bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 9
2 Corinthians 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
1
Kubanga tekinneetaagisa kubawandiikira ku by'ebirabo ebiweebwayo okuyamba abatukuvu.
2
Kubanga mmanyi nga muli beetegefu okuyamba, ekyo kye mbeenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga mbagamba nti, “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi mu bo.
3
Naye ntuma ab'oluganda, gye muli okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; wabula mube beetegefu nga bwe njogedde.
4
Sikulwa ng'abamu ku be Makedoni abalijja nange, balibasanga nga temweteeseteese, ffe, ne bwe siiyogere ku kuswala okwammwe, ne tukwatibwa ensonyi olw'obwesige bwetwabalinamu.
5
Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere okujja gye muli, bateeketeeke ekirabo ekyo kye mwasuubiza, kisangibwe nga kitegekeddwa lwa kweyagalira, sso si lwa kuwalirizibwa.
6
Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.
7
Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.
8
Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli; mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi.
9
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yasaasaanya, yagabira abaavu; Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna.”
10
Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga, anaabongerangako ensigo zammwe, era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe.
11
Munnagaggawazibwa mu byonna ne mugaba nnyo, okuyita mu ffe Katonda yeebazibwenga.
12
Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda:
13
Kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda kwammwe n'okukkiriza Enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bwammwe gyebali n'eri abalala bonna.
14
Era bo bokka nga babalumirwa mmwe n'okubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe.
15
Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13