bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 1
2 Corinthians 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
1
Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso, awamu n'abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna.
2
Ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3
Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna;
4
atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.
5
Kuba nga bwe tugabana ennyo mu bibonyoobonyo bya Kristo, era bwe tutyo mu Kristo mwe tugabanira ennyo essanyu.
6
Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusanyusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebibonyoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa.
7
Essuubi lyaffe lya maanyi gye muli, kubanga tumanyi nti nga bwe mugabana ku bibonyoobonyo byaffe, era bwe mutyo mugabana ne ku ssanyu lyaffe.
8
Kubanga ab'oluganda, tetwagala mmwe obutategeera, okubonyaabonyezebwa okwatutuukako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu.
9
Ffe lwaki twawulira nga abasaliddwa ogw'okufa; ekyo kyaliwo, tuleme kwesiga maanyi gaffe, wabula twesige Katonda azuukiza abafu.
10
Katonda eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga; era oyo gwe tulinamu essuubi ery'okutuwonyanga.
11
Nammwe mutuyambe mu kusaba, bwe batyo bangi beebaze Katonda ku lwaffe, olw'emikisa egituweereddwa olw'okusaba kw'abangi.
12
Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, omwoyo gwaffe gutukakasa nti mu nsi muno, n'okusingira ddala mu mmwe, tubadde tweyisa mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda.
13
Kubanga tetubawandiikira birala wabula ebyo bye musobola okusoma era n'okutegeera, era nsuubira nga mulibitegeerera ddala.
14
Era nga bwe mutegeeddeko ekitundu, musobola okwenyumiriza mu ffe, era nga naffe bwe tulyenyumiriza mu mmwe ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
15
Olw'okubanga nali nnekakasa mu ekyo, n'ayagala nnyo okusooka okujja gye muli, mulyoke muweebwe omukisa gwa mirundi ebiri.
16
N'ayagala mbakyalire nga ŋŋenda e Makedoni, era nkomewo gye muli nga nva e Makedoni, mulyoke munsibirire nga ŋŋenda e Buyudaaya.
17
Kale bwe nnali njagala okukola ekyo, nnalagaalaganya? Oba bye nteesa, mbiteesa ng'omuntu ow'omunsi, okugamba nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
18
Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe gye muli tekiri nti weewaawo ate nti si weewaawo.
19
Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye bulijjo mulimu weewaawo.
20
Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo; era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe.
21
Naye atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda;
22
era eyatussaako akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mitima gyaffe.
23
Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, era kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira.
24
Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab'essanyu lyammwe: kubanga muli banywevu mu kukkiriza.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13