bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 12
2 Corinthians 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
1
Kiŋŋwanidde okwenyumiriza, newakubadde nga tekusaana; naye ka ŋŋende mu kwolesebwa n'okubikkulirwa kwa Mukama waffe.
2
Mmanyi omuntu mu Kristo, emyaka ekkumi n'ena (14) egiyiseewo eyatwalibwa mu ggulu eryokusatu, oba mu mubiri, oba si mu mubiri, ssimanyi; Katonda ye amaanyi.
3
Era mmanyi nti omuntu oyo oba mu mubiri, oba si mu mubiri, ssimanyi; Katonda ye amanyi,
4
bwe yatwalibwa mu lusuku lwa Katonda, n'awulira ebigambo ebitayogerekeka, ebitasaanira muntu kubyatula.
5
Ku bw'omuntu oyo nneenyumirizanga; naye ku bwange ssiryenyumiriza, wabula mu by'obunafu bwange.
6
Kuba singa nnayagala okwenyumirizanga, ssandibadde musirusiru; kubanga mba njogera mazima; naye mbireka omuntu yenna aleme kulowooza ku nze okusinga kyandabamu oba kyawulira gyendi.
7
Naye olw'okunziyiza okwegulumiza ennyo, olw'ebyo ebyambikkulirwa, kyennava mpeebwa eriggwa mu mubiri, omubaka wa Setaani okumbonyaabonya, nnemenga okugulumizibwa ennyo.
8
Emirundi esatu nneegayirira Mukama ekigambo ekyo kinveeko.
9
N'aŋŋamba nti, “Ekisa kyange kikumala; kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu.” Kyenaavanga nneenyumiriza n'essanyu eringi olw'eby'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.
10
Kale olwa Kristo, kyenva nsanyukira obunafu, okugirirwanga ekyejo, okwetaaganga, okuyigganyizibwanga, okutegananga, okulangibwanga Kristo: kubanga bwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
11
Mbadde musirusiru! Mmwe mwampaliriza; kubanga nnagwanira mmwe okuntendereza; kubanga newakubadde nga nze siri kintu, naye abatume abo abakulu ennyo, tebansinga mu kigambo kyonna.
12
Mazima obubonero obw'omutume bwakolerwanga ewammwe mu kugumiikiriza kwonna, mu bubonero n'eby'amagero n'eby'amaanyi.
13
Kubanga kiki ekkanisa endala kye zaabasingamu, okuggyako nze nzekka obutabazitoowereranga? Munsonyiwe ekyonoono ekyo.
14
Laba, omulundi ogwokusatu kaakano nneeteeseteese okujja gye muli; so siribazitoowerera, kubanga sinoonya byammwe, wabula mmwe, kubanga tekigwanira abaana okuterekeranga abakadde, wabula abakadde okuterekeranga abaana.
15
Ndiwaayo ebyange, era nange ndyeweerayo ddala ku lwammwe, nga ndi musanyufu. Kale bwe mbaagala ennyo, mmwe musaana kunjagala katono?
16
Mukkiriza nti nze ssaabazitoowerera, naye, bwe nnali omugerengetanya, nnabatega mu lukwe ne mbakwasa.
17
Waliwo amagoba gonna ge nnafuna okuva gye muli okuyita mu abo be nnabatumira?
18
Neegayirira Tito okugenda, era ne ntuma ow'oluganda omulala awamu naye. Tito yafuna amagoba gonna okuva gye muli? Ye nange tetwakolera mu mwoyo gumu? Tetwatambulira mu kisinde kimu?
19
Obw'edda mulowoozezza nga ffe twewolereza mu maaso gammwe? Mu maaso ga Katonda twogerera mu Kristo. Naye byonna, abaagalwa, twogera bya kubazimba mmwe.
20
Kubanga ntidde, bwe ndijja, mpozzi nneme okubasanga nga mufaanana nga bwe ssaagala, nange mmwe muleme okunsanga nga nfaanana nga bwe mutayagala; mpozzi ne wabaawo okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okulyolyoma, okugeya, okwegulumiza, n'okujeema.
21
Era ntya nti bwe ndijja nate, Katonda wange alintoowaza mu maaso gammwe, nange ne nakuwalira abangi abaayonoona edda ne bateenenya obugwagwa n'obwenzi n'obukaba bwe baakola.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13