bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 9
Daniel 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
1
Mu mwaka ogwolubereberye ogwa Daliyo, omumeedi, mutabani wa Akaswero, gwe yaliiramu obwakabaka bw'Abakaludaaya:
2
mu mwaka ogwolubereberye ogw'okufuga kwe, nze Danyeri nali nkebera mu bitabo, ne nzuula nti Yerusaalemi kirimala emyaka nsanvu (70) nga kizise, nga ekigambo kya Mukama bwe kyajjira nnabbi Yeremiya.
3
Awo ne nkyukira Mukama Katonda, okumunoonya nga nsaba, nga mwegayirira, wamu n'okusiiba nga nnyambadde ebibukutu era nga ntudde mu vvu.
4
Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula nti, “Ai Mukama, Katonda omukulu era ow'entiisa, akuuma endagaano gy'oba okoze, era n'osaasira abo abakwagala era abakwata amateeka go.
5
Twasobya ne twonoona, ne tukola ebibi. Twajeema ne tuva ku mateeka go ne ku biragiro byo.
6
Tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, n'eri eggwanga lyonna.
7
Ai Mukama, Ggwe oli mutuukirivu, naye ffe bulijjo twereetera okuswala, nga kwe tulimu kaakano. Ekyo bwe kiri eri ffenna: abantu ab'omu Yuda, n'abatuula mu Yerusaalemi, ne Isiraeri yenna, abali okumpi, n'abo abali ewala, mu nsi zonna gye wabagobera, olw'okwonoona kwe baayonoona ggwe,
8
Ai Mukama, ffe ne bakabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, tuswadde kubanga twakwonoona ggwe.
9
Mukama Katonda waffe ye alina okusaasira n'okusonyiwa: kubanga twamujeemera:
10
so tetwawulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, okutambulira mu mateeka ge, ge yatuwa nga agayisa mu baddu be bannabbi.
11
Weewaawo, Isiraeri yenna yamenya amateeka go, naakuvaako, n'agaana okuwulira eddoboozi lyo. Kyewava otuteekako ebikolimo bye walayira okututuusaako, ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wo: kubanga twakwonoona.
12
N'onyweza ebigambo byo, bye wayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe watuleetako obubi obunene: kubanga kye wakola Yerusaalemi wali tokikolangako walala wonna wansi w'eggulu.
13
Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe butyo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, okuleka ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, olwo tubeere n'amagezi okumanya amazima go.
14
Mukama kyewava otunuulira obubi, n'otubonereza: kubanga Mukama Katonda waffe oli mutuukirivu mu bikolwa byo byonna by'okola, naffe tetwawulira ddoboozi lyo.
15
Ne kaakano, Ayi Mukama Katonda waffe, ggwe eyaggya abantu bo mu nsi y'e Misiri n'omukono ogw'amaanyi, ne weefunira ekitiibwa, ekikyaliwo ne kaakano: twayonoona, twakola bubi.
16
Ai Mukama, ng'obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n'obukambwe bireme kweyongera kubeera ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu: kubanga olw'okwonoona kwaffe n'olw'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n'abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola.
17
Kale kaakano, Ayi Katonda waffe, wulira okusaba kw'omuddu wo, n'okwegayirira kwe, era, ku lwo kusaasira kwo, Ayi Mukama, tunuulira awatukuvu wo awazise.
18
Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, olabe ebyaffe ebyazika, n'ekibuga ekituumibwa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw'obutuukirivu bwaffe, naye kubanga ggwe okusaasira kwo kungi.
19
Ayi Mukama, wulira: Ayi Mukama, sonyiwa: ayi Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ayi Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n'abantu bo batuumibwa erinnya lyo.”
20
Awo bwe nnali nga njogera, era nga nsaba, era nga njatula ebibi byange, n'ebibi by'abantu bange Isiraeri, era nga neegayirira Mukama, Katonda wange olw'olusozi olutukuvu olwa Katonda wange:
21
awo bwe nali nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri gwe nnalaba mu ebyo bye nnayolesebwa olubereberye, n'abuusibwa mangu, n'antuukako, mu kiseera eky'okuweerayo ssaddaaka ey'akawungeezi.
22
N'ayogera nange, n'agamba nti, “Ggwe Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n'okutegeera.
23
Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale ssaayo omwoyo nga nkunnyonnyola, otegeere bye wayolesebwa.
24
Ssabbiiti ensanvu (70) ze ziweereddwa abantu bo n'ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okuteekawo obwenkanya obw'olubeerera. n'okuyingiza obutuukirivu obutaliggwaawo, n'okussa akabonero ku ebyo ebyayolesebwa ne ku ebyo ebyalangibwa, n'okufuka amafuta ku oyo asinga obutukuvu.
25
Kale manya otegeerere ddala nga kasookedde ekiragiro kifuluma okuzzaawo n'okuzimba Yerusaalemi obuggya, okutuuka ku kujja kw'oyo afukibwako amafuta, omulangira, walibaawo Ssabbiiti musanvu: era walibaawo Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62), ne kizimbibwa nate, n'enguudo zaakyo era n'ebigo byakyo ebigumu, naye ebyo birikolebwa mu kiseera eky'okubonaabona.
26
Era Ssabbiiti nkaaga mu bbiri (62) bwe ziriggwaako, oyo eyafukibwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu: n'abantu ab'omulangira alijja balizikiriza ekibuga n'awatukuvu. Enkomerero ye erijja ng'amataba, n'okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzikiriza kwalagirwa.
27
Omulangira alikola endagaano ennywevu n'abantu bangi okumala Ssabbiiti emu: mu makkati ga Ssabbiiti aliwera ssaddaaka n'ebiweebwayo. Ne ku ntikko y'Ekifo Ekitukuvu, alissaako eby'emizizo, okutuusa enkomerero eyamutegekerwa lw'erimutuukako.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12