bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 4
Daniel 4
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
1
Kabaka Nebukadduneeza n'awandiikira abantu bonna, ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, abali mu nsi zonna nti, Emirembe gyeyongere gye muli.
2
Ndabye nga kirungi okubalaga obubonero n'eby'amagero, Katonda Ali waggulu ennyo, bye yankolera.
3
Obubonero bwe nga bukulu! n'eby'amagero bye nga bya maanyi! obwakabaka bwe bwe bwakabaka obutaliggwaawo, n'okufuga kwe kwa mirembe na mirembe.
4
Nze Nebukadduneeza nali nneewummulidde mu nnyumba yange, era nga mpulira emirembe mu lubiri lwange.
5
Nnendoota ekirooto ekyantiisa. N'ebyo bye nnalowooleza ku kitanda kyange, n'omutwe gwange bye gwayolesebwanga, byanneeraliikiriza.
6
Kyennava ndagira okundeetera abagezigezi bonna ab'e Babbulooni bantegeeze amakulu g'ekirooto.
7
Awo ne bajja gye ndi abasawo, abafumu, n'abalogo, n'abalaguzi, Ne mbalootololera ekirooto kyange, naye ne batayinza kuntegeeza makulu gaakyo.
8
Naye oluvannyuma Danyeri n'ajja gye ndi, erinnya lye eddala ye Berutesazza, ng'erinnya lya katonda wange bwe liri, omwoyo gwa bakatonda abatukuvu gwali mu ye, kale ne mmulootolera ekirooto kyange bwe nti,
9
“Ggwe Berutesazza, omukulu w'abasawo, kubanga mmanyi ng'omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so nga tewali kyama ekikulema, kale mbuulira bye nnayolesebwa mu kirooto kyange, n'amakulu gaakyo.
10
Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: nnatunula, ne ndaba omuti mu makkati g'ensi, nga muwanvu nnyo.
11
Omuti ne gukula, ne guba gwa maanyi, ne guwanvuwa okutuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi.
12
Gwalina ebikoola birungi, nga n'ebibala byagwo bingi, nga bimala okuliisa ensi yonna. Ensolo ez'omu nsiko zeggamanga mu kisiikirize kyagwo, n'ebinnyonyi eby'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo. Era ebiramu byonna ebirina omubiri, ne bigulyangako.
13
Awo mu kiseera ekyo nga ngalamidde ku kitanda kyange, mu kwolesebwa ne ndaba omukuumi era omutukuvu n'akka ng'ava mu ggulu.
14
N'ayogerera waggulu, n'agamba bw'ati nti,‘Temera ddala omuti, ogutemeko amatabi gaagwo, ogukunkumuleko ebikoola byagwo, osaasaanye ebibala byagwo. Goba ensolo zive wansi waagwo, n'ebinnyonyi bive mu matabi gaagwo.
15
Naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. Leka omuntu oyo, omusulo ogw'omu ggulu gumutobye, era muleke agabanire wamu omuddo n'ensolo ez'omu nsiko.
16
omutima gwe guwaanyisibwe, aggyibweko amagezi ag'omuntu, aweebwe omutima gw'ensolo, okumala emyaka musanvu.
17
Omusango ogwo gusaliddwawo ng'ekiragiro eky'abakuumi abatukuvu, abantu bonna balyoke bategeere ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afuga obwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa buli gw'ayagala, era ng'ayinza n'okubuwa oyo asingayo okuba omunafu.’
18
Ekirooto ekyo nze kabaka Nebukadduneeza kye nnaloota. Kaakano nno, ggwe, Berutesazza, ntegeeza amakulu gaakyo, kubanga abagezigezi bonna ab'omu bwakabaka bwange balemeddwa okuntegeeza makulu gaakyo, naye ggwe oyinza, kubanga omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe.”
19
Awo Danyeri era ye Berutesazza, n'amala akabanga ng'asobeddwa, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza. Kabaka n'amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n'amakulu gaakyo bireme kukweraliikiriza.” Berutesazza n'addamu n'agamba nti, Mukama wange, ekirooto kibe ku abo abakukyawa, n'amakulu gaakyo ku abalabe bo.
20
Omuti gwe walabye ogwameze ne guba gwa maanyi, obuwanvu bwagwo ne butuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi,
21
ebikoola byagwo nga birungi, n'ebibala byagwo nga bingi, ebisobola okuliisa ensi yonna, n'ensolo ez'omu nsiko ne zibeera wansi waagwo, n'ennyonyi ez'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo,
22
ye ggwe, Ayi kabaka, akuze n'oba wa maanyi, ekitiibwa kyo ne kyeyongera ne kituuka mu ggulu, n'obuyinza bwo bubunye mu nsi yonna.
23
Era ggwe kabaka walabye omukuumi era omutukuvu ng'akka ng'ava mu ggulu, n'agamba nti, “Temera ddala omuti, oguzikirize, naye leka ekikonge ky'ekikolo kyagwo mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo gumutobye, era agabane omuddo n'ensolo ez'omu nsiko, okumala emyaka musanvu.
24
Gano ge makulu, Ayi kabaka, era Oyo Ali waggulu ennyo, kino ky'alagidde kikutuukeko, mukama wange kabaka.
25
Oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko; olirya omuddo ng'ente, onosulanga bweru ogwibwengako omusulo, okumala emyaka musanvu, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo y'afuga obwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
26
Era nga bwe balagidde okuleka ekikonge ky'ekikolo ky'omuti, obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw'olimala okutegeera ng'Eggulu lye lifuga.
27
Kale, Ayi kabaka, kkiriza amagezi genkuwa: lekerawo okukola ebibi, kola eby'obutuukirivu, era mu kifo ky'okwonoona, saasira abaavu, olwo mpozzi lw'oneeyongera okuba obulungi.”
28
Ebyo byonna byatuuka ku kabaka Nebukadduneeza.
29
Emyezi kkumi n'ebiri bwe gyayitawo, kabaka yali atambulira waggulu ku lubiri lw'e Babbulooni,
30
n'agamba nti, “Kino si ye Babbulooni ekikulu, kye nnazimba n'amaanyi gange, era n'ekitiibwa ky'obukulu bwange, okuba olubiri lw'obwakabaka?”
31
Kabaka yali nga akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti, “obubaka buno bubwo, Ggwe kabaka Nebukadduneeza, obwakabaka bukuggyiddwako.”
32
Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko. onoolya omuddo ng'ente, okumala emyaka musanvu, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye y'afuga obwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
33
Amangwago ebigambo ebyo ne bituukirira ku Nebukadduneeza: n'agobebwa okuva mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, n'omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw'omu ggulu. Enviiri ze ne zikula okwenkana ebyoya by'empungu, n'enjala ze ne ziwanvuwa ng'ez'ebinnyonyi.
34
Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, ne nziramu okutegeera, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, kubanga obufuzi bwe bwa lubeerera, n'obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
35
Abantu bonna ab'oku nsi abalowooza nga si kintu, era akola nga bw'ayagala mu ggye er'yomu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi. Tewali ayinza okuziyiza ky'ayagala okukola, wadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
36
Mu kiseera ekyo ne nziramu okutegeera, ekitiibwa kyange eky'obwakabaka, n'obukulu bwange, n'ettutumu ne binzirira. Abakungu bange n'abaami bange ne bannoonya, ne bankomyawo ku bwakabaka bwange, n'obukulu bwange ne bweyongerako n'okusinga bwe bwali edda.
37
Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza, mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w'Eggulu: kubanga buli ky'akola ge mazima, na buli ky'asalawo kye kituufu, era atoowaza ab'amalala.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12