bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 11
Daniel 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
1
Nange, mu mwaka ogwolubereberye ogwa Daliyo Omumeedi, n'ayimirira okumunyweza n'okumuzzaamu amaanyi.
2
“Era kaakano nnaakutegeeza amazima. Walisitukawo bakabaka abalala basatu mu Buperusi, naye ow'okuna alibaddirira, alibasinga bonna obugagga: bw'alimala okufuuka ow'amaanyi olw'obugagga bwe, alikubiriza bonna okulwana n'obwakabaka obw'e Buyonaani,
3
Awo walisitukawo kabaka ow'amaanyi alifuga n'obuyinza obungi, era alikola nga bw'ayagala.
4
Kyokka bw'alimala okwenyweza mu buyinza, obwakabaka bwe bulimenyeka, era bulyawulibwamu ebitundu bina; naye tebuligabirwa zzadde lye, era tebulifugibwa n'obuyinza ye nga bwe yalina: kubanga obwakabaka bwe bulisalwasalwamu ne butwalibwa abalala abatali ba zzadde lye.
5
Ne kabaka w'obukiikaddyo aliba wa maanyi, era omu ku balangira be alifuuka wa maanyi okumusinga, alifuga obwakabaka obulisinga obubwe.
6
Nga wayiseewo emyaka, balyegatta wamu: omuwala wa kabaka w'obukiikaddyo alifumbirwa kabaka w'obukiikakkono okusobola okunyweza enkolagana yaabwe. Kyokka obufumbo bwabwe tebuliwangaala. Omumbejja oyo alittibwa awamu n'abaweereza be bonna abaliba bagenze naye, ne bba, era ne mutabani waabwe.
7
Naye omu ku b'oluganda b'omumbejja oyo, alifuuka kabaka. Alirumba eggye lya kabaka w'obukiikakkono n'aliwangula,
8
era ne bakatonda baabwe, n'ebifaananyi byabwe ebisaanuuse, n'ebintu byabwe ebirungi ebya ffeeza n'ebya zaabu, alibinyaga n'addayo nabyo e Misiri. Era alimala emyaka nga tazzeemu kulumba kabaka w'obukiikakkono.
9
Nga wayiseewo emyaka, kabaka w'obukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka w'obukiikaddyo, naye aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye.
10
Batabani be balirwana, balikuŋŋaanya eggye eddene, eririyitirira, eriryanjaala, ne likuba abalabe ne libayitamu, ne lituukira ddala ku kigo kyabwe ekigumu.
11
Awo kabaka w'obukiikaddyo alisunguwala nnyo, alivaayo okulwanyisa kabaka w'obukiikakkono. Aliwangula eggye lya kabaka oyo eririba eddene ennyo.
12
Alyegulumiza olw'obuwanguzi, era alitta abantu bangi nnyo, wabula obuwanguzi bwe tebulirwawo.
13
Kabaka w'obukiikakkono alikuŋŋaanya eggye ddene erisinga lye yalina olubereberye: ekiseera kirituuka nga wayiseewo emyaka, alikomawo n'eggye lye eddene n'eby'okulwanyisa bingi.
14
Ne mu biro ebyo walibaawo bangi abalisituka okulwana ne kabaka w'obukiikaddyo. Era abantu abamu ab'ettima ab'omu ggwanga lyo, balijeema okutuukiriza ebyo byewayolesebwa, naye baliremwa.
15
Awo kabaka w'obukiikakkono alijja, n'azingiza ekibuga ekiriko ebigo ebigumu n'akiwamba. Amaggye g'ebukiikaddyo tegalisobola kumulwanyisa, newakubadde abasserikale be abazira tebaliba n'amaanyi kumulwanyisa.
16
Kabaka oyo alumbye, alikola nga bw'ayagala, tewaliba ayinza kumuziyiza. Era aliyimirira mu nsi ey'ekitiibwa, eribeera mu buyinza bwe, ng'ayinza n'okugizikiriza.
17
Kabaka w'ebukiikakkono, alitegeka okukozesa amaanyi gonna ag'obwakabaka bwe okujja okumulumba. Era alikola nga bwalyagala: era aliwa kabaka w'ebukiikaddyo omwana ow'obuwala okumuwasa. Naye n'ekyo tekirimuyamba n'akatono.
18
Oluvannyuma lw'ebyo alikyuka n'alumba ebizinga, era aliwangula bingi: kyokka omuduumizi w'eggye eririva awalala alikomya ejjoogo lye, era alimukolera ddala nga naye bweyakola abalala.
19
Kabaka oyo alikyuka n'addayo mu bigo ebigumu eby'omu nsi ye, era aliwangulwa n'ataddayo kulabikako nate.
20
Alisikirwa kabaka omulala, aliteekawo omusolooza w'omusolo mu bwakabaka bwe. Naye mu bbanga ttono alizikirizibwa, awatali luyombo wadde olutalo.
21
Ne mu kifo kye muliddamu omuntu anyoomebwa, gwe batawanga kitiibwa kya bwakabaka: naye alijja mu biro eby'emirembe, era aliweebwa obwakabaka olw'okwegonza.
22
Era abo ne kabona omukulu akulira endagaano ya Mukama, balizikirizibwa.
23
Alirimbalimba ab'amawanga amalala ng'akola nabo endagaano, n'afuuka wa maanyi, newakubadde nga alina abantu batono.
24
Alirumba ebitundu ebisinga obugagga nga tebitegedde, era alikola bajjajjaabe bye bataakolanga, newakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabira abawagizi be omunyago ogw'abantu n'ogw'ebintu gw'anyaze mu lutalo. Alikola entegeka okulumba ebigo ebigumu, naye ekyo kirimala akaseera katono.
25
Alimalirira n'obuvumu, okulwanyisa kabaka w'obukiikaddyo nga alina eggye ddene. Ne kabaka w'obukiikaddyo, alitegeka eggye eddene okulwana olutalo, kyokka taliwangula, kubanga balimusalira olukwe.
26
Abo abaalya ku mmere ye, be balimuzikiriza. Abasserikale be bangi balittibwa, n'eggye lye lirisasaana.
27
Ne bakabaka abo bombi emitima gyabwe giriba gya kukola bubi, era balirimbagana nga batudde ku mmeeza emu. Naye bye balowooza tebirituukirira, kubanga ekiseera ekyateekebwawo okuba eky'enkomerero kiriba tekinnatuuka.
28
Kabaka w'ebukiikakkono, aliddayo mu nsi ye n'obugagga obungi. N'omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu: era alikola by'alyagala, n'alyoka addayo mu nsi ye.
29
Mu kiseera ekyategekebwa aliddayo, alirumba ensi y'ebukiikaddyo, naye ku mulundi guno tekiriba nga bwe kyali mu kusooka,
30
Kubanga ebyombo eby'e Kittimu birijja okumulumba n'atya, aliddayo, alisunguwalira endagaano entukuvu, alikola by'alyagala, aliddirayo ddala, alirowooza abo abaleka endagaano entukuvu.
31
Aliweereza abasserikale okwonoona awatukuvu, n'e kigo. Baliggyawo okuwangayo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne bateekawo eky'omuzizo ekizikiriza.
32
Alikozesa ebigambo ebisendasenda, okukyamiza ddala abo abaleka endagaano. Naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliba n'amaanyi, baliguma ne beerwanako.
33
N'abo abalina amagezi mu bantu baliyigiriza bangi, newakubadde nga baliba battibwa mu ntalo, oba mu kwokebwa omuliro, n'abalala nga banyagibwa ne basibibwa okumala ekiseera.
34
Awo bwe baligwa, balifuna n'okubeerwa okutono, naye bangi abalibeggattako baliba ba nkwe.
35
Abamu ku abo abalina amagezi balittibwa, naye ekirivaamu, abantu balirongoosebwa, n'okutukuzibwa, okutuusa ku kiseera eky'enkomerero, Katonda kye yategeka, lwe kirituuka.
36
Kabaka ow'ebukiikakkono, alikola nga bw'ayagala, era alyegulumiza, alyekulumbaza nti asinga ba katonda bonna. Alyogera eby'ekitalo ebinyooma Katonda wa bakatonda, era aliraba omukisa okutuusa ekiseera eky'okubonerezebwa kwe lwe kirituuka, kubanga ekyo Katonda kye yategeka kijja kutuukirira.
37
Kabaka oyo talirowooza ku bakatonda ba bajjajjaabe, newakubadde abakazi kye baagala, so talirowooza ku katonda yenna: kubanga alirowooza nti ye y'abasinga bonna.
38
Naye mu kifo ky'okuwa bakatonda abo ekitiibwa, alikiwa katonda w'ebigo, bajjajjaabe gwe bataamanya. Alimuwa ekitiibwa ne zaabu, ffeeza, n'amayinja ag'omuwendo omungi, n'ebintu ebirala ebisanyusa.
39
Era alizimba ebigo ebigumu nga ayambibwa katonda we oyo omugenyi. Buli alimukkiriza alimwongerako ekitiibwa, era alibawa okufuga abantu bangi, era aligabanya ensi okugibaguza.
40
Mu kiseera eky'enkomerero kabaka w'obukiikaddyo alimusindika, ne kabaka w'obukiikakkono alijja okumulumba nga kibuyaga, ng'alina amagaali, n'abeebagala embalaasi, n'ebyombo ebingi. Era alirumba ensi nnyingi, alyanjaala mu zo, n'aziyitamu ng'amazzi ag'omujjuzo, n'agenda.
41
Era alirumba ne nsi ey'ekitiibwa, n'ensi endala ziriwangulwa. Naye zino zo ziriwonyezebwa mu mukono gwe: Edomu, ne Mowaabu, n'ekitundu ekisinga obunene ekya Amoni.
42
Bw'alirumba ensi ezo zonna, n'ensi y'e Misiri teriwona.
43
Aliba n'obuyinza ku zaabu ne ffeeza, omutereke, ne ku bintu byonna eby'omuwendo omungi eby'omu Misiri. Abalibya n'Abaesiyopya balimugoberera.
44
Naye amawulire agaliva ebuvanjuba ne mu bukiikakkono galimutiisa, era alivaayo n'obusungu bungi okuzikiririza ddala abantu bangi.
45
Era alisimba eweema z'olubiri lwe wakati w'ennyanja n'olusozi olw'ekitiibwa olutukuvu, kyokka alituuka ku nkomerero ye, era tewaliba amuyamba.”
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12