bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 8
Daniel 8
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
1
Mu mwaka ogwokusatu ogw'obufuzi bwa kabaka Berusazza, nze Danyeri, ne nfuna kwolesebwa okwaddirira kuli okwasooka.
2
Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu, Susani, ekiri mu ssaza Eramu. Nnali nnyimiridde ku mabbali g'omugga Ulaayi.
3
Bwe n'ayimusa amaaso gange, ne ndaba endiga ennume, eyalina amayembe abiri amawanvu, ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga. Naye erimu ku mayembe ago nga lisingako linnaalyo obuwanvu, ate nga lye lyamera oluvannyuma.
4
Ne ndaba endiga eyo ennume ng'etomera ebugwanjuba, n'obukiikakkono n'obukiikaddyo, mpaawo nsolo eyayinza okugirwanyisa, era mpaawo eyayinza okuwona amaanyi gaayo. N'ekola nga bwe yayagalanga, ne yeegulumiza.
5
Awo bwe nnali nkyafumiitiriza ku ekyo, amangwago embuzi ennume, eyalina ejjembe eritutunuseeyo wakati w'amaaso gaayo, n'esala okuva ku luuyi olumu olw'ensi okulaga ku lulala nga terinyeko ku ttaka.
6
N'erumba n'obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nnalaba ng'eyimiridde ku mabbali g'omugga.
7
Ne ngiraba ng'esemberera endiga ennume, mu busungu obungi n'egitomera era n'emenya amayembe gaayo abiri; n'endiga ennume teyalina maanyi kwetaasa, naye embuzi n'egimegga wansi, n'egirinnyirira, ne wataba ayinza kutaasa ndiga eyo.
8
Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo ago, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, ne mu kifo kyalyo ne wamerawo amayembe ana agatutunuseeyo, nga gatunuulira enjuyi ennya ez'ensi.
9
Ne mu limu mu ago ne muva ejjembe ettono, eryafuuka ery'amaanyi ennyo, ne likakaatika obuyinza bwalyo obukiikaddyo, n'ebuvanjuba, ne ku Nsi ey'Ekitiibwa.
10
Ne lyeyongera amaanyi, ne lituuka n'okulumba eggye ery'omu ggulu. N'ebyo mu ggye eryo ebimu n'emmunyeenye ezimu ne libisuula wansi, ne libirinnyirira,
11
ne lyegulumiza okwenkanankana n'Omukulu w'eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne lyonoona n'Ekifo Ekitukuvu.
12
Olw'obujeemu eggye awamu n'ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne lituukiriza buli kye lyayagala okukola.
13
Awo ne mpulira omutukuvu omu ng'ayogera, n'omutukuvu omulala n'agamba oyo eyali ayogedde, nti, “byo ebyoleseddwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, biribaawo kutuusa ddi? Okwonoona okungi, kulibeerawo kutuusa ddi? Okuwaayo awatukuvu era n'eggye biririnnyirirwa kutuusa ddi?”
14
N'amuddamu nti, “Birimala akawungeezi n'enkya, enkumi bbiri mu bisatu (2,300), awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.”
15
Awo, nze Danyeri, bwe nnamala okulaba ebyanjolesebwa ebyo, ne njagala ntegeere amakulu gaabyo. Mba nkyali awo, ngenda okulaba nga wayimiridde mu maaso gange ekyandabikira ng'omuntu.
16
Ne mpulira eddoboozi ly'omuntu nga liva wakati w'omugga Ulaayi, nga likoowoola nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g'ebyo byayoleseddwa.”
17
Awo n'asembera we nnali nnyimiridde: era bwe yajja, ne ntya, ne ngwa wansi nga nneevuunise, naye n'aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w'omuntu, ebikwoleseddwa bya kiseera kya nkomerero.”
18
Awo, bwe yali ayogera nange, ne nkwatibwa otulo tungi, ne ngwa nga nneevuunise, ye n'ankwatako n'angolokosa.
19
N'agamba nti, “Kale nnaakutegeeza ebiribaawo mu kiseera eky'enkomerero ng'obusungu bwa Katonda bugenda okuggwaako. Ebyo ebyakwolesebwa bya kiseera kya nkomerero ekyateekebwawo.
20
Endiga ennume gy'olabye ebadde n'amayembe abiri, bwe bwakabaka bwa b'Abameedi n'Abaperusi.
21
N'embuzi ennume ey'ekikuzzi bwe bwakabaka bwa Buyonaani; ejjembe eddene eriri wakati w'amaaso gaayo ye kabaka ow'olubereberye.
22
N'eryo erimenyese ne mu kifo kyalyo ne musibukamu ana, bwe bwakabaka buna obuliva mu ggwanga eryo, naye bwo tebuliba n'amaanyi nga bwo.
23
Enkomerero y'obwakabaka obwo obuna bw'eriba eneetera okutuuka, era nga n'abantu bayitirizza okwonoona, walisibukawo kabaka atunuza obukambwe era omukujjukujju mu byonna byakola.
24
Aliba n'obuyinza bungi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta okuzikiriza okw'entiisa, alituukiriza by'ayagala okukola, era alizikiriza ab'amaanyi, n'abantu abatukuvu.
25
Era olw'obukujjukujju bwe, aliba mulimba okusobola okukola by'ayagala. Alyegulumiza mu mutima gwe, era alizikiriza bangi nga balowooza nti bali mirembe. Era alisituka okulwanyisa n'Omukulu w'abalangira, naye alizikirizibwa si n'amaanyi g'abantu.
26
Okwolesebwa kwewafuna ku kawungeezi n'enkya, kwa mazima. Naye ggwe ebikwoleseddwa bikuume nga bya kyama, kubanga bya nnaku eziri ewala.”
27
Nange Danyeri ne nzigwamu amaanyi, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi, n'oluvannyuma ne nva ku ndiri, ne nzira ku mirimu gya kabaka. Kyokka ne nneewuunya ebyanjolesebwa, naye ne sibitegeera.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12