bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 2
Zechariah 2
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
1
Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omuntu akutte omuguwa ogugera.
2
Ne mbuuza nti: “Ogenda wa?” N'anziramu nti: “Okugera Yerusaalemu, ndyoke ndabe bwe kyenkana obuwanvu n'obugazi.”
3
Awo malayika eyali ayogera nange, bwe yali ng'agenda, malayika omulala n'ajja okumusisinkana,
4
n'amugamba nti “Dduka ogambe omuvubuka oyo akutte omuguwa ogugera, nti Yerusaalemu kiribaamu abantu abatagya mu kigo, kubanga baliba bangi era n'amagana mangi.
5
Mukama agamba nti ye yennyini ye aliba ekigo eky'omuliro okwetooloola ekibuga, era nti anaakibeerangamu mu kitiibwa kye kyonna.”
6
Mukama n'agamba abantu be nti: “Musituke, musituke, muve mu nsi ey'omu bukiikakkono! Nabasaasaanyiza buli wantu, ng'empewo ennya ez'eggulu.
7
Musituke, mudduke muve mu batuuze b'e Babilooni, mudde mu Siyooni.
8
Buli akoona ku mmwe aba akoonye ku mmunye ya liiso lyange.” Mukama Nnannyinimagye, eyantuma olw'ekitiibwa kye, bino by'agamba amawanga agaanyaga abantu be. Agamba nti:
9
“Mukama yennyini ye alibalwanyisa mmwe, era abantu abaali abaddu bammwe, balibanyaga mmwe.” Ekyo bwe kirituukirira, mulimanya nga Mukama Nnannyinimagye ye yantuma.
10
Mukama agamba nti: “Muyimbe olw'essanyu mmwe abantu b'omu Yerusaalemu, kubanga nzija, mbeerenga wamu nammwe.”
11
Mu kiseera ekyo, ab'omu mawanga mangi balijja eri Mukama, ne bafuuka bantu be. Mukama Nnannyinimagye anaabeeranga wamu nammwe, era mmwe mulitegeera nga ye yantuma gye muli.
12
Buyudaaya eriba ya Mukama mu ngeri ey'enjawulo, mu nsi ye entukuvu, era Yerusaalemu kiriddamu okuba ekibuga kyayo kye yeeroboza.
13
Musirike mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14