bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 6
Daniel 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
1
Daliyo yalaba nga kirungi okussaawo abafuzi b'amasaza mu bwakabaka bwe; n'alonda abaamasaza kikumi mu abiri (120),
2
nga waggulu waabwe eriyo abakulu basatu, omu ku abo nga ye Danyeri. Abaamasaza abo babanjulirenga musolo, kabaka aleme okufiirwa.
3
Awo Danyeri n'asukkuluma ku bakulu banne ababiri, ne ku b'amasaza kubanga yalina omwoyo omulungi, era kabaka yali alowooza okumuwa okufuga obwakabaka bwonna.
4
Olwawulira ebyo, abakulu abalala ababiri, n'abaamasaza ne bafuba okunoonya ekikyamu mu ngeri Danyeri gye yali alabiriramu obwakabaka, naye ne batakizuula, kubanga yali mwesigwa, nga talina kibi kyonna, wadde akabi konna.
5
Awo abasajja abo ne bagamba nti, “Tetugenda kulaba nsonga eneesinga Danyeri oyo, wabula ng'ekwata ku bigambo eby'amateeka ga Katonda we.”
6
Awo abakulu abo n'abaamasaza ne bajja eri kabaka, ne bamugamba bwe bati nti, “Kabaka Daliyo, obenga omulamu emirembe gyonna.
7
Abakulu abasatu, ab'obwakabaka, n'abamyuka baabwe, abaamasaza, abakungu n'abafuzi abalala bonna, bateesezza ne bassakimu nti Ayi kabaka, oteekewo etteeka n'ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna mu nnaku asatu (30), okuggyako ng'asinza ggwe, asuulibwe mu mpuku omuli empologoma.
8
Kale, Ayi kabaka, lagira ekiragiro ekyo, era oteeke omukono gwo ku biwandiikiddwa ebyo, bireme okukyusibwa, ng'amateeka ag'Abameedi n'Abaperusi bwe gali, agatajjulukuka.”
9
Awo Kabaka Daliyo n'ateeka omukono gwe ku kiwandiiko ky'ekiragiro ekyo.
10
Awo Danyeri bwe yamanya ng'ekiragiro kiteekeddwako omukono, n'addayo mu nnyumba ye, n'ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga gagguddwawo nga goolekedde Yerusaalemi. Nga bwe yakolanga edda, n'afukamiranga ku maviivi ge emirundi esatu buli lunaku, n'asaba, ne yeebaza Katonda we.
11
Awo abasajja abo ne bassakimu ne bajja ne basanga Danyeri ng'asaba era nga yeegayirira Katonda we.
12
Ne balyoka bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne bagamba nti, “Tewassa mukono ku kiragiro, nga buli anaasabanga katonda yenna oba muntu yenna ennaku asatu (30), wabula ng'asabye ggwe, Ayi kabaka, alisuulibwa mu mpuku omuli empologoma?” Kabaka n'addamu nti, “Ekigambo ekyo bwe kiri ddala, ng'amateeka g'Abameedi n'Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”
13
Awo ne bamugamba nti, “Danyeri oyo, omu ku banyage abaava mu Yuda, akunyooma, Ayi kabaka, wadde n'ekiragiro kye wassaako omukono ggwo, naye asaba katonda we emirundi esatu buli lunaku.”
14
Awo kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo, n'anakuwala, n'alumirwa Danyeri, n'ayagala okumuwonya: n'amala olunaku lwonna ng'asala amagezi okumulokola.
15
Awo abasajja abo ne baddayo eri kabaka, ne bamugamba nti, “Tegeera, Ayi kabaka, nga lino lye tteeka ery'Abameedi n'Abaperusi, nti tewaabenga kiragiro newakubadde etteeka kabaka ly'amaze okukakasa, eriyinza okukyusibwa.”
16
Kabaka n'alyoka alagira, ne baleeta Danyeri, ne bamusuula mu mpuku omuli empologoma. Kabaka n'agamba Danyeri nti, “Katonda wo oyo gw'oweereza bulijjo, anaakuwonya.”
17
Ne baleeta ejjinja, ne baliteeka ku mulyango gw'empuku: kabaka n'alissaako akabonero ke ye, era n'akabonero ak'abaami be: ekigambo kyonna kireme okukyusibwa eri Danyeri.
18
Kabaka n'addayo mu lubiri lwe, ekiro ekyo n'atalya mmere, era n'agaana n'okumuleetera ebivuga eby'okumusanyusa: otulo ne tumubula.
19
Awo ku makya nnyo obudde nga busaasaana, kabaka n'agolokoka n'ayanguwa n'agenda ku mpuku omuli empologoma.
20
Awo bwe yasemberera empuku omwali Danyeri, n'akoowoola Danyeri mu ddoboozi ery'ennaku nti, “Ggwe Danyeri, omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo gw'oweerezanga bulijjo, ayinziza okukuwonya empologoma?”
21
Danyeri n'addamu kabaka nti, “Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna.
22
Katonda wange yatumye malayika we, n'aziba emimwa gy'empologoma, nnezitankolako kabi, kubanga mu maaso ge siriiko kye nnasobya, era ne mu maaso go, Ayi kabaka, sirina kabi konna ke nnakola.”
23
Kabaka n'asanyuka nnyo nnyini, n'alagira okuggyamu Danyeri mu mpuku. Awo Danyeri n'aggyibwa mu mpuku, nga tewali kabi konna kamutuuseeko, kubanga yali yeesize Katonda we.
24
Kabaka n'alagira, ne baleeta abasajja abo, abaaloopa Danyeri ne babasuula mu mpuku ey'empologoma, bo, n'abaana baabwe, ne bakazi baabwe: empologoma ne zibavumbagira nga tebannaba na kutuukira ddala wansi mu bunnya bwe mpuku, ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.
25
Awo kabaka Daliyo n'alyoka awandiikira abantu bonna, amawanga n'ennimi, abatuula mu nsi zonna, nti, “Emirembe gyeyongere okuba mu mmwe,
26
Nteeka etteeka, mu matwale gonna ag'obwakabaka bwange, abantu bonna batyenga, era bassengamu ekitiibwa Katonda wa Danyeri: kubanga Oyo ye Katonda omulamu, era omunywevu emirembe gyonna, n'obwakabaka bwe tebulizikirizibwa so n'okufuga kwe tekulikoma;
27
awonya era alokola, era akola obubonero n'eby'amagero mu ggulu ne mu nsi: awonyeza Danyeri amaanyi g'empologoma.”
28
Bw'atyo Danyeri oyo n'aba n'omukisa mu mirembe gya Daliyo, ne mu mirembe gya Kuulo Omuperusi.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12