bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
/
Zechariah 7
Zechariah 7
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
1
Mu mwaka ogwokuna nga Dariyo ye kabaka, ku lunaku olwokuna olw'omwezi ogw'omwenda, oguyitibwa Kisuleevu, Mukama n'ampa obubaka nze Zekariya.
2
Abantu b'e Beteli baali batumye Sarezeeri ne Regemmeleki n'abantu baabwe okwegayirira Mukama abakwatirwe ekisa,
3
n'okubuuza bakabona era n'abalanzi ab'omu Ssinzizo lya Mukama Nnannyinimagye ekibuuzo kino nti: “Twongere okukungubagira okuzikirizibwa kw'Essinzizo, nga tusiiba mu mwezi ogwokutaano nga bwe twakolanga edda?”
4
Awo Mukama Nnannyinimagye n'ampa obubaka buno nti:
5
“Gamba abantu bonna abali mu nsi eno ne bakabona nti bwe mwasiibanga ne mukungubaga mu mwezi ogwokutaano ne mu gw'omusanvu mu myaka gino ensanvu, temwakikolanga lwa kussaamu nze kitiibwa.
6
Era bwe mwalyanga ne bwe mwanywanga, mwakikolanga lwa kwesanyusa mmwe mwennyini.”
7
Bino Mukama bye yayogerera mu balanzi ab'edda, mu kiseera Yerusaalemu mwe kyabeerera obulungi nga kijjudde abantu, era abantu mwe baabeerera abangi mu byalo ebikiriraanye, ne mu kitundu eky'omu bukiikaddyo, ne mu nsenyi ez'omu bugwanjuba bwakyo.
8
Awo Mukama n'awa Zekariya obubaka buno nti:
9
“Nze Mukama Nnannyinimagye ŋŋamba nti nawa abantu bange ebiragiro bino nti: ‘Musalenga emisango mu bwenkanya. Buli omu akwatirwenga munne ekisa, era amusaasirenga.
10
Mulemenga kunyigiriza bannamwandu ne bamulekwa, wadde abagwira n'abaavu. Era mulemenga kuteesa kukola kabi ku bannammwe.’
11
“Naye abantu bange ne beerema, ne bagaana bugaanyi okuwulira. Ne batassaayo mwoyo,
12
ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'olwazi, baleme okuwulira amateeka n'ebiragiro, Nze Mukama Nnannyinimagye bye nabawanga, nga mpita mu balanzi ab'edda. Kyennava mbasunguwalira ennyo,
13
kubanga baagaana okuwulira bye nayogeranga, nange saabaddangamu bwe banneegayiriranga.
14
Ng'embuyaga ey'amaanyi, nabasaasaanya mu mawanga gonna ge baali batamanyi, ensi eno ennungi eyeegombebwa ne bagireka awo, n'efuuka matongo, nga tewakyali agibeeramu.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14