bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 7
2 Corinthians 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
1
Abaagalwa nga bwe tulina ebisuubizo ebyo, twenaazengako obugwagwa bwonna obw'omubiri n'obw'omwoyo, nga tutuukiriza obutukuvu mu kutya Katonda.
2
Mutubikulire emitima gyammwe; tetwonoonanga muntu yenna, tetuguliriranga muntu yenna, tetulyazaamaanyanga muntu yenna.
3
Soogedde kubanenya, kubanga nayogedde dda nga muli mu mitima gyaffe okufiira awamu nammwe n'okubeera abalamu awamu nammwe.
4
Njogera n'obuvumu bungi gye muli, nneenyumiriza nnyo ku lwammwe; njijudde nnyo essanyu, nsukkiridde okujaguza mu bibonoobono byaffe byonna.
5
Kubanga era bwe twajja mu Makedoni, omubiri gwaffe ne gutalaba kuwummula n'akatono, naye ne tubonaabona eruuyi n'eruuyi; ebweru yaliyo entalo, munda mwalimu okutya.
6
Naye asanyusa abasobeddwa, ye Katonda, n'atusanyusa ffe, olw'okujja kwa Tito.
7
So si lwa kujja kwe kwokka, era naye n'olw'okusanyusibwa kwe mwa musanyusa, bwe yatubuulira okwegomba kwammwe, okunakuwala kwammwe, okunyiikira kwammwe ku lwange; nange kyennava nneeyongera okusanyuka.
8
Kuba newakubadde nga nnabanakuwaza n'ebbaluwa yange, sejjusa, newakubadde nga nnamala okwejjusa; kubanga ndabye ng'ebbaluwa eyo yabanakuwaza, newakubadde nga yabanakuwaza akaseera.
9
Kaakano nsanyuse, sisanyuse kubanga mwanakuwazibwa, naye kubanga mwanakuwala n'okwenenya ne mwenenya: kubanga mwanakuwala eri Katonda, muleme okufiirwa mu kigambo kyonna ku bwaffe.
10
Kubanga okunakuwala eri Katonda kuleeta okwenenya okw'obulokozi okutejjusibwa: naye okunakuwala okw'omu nsi kuleeta okufa.
11
Kubanga, laba, okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaleetera okufuba okungi, era n'okuwoza ensonga yammwe, era n'okusunguwala, era n'okutya, era n'okwegomba, era n'okunyiikira, era n'okuwalana eggwanga! Mu byonna mwetegeeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo.
12
Kale newakubadde nga nnabawandiikira, ssaawandiika ku lw'oyo eyakola obubi, newakubadde ku lw'oyo eyakolwa obubi, wabula okunyiikira kwammwe ku lwaffe kulyoke kulabisibwe eri mmwe mu maaso ga Katonda.
13
Kyetwava tusanyusibwa; ne mu kusanyusibwa kwaffe, ne tweyongera nnyo okusanyuka olw'essanyu lya Tito, kubanga mmwe mwenna mwawummuza omwoyo gwe.
14
Kuba oba nga nneenyumiriza mu kigambo kyonna ku lwammwe eri oyo, ssaakwatibwa nsonyi; naye nga bwe twababuulira byonna mu mazima, era bwe kutyo n'okwenyumiriza kwaffe eri Tito kwali kwa mazima.
15
N'okwagala kwe okw'omunda kweyongera nnyo nnyini okubeera gye muli, ng'ajjukira okugonda kwammwe mwenna, bwe mwamusembeza n'okutya n'okukankana.
16
Nsanyuse kubanga mu byonna nnina obwesige mu mmwe.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13