bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 10
Daniel 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
1
Mu mwaka ogwokusatu ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi ekigambo ne kibikkulirwa Danyeri, eyatuumibwa erinnya Berutesazza. Ekigambo kyali kya mazima, nga kifa ku ntalo ez'amaanyi: n'ategeera ekigambo, n'ategeera bye yayolesebwa.
2
Mu nnaku ezo, nze Danyeri nnamala Ssabbiiti ssatu ennamba nga nkungubaga.
3
Saalyanga ku mmere ennungi, wadde ku nnyama. Ssaanywako ku mwenge, so saasaabanga mafuta okumalira ddala Ssabbiiti ssatu ennamba.
4
Ku lunaku olw'abiri mu ennya olw'omwezi ogwolubereberye, bwe nnali ku mabbali g'omugga omunene, Kiddekeri,
5
ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba omusajja ayambadde olugoye olweru, nga yeesibye mu kiwato olukoba olwa zaabu omulungi ennyo.
6
Omubiri gwe gwali gutemagana ng'ejjinja berulo, n'obwenyi bwe bwali ng'okumyansa kw'eggulu, n'amaaso ge nga galinga ettaala z'omuliro, emikono gye n'amagulu ge, byali ng'ekikomo ekizigule. Nga bw'ayogera, eddoboozi lye nga liri nga ery'ekibiina ekinene.
7
Nange Danyeri, nze nzekka nnalaba bye nnayolesebwa: kubanga abantu abaali nange tebaalaba bye nnayolesebwa: naye okukankana okunene ne kubagwako, ne badduka okwekweka.
8
Ne nsigalawo bw'omu, ne ndaba ebigambo ebyo ebikulu bye nnayolesebwa, mu nze ne mutasigala maanyi n'akatono. Embeera yange yonna n'ekyukira ddala, amaanyi neganzigweramu ddala.
9
Naye n'awulira ebigambo bye yali ayogera: bwe nnawulira ebigambo bye, ne ngalamira ku ttaka nga nneevuunise, nnenkwatibwa otulo otungi ennyo.
10
Awo omukono ne gunkwatako, nzenna nga nkankana, ne gunfukamiza wansi, nga nsimbye ebibatu byange ku ttaka.
11
N'aŋŋamba nti, “Ggwe Danyeri, ggwe omusajja omwagalwa ennyo, ssaayo omwoyo ku bigambo bye nkugamba, situka oyimirire. Ntumiddwa gy'oli.” Bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana.
12
N'alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri: kubanga okuva ku lunaku lwe wasookerako okuteekateeka omutima gwo okutegeera, n'okwewombeeka mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa: nange nzize olw'ebigambo byo.
13
Naye omulangira ow'obwakabaka obw'e Buperusi n'anziyiza okumala ennaku abiri mu lumu (21) naye, Mikayiri, omu ku balangira abakulu, n'ajja okunnyamba. Ne mmulekayo ng'ali wamu ne bakabaka ab'e Buperusi.
14
Kaakano nzize okukutegeeza ebiriba ku bantu bo mu nnaku ez'enkomerero: kubanga bye wayolesebwa bya nnaku ezikyali mu maaso.”
15
Era bwe yamala okuŋŋamba ebigambo ebyo, ne ntunula ku ttaka, ne nsirika.
16
Awo eyafaanana ng'abaana b'abantu n'akoma ku mimwa gyange, ne ndyoka njogera. Ne ŋŋamba oyo eyali annyimiridde mu maaso nti, “Ayi mukama wange, ebyo bye nnayolesebwa bindetedde okunakuwala kungi. Sikyalinamu maanyi nakatono.
17
Kale nze omuddu wo, nnyinza atya okwogera naawe mukama wange? Sikyalimu maanyi nakatono, n'omukka gwe nzisa, gumpweddemu.”
18
Eyali afaanana ng'omuntu n'addamu nankomako, n'anzizaamu amaanyi.
19
N'agamba nti, “Ggwe omusajja omwagalwa ennyo, totya, Emirembe gibe naawe. Ddamu amaanyi, guma.” Awo bwe yayogera nange bwatyo, ne nziramu nate amaanyi, ne njogera nti, “Mukama wange, yogera, kubanga onzizizzaamu amaanyi.”
20
N'alyoka ayogera nti, “Omanyi kyenvudde njija gy'oli? Kaakano nzirayo okulwana n'omulangira ow'e Buperusi. Bwe nnaavaayo, olwo nga omulangira ow'e Buyonaani ajja.
21
Naye nnaakubuulira ebyawandiikibwa mu byawandiikibwa eby'amazima. Tewali mulala ali nange okubalwanyisa, wabula Mikaeri, omulangira wammwe.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12