bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 6
2 Corinthians 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
1
Era bwe tukolera awamu ne Katonda, tubeegayirira obutaweerwa bwereere kisa kya Katonda.
2
Kubanga Katonda agamba nti, “Mu biro eby'okukkirizibwamu nnakuwulira, Ne ku lunaku olw'obulokozi nnakuyamba; laba, kaakano bye biro eby'okukkirizibwamu; laba, kaakano lwe lunaku olw'obulokozi.”
3
Tetuteeka nkonge yonna mu kkubo lya muntu yenna, okuweereza kwaffe kulemenga okunenyezebwa.
4
Naye ng'abaweereza ba Katonda, twetendereza mu byonna, mu kugumiikiriza okungi, mu bibonoobono, mu kwetaaga, ne mu nnaku.
5
Mu kukubibwa, mu kusibibwa, mu kukaayana, mu kufuba, mu kutunula, ne mu kusiiba.
6
Mu bulongoofu, mu kutegeera, mu kugumiikiriza, mu kisa, mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kwagala okutaliimu bunnanfuusi.
7
Mu kigambo eky'amazima, mu maanyi ga Katonda; n'olw'eby'okulwanyisa eby'obutuukirivu mu mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono.
8
Olw'ekitiibwa n'olw'okunyoomebwa, olw'okuvumibwa n'olw'okusiimibwa. Tuyitibwa ng'abalimba, naye nga tuli ba mazima.
9
Ng'abatategeerebwa, era naye abategeerebwa ennyo; ng'abafa, era, laba, tuli balamu; ng'ababonerezebwa, naye ne tutattibwa.
10
Abanakuwala, naye abasanyuka bulijjo; ng'abaavu, naye abagaggawaza abangi; ng'abatalina kintu, era naye abalina ddala byonna.
11
Akamwa kaffe kaasamiddwa gye muli, Abakkolinso, n'omutima gwaffe tugubabikulidde.
12
Ffe tetubanyigiriza, naye mwenyigiriza mmwekka mu myoyo gyammwe.
13
Njogera nammwe ng'abaana, mutubikulire emitima gyammwe.
14
Temwegattanga na batakkiriza kubanga temwenkanankana; kubanga obutuukirivu butabagana butya n'obujeemu? Oba omusana gussa gutya ekimu n'ekizikiza?
15
Era Kristo atabagana atya ne Beriyali? oba omukkiriza agabana mugabo ki n'atali mukkiriza?
16
Era Yeekaalu ya Katonda yeegatta etya n'ebifaananyi? Kubanga ffe tuli Yeekaalu ya Katonda omulamu; nga Katonda bwe yayogera nti, “Nnaabeeranga mu bo, ne ntambuliranga mu bo; nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.”
17
“Kale ” Muve wakati mubo, mweyawule, bw'ayogera Mukama, So temukwatanga ku kintu ekitali kirongoofu; Nange ndibasembeza,
18
Era nnaabeeranga Kitammwe gye muli, “Nammwe munaabeeranga gye ndi abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, bw'ayogera Mukama Omuyinza w'ebintu byonna.”
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13