bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 8
2 Corinthians 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
1
Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda kye yalaga ekkanisa ez'e Makedoni.
2
Mu kugezebwa kwabwe, nga baabonyaabonyezebwa ennyo, essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwassuka, byombi byajjuzibwa okugaba kwabwe okwanjulukufu.
3
Kubanga, ntegeeza nti bo, baagaba okusinziira ku busobozi bwabwe, era nkakasa nga baasinzawo, naye nga beeyagalidde bokka.
4
Baatusaba n'okwegayirira okungi bakkirizibwe okwegatta n'abo abayamba abatukuvu.
5
Era baakola si nga bwe nnali ndowooza, naye baasooka okwewaayo bokka eri Mukama waffe, n'eri ffe mu kwagala kwa Katonda.
6
Kyetwava tusaba Tito, nga bwe yatandika edda omulimu ogwo ogw'ekisa, ajje agumalirize ne mu mmwe.
7
Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe gyetuli, era musukkirirenga ne mu mulimu guno ogw'ekisa.
8
Soogera nga mbalagira bulagizi, wabula okukakasa nti olw'okufuba kw'abalala okwagala kwammwe nakwo kwa mazima.
9
Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe.
10
Ku nsonga eno mbawa amagezi, kisingako kaakano okumaliriza kye mwatandika omwaka gumu ogwayita, sso si kukola kwokka, era naye n'okwagala,
11
bwe butyo obumalirivu bwammwe obw'okukyagala bwenkane n'okukimaliriza, nga mukozesa ebyo bye mulina.
12
Kuba oba nga waliwo kye mwagala okukola, kikkirizibwa okusinziira ku muntu kyalina, sso si ekyo kyatalina.
13
Kubanga soogedde bwe ntyo, abalala bawummuzibwe, nammwe muteganyizibwe;
14
wabula olw'okwenkanankana, mmwe bye mulina ebingi mu kiseera kino, bibayambe bo mu kwetaaga kwabwe. Ate ebyabwe bye baliba nabyo ebingi, biribayamba mmwe mu kwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo.
15
Nga bwe kyawandiikibwa nti, “Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.”
16
Naye Katonda yeebazibwe, awadde Tito omutima ogubalumirwa.
17
Kubanga teyakoma ku kukkiriza bukkirizza kye twamusaba, naye kennyini mukufuba ajja gye muli ku bubwe.
18
Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa olw'okubuulira Enjiri mu kkanisa zonna.
19
Sso si ekyo kyokka, era naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe, Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage n'okwagala kwaffe.
20
Twewala omuntu yenna obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza.
21
Kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu.
22
Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano munyiikivu nnyo okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina gye muli.
23
Ebya Tito ye, assa kimu nange, era ye mukozi munnange mu buweereza bwammwe, era ebya baganda baffe abo, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo.
24
Kale mu maaso g'ekkanisa mubalage ekikakasa okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13