bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 1
Daniel 1
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
1
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babbulooni n'ajja e Yerusaalemi, n'akizingiza.
2
Mukama n'awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n'ebintu ebimu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'abitwala mu nsi y'e Sinaali n'abiteeka mu ggwanika ery'omu ssabo lya katonda we.
3
Kabaka n'alagira Asupenaazi omukulu w'abalaawe be, alonde mu ba Isiraeri abawambe, abamu ku balenzi ab'olulyo olulangira, n'abamu ku batabani b'abakungu:
4
abavubuka abataaliko bulema, abalabika obulungi, abagezi, era abangu okuyigirizibwa, era abakabakaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka, abayigirize amagezi ag'Abakaludaaya n'olulimi lwabwe.
5
Kabaka n'abalagira baweebwenga buli lunaku ku mmere ya kabaka, ne ku mwenge gwe yanywanga, babaliisenga bwe batyo okumala emyaka esatu, bwe giriggwaako balyoke bagende baweereze kabaka.
6
Mu abo abaalondebwa mwe mwali Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya, bonna baali ba mu kika kya Yuda.
7
Omukulu w'abalaawe n'abatuuma amannya amaggya: Danyeri n'amutuuma Berutesazza, Kananiya n'amutuuma Saddulaaki, Misayeri n'amutuuma Mesaki ne Azaliya n'amutuuma Abeduneego.
8
Naye Danyeri n'ateesa mu mutima gwe obuteeyonoonyesanga ng'alya ku mmere, era ng'anywa ku mwenge ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n'asaba Asupenaazi amukirize aleme okweyonoonyesanga.
9
Ne Katonda n'awa Danyeri okwagalibwa n'okusaasirwa Asupenaazi omukulu w'abalaawe ba kabaka.
10
Omukulu w'abalaawe n'agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyabalagira bye munaalyanga ne bye munaanywanga. Singa anaabalaba nga mukozze, nga temulabika bulungi nga abavubuka bannammwe abalala, kabaka ayinza okunzita.”
11
Awo Danyeri n'agamba omusigire, omukulu w'abalaawe gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya nti,
12
“Nkwegayiridde otugezese okumala ennaku kkumi, nga otuwa enva endiirwa n'amazzi ag'okunywa byokka.
13
N'oluvannyuma otugerageranye n'abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke osalewo eky'okukola ng'osinzira ku ndabika gye tuliba tulabikamu.”
14
Awo omusigire n'akkiriza okubagezesa okumala ennaku kkumi nga bwe bamusaba.
15
Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali balabika bulungi, era nga bagezze okusinga abavubuka abalala bonna abaalyanga ku mmere ya kabaka.
16
Awo omusigire n'abaggya ku emmere ne ku mwenge gwe bandibadde banywa, n'abawa nva ndiirwa zokka.
17
Abavubuka abo abana, Katonda n'abawa amagezi n'okutegeera eby'okuyiga bye baali bayigirizibwa byonna: Danyeri n'asukkirira mu kutegeeranga okwolesebwa okw'engeri zonna, n'okuvvuunulanga ebirooto.
18
Awo ekiseera kabaka Nebukadduneeza kye yalagira baleetebwe mu maaso ge, bwe kyatuuka, omukulu w'abalaawe n'abamwanjulira.
19
Kabaka n'anyumya nabo, era mu bonna ne mutalabika abaali nga Danyeri, Kananiya, Misayeri ne Azaliya: kyebaava bafuulibwa abaweereza ba kabaka.
20
Mu buli kigambo eky'amagezi n'eky'okutegeera, kabaka kye yababuuza, yabalaba nga basinga emirundi kkumi (10) abasawo n'abafumu bonna abaali mu bwakabaka bwe bwonna.
21
Awo Danyeri n'asigala mu lubiri lwa kabaka okutuusa mu mwaka ogwolubereberye ogwa kabaka Kuulo.
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12