange ne mmubuuza nti: “Mukama wange, amagaali ago gategeeza ki?”
5
N'anziramu nti: “Ezo ze mbuyaga ennya, ezaakava mu maaso ga Mukama w'ensi yonna.”
6
Eggaali erisikibwa embalaasi enzirugavu lyali liraga mu bukiikakkono, n'embalaasi enjeru nga zigoberera. Embalaasi ez'amabomboola zaali ziraga mu nsi ey'omu bukiikaddyo.
7
Embalaasi ezo ez'amabomboola zaavaayo nga zaagala nnyo okugenda okutalaaga ensi. Malayika n'agamba nti: “Mugende mutalaage ensi.”
8
Awo malayika n'aŋŋamba mu ddoboozi ery'omwanguka nti: “Embalaasi eziraze mu bukiikakkono zikkakkanyizza obusungu bwa Mukama.”
9
Awo Mukama n'ampa obubaka buno nti:
10
“Twala ebirabo ebireeteddwa Eludiya ne Tobiya ne Yedaaya, abakomyewo okuva e Babilooni, ogende ku lunaku olwo lwennyini oyingire mu nnyumba ya Yosiya, mutabani wa Zefaniya.
11
Otoole ku ffeeza ne zaabu gwe baleese, okolemu engule, ogitikkire ku mutwe gwa Ssaabakabona Yoswa, mutabani wa Yehozadaaki.
12
Omutegeeze nti Mukama Nnannyinimagye agamba nti: ‘Omuntu ayitibwa Ttabi alikulira mu kifo mw'ali, era alizimba Essinzizo lya Mukama.
13
Oyo ye alizimba Essinzizo eryo, n'aweebwa ekitiibwa ekya kabaka era ye alifuga abantu be. Walibaawo kabona ayimirira okumpi n'entebe ye ey'obwakabaka, ne bakolera wamu mu kuteesa okw'emirembe.’
14
Engule eyo eneebeeranga mu Ssinzizo lya Mukama, okujjuukirirangako Helemu ne Tobiya ne Yedaaya, ne Heeni mutabani wa Zefaniya.”
15
Awo abali ewala balijja ne bayamba okuzimba obuggya Essinzizo lya Mukama. Bwe lirimala okuzimbibwa obuggya, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma gye muli. Ebyo birituukirira, bwe mulinyiikira okuwulira ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14