bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 2
2 Corinthians 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
1
Naye nnamalirira mu mutima gwange, obutajja nate na nnaku gye muli.
2
Kubanga nze bwe mbanakuwaza, kale ansanyusa ye ani wabula oyo nze gwe nnakuwaza?
3
N'ekyo nnakiwandiika bwe ndijja nneme kunnakuwazibwa abo abagwanira okunsanyusa; kubanga mbeesiga mmwe mwenna, ng'essanyu lyange lye lyammwe mwenna.
4
Kubanga mu kubonaabona okungi n'okulumwa omutima nnabawandiikira n'amaziga amangi, si lwa kubanakuwaza, naye mutegeere okwagala kwe nnina gye muli bwe kuli okungi ennyo.
5
Naye bwe wabaawo omuntu eyaleeta okunakuwala, aba tanakuwazizza nze, wabula mmwe mwenna, so si mwenna, nneme okubazitowerera ennyo.
6
Kubanga ali bw'atyo ekibonerezo ekyo ky'awereddwa abangi kimala.
7
Kyekiva kibagwanira mmwe okumusonyiwa obusonyiyi n'okumusanyusa afaanana bw'atyo mpozzi aleme okumirwa ennaku ze nga ziyinze obungi.
8
Kyenva mbeegayirira okunyweza okwagala gyali.
9
Kubanga era kyennava mpandiika, ndyoke mbagezese ntegeere, oba nga muli bawulize mu bigambo byonna.
10
Buli gwe musonyiwa ekigambo, nange mmusonyiwa: kubanga nange kye nsonyiye, oba nga nsonyiye, nkisonyiye ku lwammwe mu maaso ga Kristo.
11
Setaani alemenga kutwekulumbalizaako; kubanga tetuli ng'abatategeera nkwe ze.
12
Naye bwe nnajja mu Tulowa olw'Enjiri ya Kristo, era oluggi bwe lwanzigulirwawo mu Mukama waffe,
13
omutima gwange tegwatereera kubanga saasangayo Tito muganda wange. Kyennava mbasiibula ne ŋŋenda mu Makedoni.
14
Naye Katonda yeebazibwe, atutwala bulijjo ng'abawanguzi mu Kristo, era naatukozesa okumumanyisa mu bantu bonna, ng'evvumbe erisaasanira wonna.
15
Kubanga tuli vvumbe eddungi erya Kristo eri Katonda mu abo abalokoka ne mu abo ababula.
16
Eri abo ababula tuli vvumbe eriva mu kufa erireeta okufa; naye eri abalokoka tuli vvumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. Era ebyo ani abiyinza?
17
Kubanga tetuli nga bali abasinga obungi, abatabanguzi b'ekigambo kya Katonda, naye ng'abantu ab'amazima era abaatumibwa Katonda, bwe tutyo mu maaso ga Katonda bwe twogera mu Kristo.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13