bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 3
2 Corinthians 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
1
Tutandise nate okwetendereza fekka? Oba twetaaga ebbaluwa ng'abalala, ezitusemba gye muli, oba mmwe ze muwandiise nga zitusemba?
2
Mmwe muli bbaluwa yaffe, etusemba ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, abantu bonna gye bategeera, gye basoma.
3
Era mweraga okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twaleeta, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande eby'emitima gy'abantu.
4
Obwo bwe bwesige bwe tulina okuyita mu Kristo eri Katonda,
5
si kubanga fekka tulina obusobozi, okulowooza ekigambo kyonna ng'ekiva gyetuli; naye obusobozi bwaffe buva eri Katonda.
6
Oyo ye yatusobozesa okuba abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab'Omwoyo; kubanga ennukuta etta, naye Omwoyo guleeta obulamu.
7
Naye oba nga okuweereza okw'okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa bwe kityo, n'abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky'amaaso ge; ekyali kigenda okuggwaawo,
8
okuweereza okw'Omwoyo tekulisinga nnyo okuba n'e kitiibwa?
9
Kuba oba ng'okuweereza okw'omusango kye kitiibwa, okuweereza okw'obutukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza ekitiibwa.
10
Ddala mu nsonga eyo ekyo ekyali kirina ekitiibwa luli, kaakano tekikyalina kitiibwa, olw'ekitiibwa ekisingirawo ddala.
11
Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kiteekwa okusinga ennyo okuba n'ekitiibwa.
12
Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi.
13
So si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo.
14
Naye emitima gyabwe gyakakanyazibwa; kubanga n'okutuusa leero bwe basoma endagaano ey'edda eky'okubikkako kiri kikyaliwo; eky'okubikkako ekyo kivaawo mu Kristo.
15
Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.
16
Naye omuntu bw'akyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo.
17
Naye Mukama waffe gwe Mwoyo, era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe.
18
Naye ffe fenna, bwe tuggyibwako eky'okubika ku maaso, nga tulaba ekitiibwa kya Mukama waffe, tukyusibwa okufaananyizibwa nga ye, okuva ku mutendera gumu ogw'ekitiibwa okutuusa ku mulala, kubanga kino kiva eri Mukama gwe Mwoyo.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13