bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 13
2 Corinthians 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
1
Guno gwe mulundi ogwokusatu nga njija gye muli. Mu kamwa k'abajulirwa ababiri oba basatu buli kigambo kirinywera.
2
Nnalaalika era ndaalika, nga bwe nnakola bwe nnali eyo omulundi ogwokubiri, era ne kaakano bwe ntyo nga ssiriiyo, mbagamba abo abaayonoona edda n'abalala bonna, nti bwe ndijja nate, ssirisaasira.
3
Kubanga munoonya ekikakasa nga Kristo ayogerera mu nze; Kristo oyo si munafu nga akolagana nammwe, naye alina amaanyi mu mmwe;
4
Kubanga yakomererwa mu bunafu, naye mulamu olw'amaanyi ga Katonda. Kubanga naffe tuli banafu mu ye, naye mu kukolagana nammwe tuliba balamu awamu naye olw'amaanyi ga Katonda.
5
Mwekebere mwekka oba nga muli mu kukkiriza; mwekeme mwekka. Oba temutegeera mwekka nga Yesu Kristo ali mu mmwe? Mpozzi ng'ekigezo ekyo kibalemye!
6
Naye nsuubira nga mulitegeera nga ffe tetulemeddwa.
7
Era tusaba Katonda mmwe mulemenga okukola obubi bwonna; si ffe okulabika ng'abasiimibwa, wabula mmwe okukolanga obulungi, ffe ne bwe tulibeera ng'abatasiimibwa.
8
Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba.
9
Kubanga tusanyuka ffe bwe tuba abanafu, nammwe bwe muba n'amaanyi; era na kino tukisaba, mmwe okutuukirira.
10
Kyenvudde mpandiika ebyo nga ssiri eyo, bwe mbeera eyo nneme okuba omukambwe, ng'obuyinza bwe buli Mukama waffe bwe yampa olw'okuzimba, so si lwa kumenya.
11
Eky'enkomerero, ab'oluganda, mweraba. Mutuukirire; musanyusibwe; mulowooze bumu; mubeere n'emirembe, ne Katonda ow'okwagala n'emirembe anaabanga nammwe.
12
Mulamusagane n'okunywegera okutukuvu.
13
Abatukuvu bonna babalamusizza.
14
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe mwenna.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13