bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 5
Daniel 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
1
Kabaka Berusazza yateekereteekera abaami be lukumi (1,000), embaga makeke, n'anywa nabo omwenge.
2
Awo Berusazza, bwe yali ng'anywa ku mwenge, n'alagira baleete ebintu ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu Yeekaalu eyali mu Yerusaalemi ye n'abaami be, n'abakyala be, n'abazaana be, babinyweremu.
3
Awo ne baleeta ebintu ebya ffeeza ebyaggibwa mu Yeekaalu, y'ennyumba ya Katonda eyali mu Yerusaalemi, kabaka n'abaami be, abakyala be n'abazaana be, ne babinyweramu.
4
Ne banywa omwenge, ne batendereza bakatonda aba zaabu n'aba ffeeza, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja.
5
Bagenda okulaba ng'engalo z'omukono gw'omuntu ziwandiika ku kisenge ky'olubiri lwa kabaka, okwolekera ekikondo ky'ettaala. Kabaka n'alaba ekitundu ky'omukono nga kiwandiika.
6
Awo entunula ya kabaka ne kyuka, naatya nnyo, n'ennyingo ez'omu kiwato kye ne ziddirira, n'amaviivi ge ne gakubagana.
7
Kabaka n'alagira mu ddoboozi ery'omwanguka baleete abafumu, abalogo, n'abalaguzi. Kabaka n'agamba abagezigezi ab'e Babbulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma okuwandiika okwo, era n'ategeeza amakulu gaakwo, ajja kwambazibwa olugoye olw'effulungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era ajja kuba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.”
8
Awo ne bayingira abagezigezi bonna aba kabaka, naye ne batayinza kusoma kuwandiika okwo, wadde okutegeeza kabaka amakulu gaakwo.
9
Kabaka Berusazza ne yeyongera nnyo okweraliikirira, n'entunula ye n'ekyuka, abaami be ne basoberwa.
10
Awo mukyala wa kabaka, bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n'abaami be, n'ayingira mu kisenge omwali embaga n'agamba nti, “Ai kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna, lekerawo okweraliikirira n'entunula yo ereme okukyuka.
11
Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo, omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu, ne mu mirembe gya kitaawo omusana n'okutegeera n'amagezi, ng'amagezi ga bakatonda, byalabikira mu oyo, era kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n'amufuula omukulu w'abasawo, n'abafumu, n'abalogo n'abalaguzi;
12
kubanga omwoyo omulungi ennyo, n'okumanya, n'okutegeera, n'okulootolola ebirooto, n'okutegeeza amakulu, n'okunnyonnyola ebikisiddwa, byalabikira mu Danyeri oyo, kabaka gwe yatuuma Berutesazza. Kale bayite Danyeri, naye anaakutegeeza amakulu.”
13
Awo Danyeri n'alyoka aleetebwa mu maaso ga kabaka. Kabaka n'amubuuza nti, “Ggwe Danyeri oyo, omu ku banyage, kitange be yaggya mu Yuda?
14
Nkuwuliddeko, ng'omwoyo gwa bakatonda guli mu ggwe, era ng'omusana n'okutegeera n'amagezi amalungi ennyo birabikira mu ggwe.
15
Abagezigezi, n'abafumu, baleeteddwa mu maaso gange, basome okuwandiika okwo, era bantegeeze amakulu gaakwo, naye ne batayinza kutegeeza makulu ga bigambo ebyo.
16
Naye ggwe nkuwuliddeko, ng'oyinza okulootolola n'okunnyonnyola ebikisiddwa, kale bw'onooyinza okusoma ebiwandiikiddwa ebyo, n'okuntegeeza amakulu gaabyo, onooyambazibwa olugoye olw'effulungu, n'omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwo, era onooba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.”
17
Awo Danyeri n'ayogerera mu maaso ga kabaka nti, “Ebirabo byo beera nabyo ggwe, n'empeera yo ogiwe omulala, naye nze nnaakusomera Ayi kabaka ebiwandiikiddwa, ne nkutegeeza n'a makulu gaabyo.
18
Ai kabaka, Katonda ali waggulu ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n'obuyinza, n'ekitiibwa, n'obukulu.
19
Era olw'obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna, amawanga, n'ennimi ne bakankana ne batya mu maaso ge: yattanga gwe yayagalanga okutta, era yasonyiwanga gwe yayagalanga okusonyiwa, yagulumizanga gwe yayagalanga okugulumiza, era yatoowazanga gwe yayagalanga okutoowaza.
20
Naye omutima gwe bwe gwegulumiza, n'omwoyo gwe ne gukakanyala bw'atyo n'okukola n'akola eby'amalala, n'alyoka agobebwa ku ntebe ye ey'obwakabaka, n'aggyibwako ekitiibwa kye;
21
n'agobebwa okuva mu bantu, omutima gwe ne gufuulibwa ng'ogw'ensolo, n'abeera wamu n'entulege n'alyanga omuddo ng'ente, omubiri gwe ne gutoba omusulo ogwo mu ggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda ali waggulu ennyo ye afuga bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa yenna gwaba ayagadde.
22
Naawe omwana we, Ayi Berusazza, tonnatoowaza mutima gwo, newakubadde nga wamanya ebyo byonna:
23
naye weegulumiza eri Mukama w'eggulu, ne baleeta ebintu ebyo mu nnyumba ye mu maaso go, naawe n'abaami bo, abakyala bo n'abazaana bo, ne mubinyweramu omwenge: n'otendereza bakatonda aba ffeeza, n'aba zaabu, ab'ebikomo, ab'ebyuma, ab'emiti, n'ab'amayinja, abatalaba, so tebawulira, so tebategeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu mukono gwe, era amanyi engeri zo zonna, tomuwadde kitiibwa.
24
Kale kyeyavudde atuma ekitundu ky'omukono ne kiwandiika ebigambo ebyo.
25
Era ebiwandiikiddwa bye biibino, nti MENE, MENE, TEKEL, UFARSIN.
26
Amakulu g'ebigambo ge gano: MENE: Katonda akendezezza ennaku z'obwakabaka bwo, era abukomezza.
27
TEKEL: opimiddwa ku minzaani, osangiddwa ng'obulako.
28
PERES: obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n'Abaperusi.”
29
Berusazza n'alyoka alagira, ne bayambaza Danyeri olugoye olw'effulungu, omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe, era n'alangirirwa okuba omukulu ow'okusatu mu bwakabaka.
30
Mu kiro ekyo, Berusazza kabaka Omukaludaaya n'attibwa.
31
Daliyo Omumeedi n'aweebwa obwakabaka, nga wa emyaka nkaaga mu ebiri (62).
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12