bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 12
Daniel 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
1
“Era mu kiseera ekyo Mikayiri, omulangira omukulu, omukuumi w'abantu abo alirabika. Walibaawo ekiseera eky'okubonaabona okutabangawo okuva amawanga lwe gaabaawo. Mu kiseera ekyo buli muntu aliba nga yawandiikibwa mu kitabo, aliwonyezebwa.
2
Era bangi ku abo abaafa balizuukira, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n'abamu eri ensonyi n'okunyoomebwa okw'olubeerera.
3
N'abo abalina amagezi balyakaayakana ng'okumasamasa okw'omu bbanga: n'abo abaakyusa abangi eri obutuukirivu ng'emmunyeenye emirembe n'emirembe.
4
Naye ggwe, Danyeri, kuuma ebigambo bino nga bya kyama, ssa akabonero ku kitabo, okutuusa ekiseera eky'enkomerero. Bangi balidduuka nga badda eno n'eri, n'okumanya kulyeyongera.”
5
Awo nze Danyeri, ne ndyoka ntunula, ne ndaba abantu abalala babiri nga bayimiridde, omu ku lubalama lw'omugga emitala w'eno, n'omulala ku lubalama lw'omugga emitala w'eri.
6
N'omu ku bo n'abuuza omusajja eyali ayambadde olugoye lwa bafuta, nga ayimiridde waggulu w'amazzi g'omugga, nti, “Eby'ekitalo ebyo birimala bbanga ki nga tebinnaggwaawo?”
7
Ne mpulira omusajja oyo eyali ayambadde bafuta, nga ayimiridde waggulu ku mazzi g'omugga, ng'agolola waggulu emikono gye gyombi, eri eggulu, n'alayira oyo abeera omulamu emirembe gyonna. Ne mpulira ng'agamba nti, ekiseera n'ebiseera n'ekitundu kye kiseera. Bwe balimalira ddala okumenyaamenya amaanyi ag'abantu abatukuvu, ebyo byonna ne biryoka biggwaawo.
8
Ne mpulira by'ayogedde, naye ne sibitegeera, ne ndyoka mubuuza nti, “Ayi Mukama wange, kiki ekiriva mu ebyo byonna?”
9
N'addamu nti, “Kwata amakubo go Danyeri ogende, kubanga ebigambo bibikkiddwako era bissibbwako akabonero okutuusa ekiseera eky'enkomerero.
10
Bangi abalyerongoosa, abalyetukuza, abalitukuzibwa; naye ababi balyeyongera okukola ebibi, era ku bo tekuliba ategeera. Naye abo abalina amagezi balitegeera.
11
Era okuva ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku lwe kiriggyibwawo, ne wateekebwawo eky'omuzizo ekizikiriza, walibaawo ennaku lukumi mu bibiri mu kyenda (1,290).
12
Alina omukisa alindirira n'atuuka ku nnaku olukumi mu ebisatu mu asatu mu ettaano (1,335).
13
Naye ggwe kwata ekkubo lyo okutuusa enkomerero lw'eribaawo. Ojja kufa, naye olifuna omugabo gwo, mu kiseera eky'oluvannyuma.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12