bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Daniel 2
Daniel 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
1
Mu mwaka gwe ogwokubiri nga kabaka, Nebukadduneeza n'aloota ekirooto, ne kimweraliikiriza nnyo, ne kimubuza n'otulo
2
Awo kabaka n'alagira bayite abasawo n'abafumu n'emmandwa n'Abakaludaaya, bajje bamutegeeze ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka.
3
Kabaka n'abagamba nti, “Nnaloota ekirooto, ne kineraliikiriza era kimbuzizza n'otulo, njagala muntegeeze amakulu gaakyo.”
4
Abakaludaaya ne balyoka baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, obenga omulamu emirembe gyonna: buulira abaddu bo ekirooto, nabo banakutegeeza amakulu gaakyo.”
5
Kabaka n'abaddamu nti, “kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto n'amakulu gaakyo, munaatemebwatemebwa, n'amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe.
6
Naye bwe munaantegeeza ekirooto n'amakulu gaakyo, nnaabawa birabo n'empeera n'ekitiibwa ekinene. Kale muntegeeze kye nnaloota n'amakulu gaakyo.”
7
Ne bamuddamu nate nti, “Ayi Kabaka tubuulire ekirooto kyo, naffe tunaakutegeeza amakulu gaakyo.”
8
Kabaka n'addamu nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga mwagala kumala biseera, kubanga mulabye nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola.
9
Naye bwe mutantegeeze kirooto, nja kubabonereza mwenna wamu bwe mutambulire kye nnaloota; mwekobaanye okunnimba n'okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, ndyoke ntegeere nga muyinza n'okuntegeeza amakulu gaakyo.”
10
Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu mu nsi n'omu ayinza okukola ekyo ky'osaba, ayi kabaka. Ate era tewabangawo kabaka, wadde omufuzi omulala ow'obuyinza ennyo, yali abuuzizza ekigambo ekifaanana bwe kityo omusawo yenna, newakubadde omufumu yenna, newakubadde Omukaludaaya yenna.
11
Ekyo ky'osaba, ayi kabaka, kizibu nnyo, era tewali ayinza kukitegeeza kabaka, wabula bakatonda abatabeera mu ffe abantu.”
12
Kabaka kyeyava asunguwala nnyo, ne yeekalamula, n'alagira okutta abagezigezi bonna ab'e Babbulooni.
13
Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, ne banoonya Danyeri ne banne nabo okubatta.
14
Awo Danyeri n'atuukirira Aliyooki omukulu wa basserikale ba kabaka, eyajja okutta abagezigezi ab'e Babbulooni, n'ayogera naye n'amagezi n'obwegendereza.
15
N'abuuza Aliyooki omwami wa kabaka nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky'obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n'alyoka ategeeza Danyeri ensonga eyavaako ekigambo ekyo.
16
Danyeri n'agenda ne yeegayirira kabaka amuwe obudde, naye anaamutegeeza amakulu g'ekirooto.
17
Awo Danyeri n'addayo mu nnyumba ye, n'ategeeza banne, Ananiya, Misayeri ne Azaliya, ekigambo ekyo.
18
N'abagamba basabe Katonda owo mu ggulu abakwatirwe ekisa abalage amakulu g'ekyama ekyo, baleme kuzikirizibwa awamu n'abagezigezi abalala ab'e Babbulooni.
19
Mu kiro ekyo ekyama ne kiryoka kibikkulirwa Danyeri mu kwolesebwa. Danyeri n'alyoka yeebaza Katonda owo mu ggulu.
20
Ng'agamba nti, “Lyebazibwenga erinnya lya Katonda emirembe n'emirembe: kubanga amagezi n'amaanyi bibye.
21
Oyo y'akyusa ebiseera n'ebiro, aggyawo era assaawo bakabaka. Awa amagezi abagezigezi, n'okumanyisa abo abategeevu.
22
Abikkula ebigambo eby'ebuziba eby'ekyama. Amanyi ebiri mu kizikiza, era yeetooloddwa ekitangaala.
23
Nkwebaza, nkutendereza, ayi ggwe Katonda wa bajjajjange, ampadde amagezi n'amaanyi, era antegeezezza kaakano bye twakusabye: kubanga otutegeezezza ekigambo kya kabaka.”
24
Awo Danyeri n'agenda eri Aliyooki, kabaka gwe yali alagidde okuzikiriza abagezigezi ab'e Babbulooni, n'amugamba nti, “Tozikiriza bagezigezi ab'e Babbulooni, ntwala eri kabaka, nange naamutegeeza amakulu g'ekirooto kye.”
25
Amangwago Aliyooki n'ayingiza Danyeri eri kabaka, n'amugamba bw'ati nti, “Nzudde omu ku basajja okuva mu banyage b'omu Yuda, anaakutegeeza amakulu g'ekirooto kyo.”
26
Kabaka n'addamu n'agamba Danyeri, erinnya lye eddala Berutesazza, nti, “Ggwe oyinza okuntegeeza ekirooto kye nnaloota, n'amakulu gaakyo?”
27
Danyeri n'addamu kabaka, nti, “Ekyama ky'owalirizza, abagezigezi okukikutegeeza, tebayinza kukikutegeeza nakatono, wadde abafumu, abasawo n'abalaguzi.
28
Naye waliwo Katonda mu ggulu abikkula ebyama, oyo ya kutegeezezza Ayi kabaka Nebukadduneeza, ebiribaawo mu nnaku ez'enkomerero. Ekirooto kyo, era omutwe gwo bye gwayolesebwa ku kitanda kyo, bye bino:
29
Ai kabaka, bwe wali mu kitanda kyo nga weebase, waloota ebiribaawo oluvannyuma, era Katonda abikkula ebyama akutegeezezza ebiribaawo.
30
Naye nze, ekyama kino kimbikkuliddwa, si lwa kuba ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna abalamu, naye kyekivudde kimbikkulirwa Ayi kabaka, otegeezebwe amakulu g'ekirooto kyo, era naawe otegeere ebirowoozo eby'omu mutima gwo.
31
Ggwe, Ayi kabaka, watunula, n'olaba ekifaananyi ekinene, ekimasamasa era nga kya ntiisa, nga kiyimiridde mu maaso go.
32
Omutwe gwakyo, gwali gwa zaabu omulungi. Ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo, byali bya ffeeza. Olubuto lwakyo n'ebisambi byakyo, byali bya kikomo, ate amagulu gaakyo nga ga kyuma.
33
Ebigere byakyo, ekitundu nga kya kyuma, ate n'ekitundu nga kya bbumba.
34
Bwe wali okyakitunuulira, ejjinja eddene ne limogoka lyokka ku lwazi, nga tewali alikutteko, ne likuba ebigere by'ekifaananyi eby'ekyuma n'ebbumba, ne libimenyaamenya.
35
Olwo ekyuma, n'ebbumba, n'ekikomo, ne ffeeza, ne zaabu ne biryoka bimenyekamenyekera wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguuliro mu budde obw'ekyeya. Empewo ne zibitwalira ddala obutalekaawo kantu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ekyo, ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna.
36
Ekyo kye kyali ekirooto kyo, era kaakano ka tukubuulire, Ayi kabaka, amakulu gaakyo:
37
Ggwe, Ayi kabaka, ggwe kabaka afuga bakabaka bonna. Katonda ow'omu ggulu, gwe yawa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa;
38
yassa mu mikono gyo, abantu bonna gyebali, ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga, okubifuga. Ggwe mutwe ogwa zaabu.
39
Bw'olivaawo waliddawo obwakabaka obulala, obutalyenkana bubwo maanyi. Obwo buliddirirwa obwakabaka obulala obw'okusatu obw'ekikomo, obulifuga ensi zonna.
40
Obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma ekimenyaamenya bintu byonna. Era ng'ekyuma bwe kibetenta ebintu byonna, nabwo bwe bulimenyaamenya ne bubetenta obwakabaka obulala bwonna.
41
Era nga bwe walaba ebigere n'obugere, ng'ekitundu kya bbumba lya mubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka obwo buliba bwawulemu. Naye bulibaamu ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba.
42
Era ng'obugere bwe bwali, ng'ekitundu kya kyuma n'ekitundu kya bbumba, n'obwakabaka obwo bwe buliba bwe butyo, ekitundu bwa maanyi, n'ekitundu nga bunafu.
43
Era walaba ekyuma nga kitabuddwa ne ebbumba, n'abafuzi b'obwakabaka obwo, baligezaako okwegattira mu kufumbiriganwa, naye tebalisobola, ng'ekyuma bwe kitasobola kwetabula na bbumba.
44
Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow'eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so tebulifugibwako ggwanga ddala lyonna, naye bulimenyaamenya ne buzikiriza obwakabaka obulala bwonna, ne bubeerawo emirembe gyonna.
45
Walaba ejjinja nga bwe lyamogoka lyokka ku lusozi nga tewali alikutteko, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu akutegeezeza ebiribaawo gye bujja. Ekirooto kya mazima ddala, n'amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”
46
Awo kabaka Nebukadduneeza n'alyoka avuunama ku ttaka, n'assaamu Danyeri ekitiibwa, n'alagira okuwa Danyeri ssaddaaka n'omugavu.
47
Kabaka n'agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wammwe, ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga osobodde okubikkula ekyama ekyo.”
48
Awo Kabaka n'alyoka afuula Danyeri omukulu, n'amuwa ebirabo bingi ebinene, n'amuwa okufuga essaza lyonna ery'e Babbulooni, era okuba omwami omukulu ow'abagezigezi bonna ab'e Babbulooni.
49
Danyeri n'asaba kabaka, okukuza Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mu bufuzi bw'essaza lye Babbulooni: naye Danyeri n'asigala mu lubiri lwa kabaka.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12