bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 10
2 Corinthians 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
1
Naye nze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze omwetoowaze bwe mba nammwe, ate omuzira nga siri nammwe.
2
Kale mbeegayirira bwegayirizi, bwe ndiba nga ndi nammwe, nneme okubalaga obuzira obwo bwe nkozesa eri abalala abalowooza nga ffe tutambula okugobereranga omubiri.
3
Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri,
4
kubanga eby'okulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye birina amaanyi agava eri Katonda olw'okusaanyawo ebigo.
5
Tusaanyaawo empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemulula buli kirowoozo okugondera Kristo.
6
Tweteeseteese okubonereza obutagonda bwonna, okugonda kwammwe lwe kulituukirira.
7
Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeekakasa muli nga wa Kristo yeerowooze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era naffe bwe tutyo.
8
Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe, Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula, mu byonna ssirikwatibwa nsonyi.
9
Sandyagadde kufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange.
10
Kubanga boogera nti, “Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; naye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu.”
11
Alowooza kino, ategeere nti bye tugamba mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bye tukola nga tuli nammwe.
12
Kubanga tetwaŋŋaanga kwebalira ku muwendo gw'abo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina kutegeera.
13
Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli.
14
Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli; kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu Njiri ya Kristo.
15
Tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala; naye nga tusuubira, okukkiriza kwammwe bwe kukula okugulumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira.
16
Olwo tulisobola okubuulira Enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga ewammwe, nga tetwenyumiriza lwa mulimu ogukoleddwa mu kitundu kyabalala.
17
Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.
18
Kubanga omuntu eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula oyo Mukama waffe gw'atendereza.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13