bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 5
Zechariah 5
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
1
Era nate ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga.
2
Malayika n'ambuuza nti: “Kiki ky'olaba?” Ne nziramu nti: “Ndaba omuzingo gw'ekitabo ogubuuka mu bbanga, nga gwa mita mwenda obuwanvu, ne mita nnya n'ekitundu obugazi.”
3
Awo n'aŋŋamba nti: “Guwandiikiddwako ekikolimo ekijja okubuna ensi yonna. Ku ludda olumu, omuzingo guwandiikiddwako nti buli abba, aliggyibwa mu nsi. Ku ludda olulala guwandiikiddwako nti buli alimba ng'alayira, naye aliggyibwamu.
4
Mukama Nnannyinimagye agamba nti alisindika ekikolimo ekyo, ne kiyingira mu nnyumba ya buli muntu abba, ne mu ya buli muntu alimba ng'alayira, era kiribeera mu nnyumba zaabwe, ne kizisaanyizaawo ddala.”
5
Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti: “Kale yimusa amaaso go olabe ekyo ekijja.”
6
Ne mbuuza nti: “Kiki ekyo?” N'addamu nti: “Ekyo kisero, era kitegeeza ekibi ky'ensi yonna.”
7
Ekisero kyaliko ekisaanikira ekikoleddwa mu kyuma ekizito. Awo ekisaanikira ne kibikkulwa, mu kisero nga mulimu omukazi atudde.
8
Malayika n'agamba nti: “Omukazi ono kye kibi.” Awo n'amuzzaamu mu kisero, n'akibikkako ekisaanikira.
9
Bwe nayimusa amaaso gange ne ndaba abakazi babiri abajja nga baseeyeeya mu bbanga, nga balina ebiwaawaatiro, ne babuuka nakyo mu bbanga.
10
Malayika eyali ayogera nange, ne mmubuuza nti: “Ekisero bakitwala wa?”
11
N'anziramu nti: “Bakitwala mu nsi y'e Sinaari okukizimbirayo ennyumba. Bw'eriggwa okuzimba ne bakiteeka omwo.”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14