bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
2 Corinthians 11
2 Corinthians 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
1
Nnandyagadde mungumiikirize mu busirusiru bwange obutono; era ddala mungumiikirize.
2
Kubanga mbakwatirwa obuggya bwa Katonda; kubanga nnabafumbiza bbammwe omu Kristo, ndyoke mbaleete gyali nga omuwala omulongoofu.
3
Naye ntidde, nti ng'omusota bwe gwalimbalimba Kaawa mu bukujjukujju bwagwo, mpozzi ebirowoozo byammwe biyinza okukyamizibwa muleme okweweerayo ddala mu mazima eri Kristo.
4
Kuba omuntu bw'ajja n'ababuulira Yesu omulala gwe tutaababuulira, oba bwe muweebwa omwoyo omulala gwe mutaaweebwa, oba Njiri ndala, gye mutakkiriza, mwanguwa okubikkiriza.
5
Kubanga ndowooza nti mu butono bwange ssisingibwa nnyo abatume abo abakulu.
6
Naye newakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye siri bwentyo mu kutegeera; naye mu byonna ne mu buli ngeri ekyo twakibolesa.
7
Nnayonoona bwe nneetoowaza nzekka mmwe mugulumizibwe kubanga nnababuulira Enjiri ya Katonda awatali kubasasuza?
8
Nnanyaga ekkanisa endala, nga mpeebwa empeera okuva gyebali ndyoke mbaweereza mmwe.
9
Era bwe nnabanga nammwe nga nneetaaga, ssaazitoowereranga muntu yenna; kubanga ab'oluganda abaava mu Makedoni, bandeetera byonna bye nali nneetaaga. Mu byonna nneekuuma era nja kwekuumanga obutabazitoowereranga, mu ngeri yonna.
10
Ng'amazima ga Kristo bwe gali mu nze, siwali alinziyiza okwenyumiriza okwo mu nsalo ez'e Yakaya.
11
Lwaki? kubanga sibaagala? Katonda amanyi nti mbaagala.
12
Ekyo kye nkola, nja kweyongera okukolanga bwentyo, ndyoke nziyize abo abeenyumiririza mu butume bwabwe, nga bagamba nti bakola nga bwe tukola.
13
Kubanga abali ng'abo be batume ab'obulimba, abakozi ab'obukuusa, abeefaananya ng'abatume ba Kristo.
14
So si ky'amagero; kubanga ne Setaani yeefaananya nga malayika ow'omusana.
15
Kale si kitalo era n'abaweereza be bwe beefaananya ng'abaweereza ab'obutuukirivu; enkomerero yaabwe eribeera ng'ebikolwa byabwe.
16
Nziramu okugamba nti Omuntu yenna aleme okundowooza nga ndi musirusiru; naye okulowooza bwe mundowooza bwe mutyo, kale munsembeze ng'omusirusiru, nange nneenyumirizeeko akatono.
17
Kye njogera, sikyogera nga kigambo kya Mukama waffe, naye nga mu busirusiru, mu buvumu buno obw'okwenyumiriza.
18
Kubanga bangi abeenyumiriza mu mubiri, nange nneenyumiriza.
19
Kubanga mugumiikiriza n'essanyu abasirusiru, kubanga mmwe muli bagezigezi.
20
Kubanga mugumiikiriza omuntu, bw'abafuula abaddu, bw'abamira, bw'abawamba, bwe yeegulumiza, bw'abakuba mu maaso.
21
Njogedde olw'okweswaza, ng'abanafuwala. Naye omuntu yenna ky'agumira (njogera mu busirusiru), nange nguma.
22
Bo Baebbulaniya? Nange. Bo Baisiraeri? Nange. Bo zzadde lya Ibulayimu? Nange.
23
Bo baweereza ba Kristo? (njogera ng'omulalu) Nze mbasinga; mu kufuba mbasukkirira, mu kusibibwa mbasukkirira, mu kukubibwa okuyingirira ennyo, era emirundi mingi nga mbulako katono okufa.
24
Eri Abayudaaya nnakubibwa emirundi etaano (5) emiggo asatu mu mwenda (39).
25
Emirundi esatu (3) nnakubibwa enga, omulundi gumu nnakasuukirirwa amayinja, emirundi esatu (3) eryato lyayatika, nnasula ne nsiiba mu buziba bw'ennyanja.
26
Mu kutambulanga emirundi emingi, nnatuukibwako obulabe obuva mu migga, obulabe obuva mu banyazi, obulabe obuva eri eggwanga lyange, obulabe obuva eri ab'amawanga, obulabe obuva mu kibuga, obulabe obuva mu ddungu, obulabe obuva mu nnyanja, n'obulabe obuva mu b'oluganda ab'obulimba.
27
Mu kufuba n'okukoowa, mu kutunulanga emirundi emingi, mu njala n'ennyonta, mu kusiibanga emirundi emingi, mu mpewo n'okubeera obwereere.
28
Okwongera ku ebyo, waliwo ekinzitoowerera bulijjo bulijjo, okwerariikiriranga olw'ekkanisa zonna.
29
Ani omunafu, nange bwe ssiba munafu? Ani akemebwa n'agwa, nange ne sisaalirwa?
30
Oba nga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, nneenyumirizanga olw'eby'obunafu bwange.
31
Katonda Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, eyeebazibwa emirembe gyonna, amanyi nga ssirimba.
32
Mu Ddamasiko owessaza eyateekebwawo kabaka Aleta yateega ekibuga Ddamasiko, alyoke ankwate:
33
ne bampisa mu ddirisa nga ndi mu kisero ku bbugwe, ne ndokoka okuva mu mikono gye.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13